Scriptures
Aluma 27


Essuula 27

Mukama alagira Amoni okukulembera abantu ba Anti-Neefi-Leki mu kifo eky’obukuumi; Mukusisinkana Aluma, Amoni essanyu lyamubugaana n’aggwamu amaanyi; Abaneefi bawa ba Anti-Neefi-Leki ensi y’e Yasoni; Bayitibwa abantu ba Amoni. Nga mu mwaka gwa 90–77 nga Kristo tannazaalibwa.

Kaakano olwatuuka Abalamani abo abaali bagenze okulwana n’Abaneefi bakizuula nti, oluvannyuma lw’okulwana kwabwe okungi okubazikiriza, nti kyali kya busa okugezaako okubazikiriza,, ne baddayo nate mu nsi ya Neefi.

Era olwatuuka Abamaleki, olw’okufiirwa abaabwe, baali banyiivu nnyo. Era bwe baalaba nga tebasobola kufuna kwesasuza eri Abaneefi, baatandika okusiikuula abantu mu busungu eri baganda baabwe, abantu ba Anti-Neefi-Leki; kyebaava batandika nate okubazikiriza.

Kaakano abantu bano nate baagaana okukwata ebyokulwanyisa byabwe, era ne bakkiriza okuttibwa okusinziira ku kwagala kw’abalabe baabwe.

Kaakano Amoni ne baganda be bwe baalaba omulimu guno ogw’okuzikirizibwa mu abo be baali baagala ennyo, era ne mu abo abaali babaagala ennyo; kubanga baali bayisibwa nga bamalayika abatumiddwa Katonda okubalokola okuva mu kuzikirizibwa okw’olubeerera; n’olwekyo, Amoni ne baganda be bwe baalaba omulimu guno omunene ogw’okuzikirizibwa, ne babakwatirwa ekisa, era ne bagamba kabaka nti:

Leka tukuŋŋaanye abantu bano aba Mukama, era tuserengete mu nsi y’e Zalakemula eri baganda baffe Abaneefi, era tudduke okuva mu mikono gy’abalabe baffe, olwo tuleme kuzikirizibwa.

Naye kabaka n’abagamba nti: Laba, Abaneefi bajja kutuzikiriza, olw’ettemu n’ebibi ebingi bye tubakoze.

Era Amoni n’agamba: Nja kugenda neebuuze ku Mukama, era bw’anaatugamba nti, muserengete eri baganda baffe, onoogenda?

Era kabaka n’amugamba: Weewaawo, singa Mukama atugamba nti tugende, tujja kuserengeta eri baganda baffe, era tujja kuba baddu baabwe okutuusa lwe tunaasasulira ettemu n’ebibi ebingi bye tubakoze.

Naye Amoni n’amugamba nti: Kikontana n’etteeka lya baganda baffe, eryassibwawo kitange, okubaawo mu bo abaddu bonna; n’olwekyo tuserengete era twesigame ku kusaasira kwa baganda baffe.

10 Naye kabaka n’amugamba: webuuze ku Mukama, era bw’anaatugamba nti tugende, tujja kugenda; bwe kitaba ekyo tujja kuzikirira mu nsi.

11 Era olwatuuka Amoni n’agenda ne yebuuza ku Mukama, era Mukama n’amugamba:

12 Twala abantu obaggye mu nsi eno, baleme okuzikirira; kubanga setaani yefunzizza nnyo emitima gy’Abamaleki, asiikuula Abalamani okusunguwalira baganda baabwe okubatta; n’olwekyo batwale bave mu nsi eno; era abantu bano balina omukisa mu mulembe guno, kubanga nja kubakuuma.

13 Era kaakano olwatuuka Amoni yagenda n’ategeeza kabaka ebigambo byonna Mukama bye yali amugambye.

14 Era baakuŋŋaanya wamu abantu baabwe bonna, weewaawo, abantu ba Mukama bonna, era baakuŋŋaanya wamu ebisibo byabwe byonna n’amagana, era ne bava mu nsi, era ne bajja mu lukoola olwawula ensi ya Neefi okuva ku nsi ya Zalakemula, era ne basomoka ne bajja okumpi n’ensalo z’ensi.

15 Era olwatuuka Amoni n’abagamba nti: Laba, nze ne baganda bange tujja kugenda mu nsi ya Zalakemula, era mujja kusigala wano okutuusa bwe tunaakomawo; era tujja kugezesa emitima gya baganda baffe, oba baagala mujje mu nsi yaabwe.

16 Era olwatuuka Amoni bwe yali agenda mu nsi, ye ne baganda be ne basisinkana Aluma, emitala mu kifo ekyogeddwako; era laba, eno yali nsisinkano ya ssanyu.

