Scriptures
Aluma 25


Essuula 25

Obulumbaganyi bw’Abalamani busaasaana; Ezzadde lya bakabona ba Nuuwa lisaanawo nga Abinadi bwe yawa obunnabbi; Abalamani bangi bakyuka ne beegatta ku bantu ba Anti-Neefi-Leki; Bakkiririza mu Kristo era bakuuma amateeka ga Musa. Nga mu mwaka gwa 90–77 nga Kristo tannazaalibwa.

Era laba, kaakano olwatuuka Abalamani abo ne beeyongera okusunguwala kubanga baali basse baganda baabwe; n’olwekyo kyebaava balayira okuwoolera eri Abaneefi; era tebaddamu kugezaako kutta bantu ba Anti-Neefi-Leki mu kiseera ekyo.

Naye ne baatwala eggye lyabwe ne basomoka ne bagenda mu nsalo z’ensi y’e Zalakemula, era ne bakkakkana ku bantu abaali mu nsi ya Amonayika ne babazikiriza.

Era oluvannyuma lw’ekyo, baalwana entalo nnyingi n’Abaneefi, mwe baagobebwa era ne battibwa.

Era mu Balamani abattibwa mwe mwali kumpi ezzadde lya Amulooni ne baganda be bonna, abaali bakabona ba Nuuwa, era ne battibwa emikono gy’Abaneefi;

Era abaasigalawo, nga baddukira mu lukoola olw’ebuvanjuba, era oluvannyuma lw’okuwamba obukulembeze n’obuyinza okuva ku Balamani, ne balagira nti bangi ku Balamani basirikke mu muliro olw’okukkiriza kwabwe;

Kubanga bangi ku bo, oluvannyuma lw’okufiirwa okw’amaanyi era n’okufuna ebibonoobono ebingi, baatandika okusiikuulwa mu kujjukira ebigambo Alooni ne baganda be bye baali baababuulidde mu nsi yaabwe; n’olwekyo baatandika obutakkiririza mu bulombolombo bwa bakitaabwe, era n’okukkiririza mu Mukama, era nti yawa Abaneefi amaanyi amangi; era bwe kityo waaliwo bangi ku bo mu lukoola abaakyusibwa.

Era olwatuuka abafuzi abo abaali baasigalawo ku baana ba Amulooni baalagira nti battibwe, weewaawo, abo bonna abakkiririzanga mu bintu bino.

Kaakano okuttibwa kw’abajulizi kuno kwaviirako baganda baabwe bangi okusiikuulwa mu busungu; era ne watandika okubaawo okukaayana mu lukoola; era Abalamani ne batandika okuyigga ezzadde lya Amulooni ne baganda be era ne batandika okubatta; era ne baddukira mu lukoola olw’ebuvanjuba.

Era laba bayiggibwa Abalamani ku lunaku luno. Bwe bityo ebigambo bya Abinadi ne bituukirira, bye yayogera ebikwata ku zzadde lya bakabona abaamuviirako okufa omuliro.

10 Kubanga yabagamba: Kye munaantuusaako kiriba kabonero ka bintu ebigenda okujja.

11 Era kaakano Abinadi ye yasooka okufa omuliro olw’okukkiriza kwe mu Katonda; kaakano kino kye yali ategeeza, nti bangi baakufa omuliro, nga bwe yali abonyeebonye.

12 Era yagamba bakabona ba Nuuwa nti ezzadde lyabwe lyakuviirako bangi okuttibwa, mu ngeri y’emu nga ye bwe yali, era nti baakusaasaanyizibwa mu mawanga era battibwe, ng’endiga etalina musumba bw’egobebwa n’ettibwa ensolo ez’omu nsiko; era kaakano laba, ebigambo bino byatuukirira, kubanga baagobebwa Abalamani, era ne bayigganyizibwa, era ne bakubibwa.

13 Era olwatuuka Abalamani bwe baalaba nga tebasobola kuwangula Baneefi ne baddayo nate mu nsi yaabwe; era bangi ku bo ne bajja okubeera mu nsi ya Isimayiri n’ensi ya Neefi, ne beegatta ku bantu ba Katonda, abaali abantu ba Anti-Neefi-Leki.

14 Era nabo baaziika ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo, nga baganda baabwe bwe baakola, era ne batandika okuba abantu abatuukirivu; era ne batambulira mu makubo ga Mukama, era ne baafuba okukuuma ebiragiro bye n’amateeka ge.

15 Weewaawo, era baakuuma amateeka ga Musa; kubanga kyali kyetaagisa nti bakuume amateeka ga Musa nga bwe balindirira ebijja, kubanga byonna byali tebinnatuukirira. Naye nga oggyeko amateeka ga Musa, baali beesunga okujja kwa Kristo, nga balowooza nti amateeka ga Musa gali kabonero akooleka okujja kwe, era nga bakkiriza nti balina okukuuma ebikolwa ebyo ebirabika okutuusa ekiseera mwe yalina okweyoleka gye bali.

16 Kaakano tebaalowooza nti obulokozi bwajja lw’amateeka ga Musa; naye amateeka ga Musa gaayamba okunyweza okukkiriza kwabwe mu Kristo; era bwe batyo ne basigaza essuubi okuyita mu kukkiriza, eri obulokozi obutaggwaawo, nga beesigamye ku mwoyo ogw’obunnabbi, ogw’ayogera ku bintu ebyo ebirijja.

17 Era kaakano laba, Amoni, era ne Alooni, era ne Omuneeri, era ne Kimuni, era ne baganda baabwe ne basanyuka nnyo, olw’obuwanguzi bwe baali bafunye mu Balamani, bwe balaba nga Mukama yali abawadde okusinziira ku kusaba kwabwe, era nti yali ate akakasizza ekigambo kye gye bali mu buli kimu.