Essuula 47
Amalikaya akozesa enkwe, ettemu, n’obukujjukujju okufuuka kabaka w’Abalamani; Bakyewaggula Abaneefi babi nnyo era bakambwe okusinga Abalamani. Nga mu mwaka gwa 72 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kaakano mu kiwandiiko kyaffe tujja kuddayo eri Amalikaya n’abo abaali badduse naye mu lukoola; kubanga, laba, yali atutte abo abaagenda naye, n’ayambuka mu nsi ya Neefi mu Balamani, era yasiikuula Abalamani okunyiigira abantu ba Neefi, ddala okutuusa nti kabaka w’Abalamani yasindika ekirangiriro mu nsi ye yonna, mu bantu be bonna, okukuŋŋaanira awamu nate okugenda mu lutalo okulwanagana n’Abaneefi.
2 Era olwatuuka ekirangiriro bwe kyali kituuse gye bali baatya nnyo; weewaawo, baatya obutasanyusa kabaka, era ate baatya okugenda mu lutalo okulwanyisa Abaneefi si kulwa nga bafiirwa obulamu bwabwe. Era olwatuuka baagana, oba ekitundu ekisinga obungi ku bo baagaana, okugondera ebiragiro bya kabaka.
3 Era kaakano olwatuuka kabaka yasunguwala olw’obujeemu bwabwe; n’olwekyo yawa Amalikaya obuyinza okuduumira ekitundu ekyo eky’eggye lye ekyali kigondedde ebiragiro bye, era n’amulagira agende abawalirize okukwata ebyokulwanyisa.
4 Kaakano laba, kino Amalikaya kye yali ayagala; kubanga olw’okubeera omusajja omukalukalu ennyo mu kukola obubi n’olwekyo yayiiya enteekateeka mu mutima gwe okuggya kabaka w’Abalamani ku ntebe.
5 Era kaakano yali afunye obuduumizi bw’ebitundu ebyo eby’Abalamaani abaali bawagira kabaka; era n’afuba okufuna okuganja eri abo abataali bawulize; n’olwekyo yagenda mu kifo ekyali kiyitibwa Onida, kubanga eyo Abalamani bonna gye baali baddukidde; kubanga bakizuula nga amagye gajja, era, nga bateebereza nti gaali gajja kubasanyaawo, n’olwekyo baddukira mu Onida, mu kifo eky’ebyokulwanyisa.
6 Era baali balonze omusajja okubeera kabaka era omukulembeze gye bali, ne ekigendererwa eky’obumalirivu mu birowoozo byabwe nti tebajja kukakibwa kugenda kulwanyisa Baneefi.
7 Era olwatuuka baali bakuŋŋaanidde wamu waggulu ku ntikko y’olusozi olwali luyitibwa Antipasi, nga beetegekera olutalo.
8 Kaakano tekyali kigendererwa kya Amalikaya okubakolako olutalo okusinziira ku biragiro bya kabaka; naye laba, kyali kigendererwa kye okufuna okuganja eri amagye g’Abalamani, asobole okwefuula omukulembeze waabwe era aggye kabaka ku nnamulondo yeddize obwakabaka.
9 Era laba, olwatuuka yalagira amagye ge okusimba weema zaabwe mu kiwonvu ekyali okumpi n’olusozi Antipasi.
10 Era olwatuuka obudde nga buzibye yatuma eggye ery’ekyama ku lusozi Antipasi, nga ayagala omukulembeze w’abo abaali ku lusozi, erinnya lye lyali Lekonti, akkirire wansi w’olusozi, kubanga yali ayagala okwogera naye.
11 Era olwatuuka Lekonti bwe yafuna obubaka teyetantala kukkirira wansi w’olusozi. Era olwatuuka Amalikaya yatumya omulundi ogw’okubiri, nga ayagala akkirire. Era olwatuuka Lekonti yagaana; era n’atumya nate omulundi ogw’okusatu.
12 Era olwatuuka Amalikaya bwe yakizuula nti yali tayinza kuletera Lekonti kukkirira kuva ku lusozi, yayambuka ku lusozi, okumpi n’enkambi ya Lekonti; era n’asindika nate omulundi ogw’okuna obubaka bwe eri Lekonti, nga ayagala akkirire, era ajje n’abakuumi be.
13 Era olwatuuka Lekonti bwe yali akkiridde n’abakuumi be eri Amalikaya, olwo Amalikaya yali ayagala akkirire n’eggye lye mu budde obw’ekiro, era beetooloola abasajja abo mu nkambi zaabwe kabaka be yali amulagidde okuduumira, nti yali ajja kubawaayo mu mikono gya Lekonti, singa amufuula (ye Amalikaya) omukulembeze ow’okubiri eri eggye lyonna.
14 Era olwatuuka Lekonti yakkirira n’abasajja be era ne beetooloola abasajja ba Amalikaya, bwe batyo nga tebannaba kugolokoka mu matulutulu baali betolooddwa amagye ga Lekonti.
15 Era olwatuuka bwe baalaba nti baali betoolooddwa, beegayirira Amalikaya abakkirize okwegatta ku baganda baabwe, baleme kusanyizibwawo. Kaakano kino kye kyali ekintu kyennyini Amalikaya kye yali ayagala.
16 Era olwatuuka yawaayo abasajjabe, ekyali kikontana n’ebiragiro bya kabaka. Kaakano kino kye kyali ekintu Amalikaya kye yali ayagala, olwo asobole okutuukiriza ebigendererwa bye mu kuggya kabaka ku nnamulondo.
