Scriptures
Aluma 10


Essuula 10

Leki wa lunyiriri lwa Manase; Amuleki akwanaganya ekiragiro kya malayika nti afeeyo ku Aluma; Essaala z’abatuukirivu zireetera abantu okutalizibwa; Bannamateeka n’abalamuzi abatali batuukirivu bateekawo omusingi gw’okuzikirizibwa kw’abantu. Nga mu mwaka gwa 82 nga Kristo tannazaalibwa.

Kaakano bino bye bigambo Amuleki bye yabuulira abantu abaali mu nsi ya Amonayika ng’agamba:

Nze Amuleki; ndi mutabani wa Giddona, eyali mutabani wa Isimayiri, eyali muzzukulu wa Aminaadi; era yali Aminaadi oyo yennyini eyavvuunula ekiwandiiko ekyali ku kisenge kya yeekaalu, ekyawandiikibwa n’olugalo lwa Katonda.

Era Aminaadi yali muzzukulu wa Neefi, eyali mutabani wa Leki, eyava mu nsi y’e Yerusaalemi, eyali muzzukulu wa Manase, eyali mutabani wa Yusufu eyatundibwa mu Misiri olw’ebikolwa bya baganda be.

Era laba, nange ndi musajja atanyomebwa mu abo bonna abammanyi; weewaawo, era laba, nnina ab’ekika n’emikwano mingi, era nfunye n’obugagga bungi olw’emikono n’amagezi gange.

Wabula, oluvannyuma lwa bino byonna, mbadde simanyi nnyo ngeri za Mukama, era n’ebyekusifu bye n’amaanyi ge agewuunyisa. Nnagaambye ebintu bino nnali sibimanyiko nnyo; naye laba, ndi mukyamu, kubanga ndabye bingi ku byekusifu bye era n’amaanyi ge agewuunyisa; weewaawo, ddala mu kukuuma obulamu bw’abantu bano.

Wabula, nnakakanyaza omutima gwange, kubanga nnayitibwa emirundi mingi era saawuliranga; n’olwekyo nnamanya ebikwata ku bintu bino, naye nga sifaayo kumanya; n’olwekyo neeyongera okujeemera Katonda, mu bubi obw’omutima gwange, ddala okutuusa ku lunaku olw’okuna olw’omwezi guno ogw’omusanvu, oguli mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bw’abalamuzi.

Bwe nnali ntambula okulaba ow’ekika ow’okumpi ennyo, laba malayika wa Mukama y’andabikira n’agamba nti: Amuleki, ddayo eri ennyumba yo, kubanga ojja kuliisa nnabbi wa Mukama; weewaawo, omusajja omutukuvu, omusajja omulonde wa Katonda; kubanga asiibye ennaku nnyingi olw’ebibi by’abantu bano, era alumwa enjala, era onomusembeza mu nnyumba yo era omuliise, era anaakuwa omukisa n’ennyumba yo; era omukisa gwa Mukama gunabeera ku ggwe era n’ennyumba yo.

Era olwatuuka ne ŋŋondera eddoboozi lya malayika, era ne nzirayo okwolekera ennyumba yange. Era bwe nnali nga ŋŋenda ne nsanga omusajja malayika gwe yali aŋŋambye nti: Ojja kusembeza mu nnyumba yo; era laba ye musajja ono yennyini abadde ayogera nammwe ebikwata ku bintu bya Katonda.

Era Malayika y’aŋŋamba omusajja mutukuvu; n’olwekyo kimanyi nti musajja mutukuvu kubanga kyayogerwa malayika wa Katonda.

10 Era nate, nkimanyi ng’ebintu ebyo by’ajulidde bituufu; kubanga laba mbagamba nti Mukama nga bw’ali omulamu, ddala era bw’atyo bwe yatuma malayika we okundaga ebintu bino; era kino akikoze nga Aluma ono abeera mu nnyumba yange.

11 Kubanga laba, awadde omukisa ennyumba yange, ampadde omukisa, era ne bakazi bange, era n’abaana bange, era ne kitange n’ab’eŋŋanda zange; weewaawo, ddala n’ab’ekika kyange bonna abawadde omukisa, era omukisa gwa Mukama gusse kuffe okusinziira ku bigambo bye yayogera.

12 Era kaakano, Amuleki bwe yayogera ebigambo bino abantu ne batandika okwewuunya, nga balaba waliwo abajulizi abasukka mu omu abawadde obujulizi ku bintu ebyo bye baavunaanibwa, era n’ebyo ebyali bigenda okujja, okusinziira ku mwoyo ogw’obunnabbi ogwali mu bo.

13 Wabula, waaliwo abamu mu bo abaalowooza okubabuuza ebibuuzo, nti olw’obukujjukujju bwabwe batamettame mu bigambo byabwe, nti balyoke bafune obujulizi obubalumiriza, nti balyoke babaweeyo eri abalamuzi baabwe basobole okusalirwa omusango okusinziira ku mateeka, era nti basobole okuttibwa oba okusuulibwa mu kkomera, okusinziira ku musango omujweteke oba obujulizi obujingirire.

14 Kaakano be basajja abo abaali banoonya okubazikiriza, abaali bannamateeka, abaguliribwa oba abaalondebwanga abantu okukwasa amateeka mu biseera byabwe eby’okuwozesebwa, oba mu kuwozesebwa kw’ebikolobero by’abantu mu maaso g’abalamuzi.

