Essuula 2
Amulisi afuba okubeera kabaka era n’agaanibwa eddoboozi ly’abantu; Abagoberezi be bamufuula kabaka; Abamulisi bakola olutalo ku Baneefi ne bawangulwa; Abalamani n’Abamulisi beegatta ne bawangulwa; Aluma atta Amulisi. Nga mu mwaka gwa 87 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka ku ntandikwa ey’omwaka ogw’okutaano ogw’obufuzi bwabwe ne watandikawo oluyombo mu bantu; kubanga omusajja omu, nga ayitibwa Amulisi, nga musajja mukujjukujju nnyo, weewaawo, omusajja omugezi nga amagezi g’ensi bwe gaba, ng’agoberera ennambika ey’omusajja eyatta Gidiyoni n’ekitala, eyattibwa ng’amateeka bwe gaalagira;
2 Kaakano Amulisi ono yali, olw’obukujjukujju bwe, asenzesenze abantu bangi okumugoberera; ddala mu bungi nti baatandika okuba ab’amaanyi ennyo; era ne batandika eky’okuteekawo Amulisi okubeera kabaka w’abantu.
3 Kaakano kino kyali kisasamaza eri abantu b’ekkanisa, era n’abo bonna abaali batannasendebwasendebwa Amulisi; kubanga baali bakimanyi nti okusinziira ku mateeka gaabwe nti ebintu nga ebyo biteekwa okuteekebwawo eddoboozi ly’abantu.
4 N’olwekyo, singa kyali kisoboka Amulisi okufuna eddoboozi ly’abantu, ye, olw’okuba omusajja omubi, yandibaggyeko eddembe lyabwe n’okwegazaanyiza mu kkanisa; kubanga kyali ekigendererwa kye okuzikiriza ekkanisa ya Katonda.
5 Era olwatuuka abantu ne bakuŋŋaanira wamu mu nsi yonna, buli muntu okusinziira ku ndowooza ye, oba bawagira oba bawakanya Amulisi, mu bibinja eby’enjawulo, ebirina enkaayana ennyingi era n’ennyombo ez’ekitalo buli omu n’omulala.
6 Era bwe batyo ne bakuŋŋaana awamu okusalawo mu maloboozi gaabwe agakwata ku nsonga eyo; ne ganjulibwa mu maaso g’abalamuzi.
7 Era olwatuuka eddoboozi ly’abantu ne lijja nga liwakanya Amulisi, nti n’atafuulibwa kabaka w’abantu.
8 Era kino kyaleeta essanyu lingi mu mitima gy’abo abaali bamuwakanya; naye Amulisi yasiikuula abo abaali bamuwagira okusunguwalira abo abaali batamuwagira.
9 Era olwatuuka ne bakuŋŋaanira awamu, ne batikkira Amulisi okuba kabaka waabwe.
10 Kaakano Amulisi bwe yafuulibwa kabaka wabwe n’abalagira bakwate ebyokulwanyisa okulumba baganda baabwe; era kino yakikola alyoke abafuge.
11 Kaakano abantu b’Amulisi bayawulwanga n’erinnya lya Amulisi, nga bayitibwa Abamulisi; n’abasigalawo ne bayitibwa Abaneefi, oba abantu ba Katonda.
12 N’olwekyo abantu b’Abaneefi baali bamanyi ekigendererwa ky’Abamulisi, era n’olwekyo ne babeetegekera okubasisinkana; weewaawo, baali bulindaala n’ebitala, era n’ebiso, era n’emitego, era n’obusaale, era n’amayinja, era n’envuumuulo, era n’ebyokulwanyisa eby’entalo ebya buli ngeri, ebya buli kika.
13 Era bwe batyo baali beetegefu okusisinkana Abamulisi mu kiseera eky’okujja kwabwe. Era waaliwo abalondebwamu nga abakulu ab’eggye, era n’abakulu ab’eggye ab’oku ntikko, era ne ba ssenkulu ab’eggye, okusinziira ku miwendo gyabwe.