17 Kaakano ye yali empisa mu Balamani, singa omukulembeze waabwe omukulu yabanga attiddwa, okulonda omukulembeze ow’okubiri okubeera omukulembeze waabwe omukulu.
18 Era olwatuuka Amalikaya yalagira omu ku baweereza be okuba nga awa Lekonti obutwa mpolampola, era yafa.
19 Kaakano, Lekonti bwe yali afudde, Abalamani ne balonda Amalikaya okubeera omukulembeze waabwe era ssabadduumizi waabwe.
20 Era olwatuuka Amalikaya yagenda n’amagye ge (kubanga yali afunye bye yali ayagala) okwolekera ensi ya Neefi, eri ekibuga kya Neefi, ekyali ekibuga ekikulu.
21 Era kabaka n’avaayo okumusisinkana n’abakuumi be, kubanga yalowooza nti Amalikaya yali atuukiriza ebiragiro bye, era nti Amalikaya yali akuŋŋaanyizza wamu eggye eddene ennyo okugenda okulwanyisa Abaneefi mu lutalo.
22 Naye laba, Kabaka bwe yavaayo okumusisinkana Amalikaya n’alagira abaweereza be okugenda okusisinkana kabaka. Era ne bagenda ne bavunnama mu maaso ga kabaka, nga kiringa abamussaamu ekitiibwa olw’obukulu bwe.
23 Era olwatuuka kabaka n’agolola omukono gwe okubayimusa, nga bwe yali empisa y’Abalamani, ng’akabonero k’emirembe, empisa gye baali baggye mu Baneefi.
24 Era olwatuuka bwe yali ayimusizza asooka okuva ku ttaka, laba n’afumita kabaka ku mutima; era n’agwa ku ttaka n’afa.
25 Kaakano abaweereza ba kabaka badduka; era abaweereza ba Amalikaya ne bakuba omulanga nga bagamba nti:
26 Laba, abaweereza ba kabaka bamufumise ekiso ku mutima, era afudde ne badduka; laba, mujje mulabe.
27 Era olwatuuka Amalikaya n’alagira amagye ge okugenda okulaba ekyali kituuse ku kabaka; era bwe baali batuuse mu kifo, ne basanga kabaka ng’agalamidde mu kitaba ky’omusayi gwe, Amalikaya ne yeefuula omusunguwavu, era n’agamba nti: Buli oyo yenna abadde ayagala kabaka, agende awondere abaweereza be olwo battibwe.
28 Era olwatuuka abo bonna abaali baagala kabaka, bwe baawulira ebigambo bino, ne bavaayo era ne bawondera abaweereza ba kabaka.
29 Kaakano abaweereza ba kabaka bwe baalaba eggye nga libawondera, baatya nate, era ne baddukira mu lukoola, era ne bajja mu nsi ya Zalakemula ne beegatta ku bantu ba Amoni.
30 Era eggye eryali liwondera lyakomawo, oluvannyuma lw’okubawondera ne balemwa; era bw’atyo Amalikaya, olw’obulimba bwe, y’awangula emitima gy’abantu.
31 Era olwatuuka enkeera wa lwo y’ayingira ekibuga Neefi n’amagye ge, era n’atwala ekibuga.
32 Era kaakano olwatuuka nnaabagereka, bwe yali awulidde nti kabaka yali attiddwa; kubanga Amalikaya yali atumye ababaka eri nnaabagereka ng’amutegeeza nti kabaka yali attiddwa abaweereza be, nti yali abawondedde n’eggye lye, naye nga buteerere, era nga baali batolose;
33 N’olwekyo, nnaabagereka bwe yali afunye obubaka buno yatuma eri Amalikaya, ng’ayagala asonyiwe abantu b’ekibuga; era yali ayagala ajje gy’ali; era yali ayagala ajje n’abajulizi okuwa obujulizi obukwata ku nfa ya kabaka.
34 Era olwatuuka Amalikaya n’atwala omuweereza y’omu eyatta kabaka, era n’abo bonna abaali naye, ne bayingira eri nnaabagereka, mu kifo we yatuulanga; era bonna ne bawa obujulizi gy’ali nti kabaka yattibwa abaweereza be bennyini; era nabo bagamba nti: Badduse; kino si kye kibawaako obujulizi? Era bwe batyo bwe bamatiza nnaabagereka ku bikwata ku nfa ya kabaka.
35 Era olwatuuka Amalikaya n’anoonya okuganja eri nnaabagereka, era n’amwetwalira okuba mukazi we; era bw’atyo olw’obulimba bwe, era n’okuyambibwako kw’abaweereza be abakujjukujju, y’afuna obwakabaka; weewaawo, yakkirizibwa nga kabaka mu nsi yonna, mu bantu bonna ab’Abalamani, omwali Abalamani n’Abalemweri n’Abayisimayeri, era na bonna bakyewaggula b’Abaneefi, okuviira ddala ku bufuzi bwa Neefi okutuuka mu biseera bya kati.
36 Kaakano bakyewaggula bano, nga baalina okubulirirwa kwe kumu n’okumanya kwe kumu ng’Abaneefi, weewaawo, oluvannyuma lw’okusomesebwa mu kumanya kwe kumu okwa Mukama, wabula, kyewuunyisa okugeraageranya, nga ebbanga si ggwanvu oluvannyuma lw’okwewaggula baafuuka abakakanyavu ennyo era ab’amawaggali, era bannantagambwako, ababi era abakambwe okusinga Abalamani; abakkiririza mu bulombolombo bw’Abalamaani; era ne bawa ekkubo eri obugayaavu, n’engeri zonna ez’obukaba; weewaawo, ne berabirira ddala Mukama Katonda waabwe.