15 Kaakano bannamateeka abo baali bayivu mu by’amasomo ag’engeri ez’abantu zonna era n’obukalabakalaba obw’abantu; era kino kyali kya kubasobozesa basobole okuba abakenkufu mu mulimu gwabwe.

16 Era olwatuuka ne batandika okubuuza Amuleki, nti basobole okumuleetera okutamattama mu bigambo bye, oba okukontana mu bigambo bye yalina okwogera.

17 Kaakano teebamanya nti Amuleki yali asobola okumanya enteekateeka zaabwe. Naye olwatuuka baatandika okumubuuza, n’ategeera ebirowoozo byabwe, era n’abagamba nti: Ayi mmwe omulembe omubi era omukyamu, mmwe bannamateeka era bannanfuusi, kubanga muteekawo emisingi gya setaani; kubanga muteekawo emitego era n’ebyambika okukwata abatuukirivu ba Katonda.

18 Muteekawo enteekateeka ez’okukyamya amakubo g’abatuukirivu, era n’okuwanula obusungu bwa Katonda bukke ku mitwe gyammwe, ddala eri okuzikirizibwa kw’abantu bano.

19 Weewaawo, Mosiya yayogera bulungi, eyali kabaka waffe eyasembayo, bwe yali anaatera okuwaayo obwakabaka, nga talina muntu yenna gw’ayinza kubuwa, ng’alagira nti abantu bano basaana bafugibwe amaloboozi gaabwe; weewaawo, yayogera bulungi nti singa ekiseera kinaatuuka eddoboozi ly’abantu bano okulonda obutali butuukirivu, kwe kugamba, singa ekiseera kituuka abantu bano okugwa mu kusobya, balibeera bengedde okuzikirizibwa.

20 Era kaakano mbagamba nti Mukama alamula bulungi obubi bwammwe; alangirira bulungi eri abantu bano, mu ddoboozi lya bamalayika be nti: Mwenenye mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.

21 Weewaawo, alangirira bulungi, mu ddoboozi lya bamalayika be nti: Nja kukka mu bantu bange, n’obutekubiira era n’obwenkanya mu ngalo zange.

22 Weewaawo, era mbagamba nti singa si ssaala z’abatuukirivu, abali kaakano mu nsi, nti ne kaakano mwandikyaliddwa okuzikirizibwa okw’enkomeredde; naye tekwandibadde kwa mataba, ng’abantu bwe baali mu nnaku za Nuuwa, wabula kyandibadde lwa njala, era ne kawumpuli, era n’ekitala.

23 Naye olw’essaala z’abatuukirivu mmwe mutaliziddwa; kaakano n’olwekyo, bwe munaagoba abatuukirivu mu mmwe olwo Mukama taliziyiza mukono gwe; naye mu busungu bwe obw’entiisa alivaayo okubalwanyisa; olwo mulikubibwa enjala, era ne kawumpuli, era n’ekitala; era ekiseera kinaatera okujja okuggyako nga mwenenyezza.

24 Era kaakano olwatuuka abantu ne beeyongera okusunguwalira Amuleki, era ne baleekaana, nga bagamba nti: Omusajja ono atyoboola amateeka gaffe ag’obwenkanya, era ne bannamateeka baffe abagezi be twalonda.

25 Naye Amuleki n’agolola omukono gwe, era na kyasanguza nnyo gye bali, ng’agamba nti: Ayi mmwe omulembe omubi era ogukyamye, lwaki Setaani yefuze nnyo emitima gyammwe? Lwaki mwagala okwewaayo gy’ali alyoke abeere n’obuyinza ku mmwe, okuziba amaaso gammwe, nti muleme okutegeera ebigambo ebyogerwa, okusinziira ku mazima gaabyo?

26 Kubanga laba, mpaddeko obujulizi obuvumirira amateeka gammwe? Temutegeera; mugamba nti nvumiridde amateeka gammwe; naye sikikoze, naye njogedde nga mpagira amateeka gammwe, eri okusingisibwa omusango.

27 Era kaakano laba, mbagamba nti, omusingi gw’okuzikirizibwa kw’abantu bano gutandika okuteekebwawo olw’obubi bwa bannamateeka bammwe era n’abalamuzi bammwe.

28 Era kaakano olwatuuka Amuleki bwe yamala okwogera ebigambo bino abantu ne bamubaaluukira nga bagamba nti: Kaakano tumanyi nti omusajja ono mwana wa setaani, kubanga atulimbye; kubanga ayogedde ebivumirira amateeka gaffe. Era kaakano agamba nti tannayogera birivumirira.

29 Era nate, avvodde bannamateeka baffe, era n’abalamuzi baffe.

30 Era olwatuuka bannamateeka ne bakiteeka mu mitima gyabwe nti bajjukire ebintu bino ebimulumiriza.

31 Era mu bo mwalimu omu erinnya lye Zeziromu. Kaakano ye yali akulembera okulumiriza Amuleki ne Aluma, olw’okuba ye yali omu ku basinga obukugu, ng’alina emirimu mingi gye yalina okukola mu bantu.

32 Kaakano ekigendererwa kya bannamateeka bano kyali kya kufuna nsimbi; era baafunanga ensimbi okusinziira ku mirimu gyabwe.