17 Kaakano essanyu lya Amoni lyasukkirira ddala lyamujjula; weewaawo, yabugaana essanyu lya Katonda we, ddala n’okutuusa amaanyi ge okumuggwamu; era nate n’agwa ku ttaka.

18 Kaakano lino telyali ssanyu erisukkiridde? Laba, lino lye ssanyu nga teri n’omu alifuna okuggyako oyo aboneredde ddala era omunoonyi w’essanyu omwetoowaze.

19 Kaakano essanyu lya Aluma mu kusisinkana baganda be ddala lyali ly’amaanyi, era ate n’essanyu lya Alooni, erya Omuneeri, era ne Kimuni; naye laba essanyu lyabwe teryasukkirira kumalamu maanyi gaabwe.

20 Era kaakano olwatuuka Aluma n’akulembera baganda be okuddayo mu nsi y’e Zalakemula; ddala okutuuka mu nnyumba ye yennyini. Era ne bagenda ne babuulira ssabalamuzi ebintu byonna ebyali bibatuuseeko mu nsi ya Neefi, mu baganda baabwe, Abalamani.

21 Era olwatuuka ssabalamuzi n’ayisa ekirangiriro mu nsi yonna, ng’ayagala eddoboozi ly’abantu ku kikwata ku kukkiriza baganda baabwe, abaali abantu ba Anti-Neefi-Leki.

22 Era olwatuuka eddoboozi ly’abantu ne lijja, nga ligamba nti: Laba, tujja kuwaayo ensi ya Yasoni, eri ku luuyi olw’ebuvanjuba ku nnyanja, eyeegatta ku nsi Kyengera, eri mu bukiika obwa ddyo obw’ensi Kyengera; era ensi eno Yasoni ye nsi gye tunaawa baganda baffe okuba ey’obusika.

23 Era laba, tujja kuteeka amagye gaffe wakati w’ensi Yasoni n’ensi Neefi, tusobole okukuuma baganda baffe mu nsi Yasoni; era kino tukikolera baganda baffe, olw’okutya kwabwe okukwata ebyokulwanyisa eri baganda baabwe baleme okukola ekibi; era kuno okutya kwabwe okw’amaanyi kwajja olw’okwenenya kwabwe okw’amaanyi kwe baalina, olw’ettemu lyabwe eringi era n’obubi bwabwe obw’entiisa.

24 Era kaakano laba, kino kye tunaakolera baganda baffe, balyoke basikire ensi Yasoni; era tujja kubakuuma okuva eri abalabe baabwe n’amagye gaffe, ku kakwakkulizo nti bajja kutuwa ekitundu ku by’obugagga bwabwe okutuyamba tusobole okulabirira amagye gaffe.

25 Kaakano, olwatuuka Amoni bwe yawulira kino, n’addayo eri abantu ba Anti-Neefi-Leki, era ate ne Aluma naye, mu lukoola, gye baali basimbye weema zaabwe, era ne babategeeza ebintu bino byonna. Era ate Aluma yabanyumiza okukyusibwa kwe, ne Amoni era ne Alooni, era ne baganda be.

26 Era olwatuuka kyaleeta essanyu eringi mu bo. Era ne baserengeta mu nsi ya Yasoni, ne basenga ensi ya Yasoni; era Abaneefi baabayitanga abantu ba Amoni; n’olwekyo baayawulwanga n’erinnya eryo bulijjo okuva olwo.

27 Era baali mu bantu ba Neefi, era ne babalibwa mu bantu abaali ab’ekkanisa ya Katonda. Era ate nga bawulwa olw’obunyiikivu bwabwe eri Katonda, era n’eri abantu; kubanga baali beesimbu era ba mazima mu bintu byonna; era baali banywevu mu kukkiriza kwa Kristo, ddala okutuusa ku nkomerero.

28 Era batunuuliranga eky’okuyiwa omusaayi gwa baganda baabwe n’obukyayi obusingira ddala; era nga tekisoboka kusendebwasendebwa kukwata byakulwanyisa eri baganda baabwe; era tebatunuuliranga kya kufa wadde n’ekigero kyonna eky’entiisa, olw’essuubi n’entegeera yaabwe eya Kristo n’okuzuukira; n’olwekyo, eri bo okufa kwamiribwa mu buwanguzi bwa Kristo.

29 N’olwekyo, baali bewaayo okufa mu ngeri esinga obukambwe n’obulumi eyali eyinza okubatuusibwako baganda baabwe, nga tebannakwata kitala oba ekyambe okubatema.

30 Era bwe batyo baali abantu abanyiikivu era abaagalwa, abantu ba Mukama abaganzi ennyo.