14 Era olwatuuka Amulisi n’awa basajja be ebyokulwanyisa eby’engeri zonna eby’entalo ebya buli kika; era naye n’alonda abafuzi n’abakulembeze eri abantu be, okubakulembera okulwana ne baganda baabwe.
15 Era olwatuuka Abamulisi ne batuuka ku lusozi Amuniku, olwali ebuvanjuba bw’omugga Sidoni, ogwali gukulukuta okuyita kumpi n’ensi y’e Zalakemula, era eyo ne batandika okukola olutalo n’Abaneefi.
16 Kaakano Aluma, nga ye yali ssaabalamuzi era nga ye omufuzi w’abantu ba Neefi, kyeyava ayambuka n’abantu be, weewaawo, n’abakulu be ab’eggye, era ne ba ssenkulu ab’eggye, weewaawo, ate nga y’akuliddemu amagye ge, okulwanyisa Abamulisi mu lutalo.
17 Era baatandika okutta Abamulisi ku lusozi ebuvanjuba bwa Sidoni. Era Abamulisi ne balwana n’Abaneefi n’amaanyi mangi, ne kiba nti bangi ku Baneefi baafiira mu maaso g’Abamulisi.
18 Wabula Mukama yanyweza omukono gw’Abaneefi, nti batta Abamulisi n’okuttibwa okuyitiridde, nti baatandika okudduka mu maaso gaabwe.
19 Era olwatuuka Abaneefi baagoba Abamulisi olunaku olwo lwonna, ne babatta n’okuttibwa okuyitiridde, ne kiba nti waaliwo abattibwa ku Abamulisi emyoyo emitwalo kkumi n’ebiri mu ebikumi bitaano mu asatu mu babiri; era waaliwo abattibwa ku Baneefi emyoyo kakaaga mu ebikumi bitaano mu nkaaga mu babiri.
20 Era olwatuuka Aluma bwe yali nga takyeyongerayo kugoba Bamulisi yalagira abantu be okusimba weema zaabwe mu kiwonvu ekya Gidiyoni, ekiwonvu nga kiyitibwa erinnya lya Gidiyoni oyo eyattibwa omukono gwa Nekoli n’ekitala; era mu kiwonvu kino Abaneefi baasimba weema zaabwe obw’ekiro.
21 Era Aluma yatuma abakessi okugoberera abasigalawo ku Bamulisi, nti asobole okumanya ku nteekateeka zaabwe era n’enkwe zaabwe, olwo alyoke abeerinde, nti alyoke akuume abantu be obutazikirizibwa.
22 Kaakano abo be yatuma okwekenneenya enkambi y’Abamulisi nga bayitibwa Zeramu, era ne Amuna, era ne Manti, era ne Limukeri; bano be baagenda n’abasajja baabwe okwekenneenya enkambi y’Abamulisi.
23 Era olwatuuka enkeera ne baddayo mu nkambi ey’Abaneefi mu bwangu ennyo, nga beewuunya nnyo, era nga bakubiddwa encukwe, nga bagamba nti:
24 Laba, twagoberera enkambi ya’Abamulisi, era ekitwewuunyisizza ennyo, mu nsi y’e Minoni, waggulu w’ensi ey’e Zalakemula, nga odda ku luuyi olw’ensi ya Neefi, tulabye amagye g’Abalamani amayitirivu; era laba, Abamulisi babeegasseeko;
25 Era bali ku baganda baffe mu nsi eyo; era badduka mu maaso gaabwe n’ebisibo byabwe, era n’abakazi baabwe, era n’abaana baabwe, nga boolekedde ekibuga kyaffe; era okuggyako nga twanguye, baakwefunira ekibuga kyaffe, era ne bakitaffe, era n’abakazi baffe, era n’abaana baffe battibwe.
26 Era olwatuuka abantu ba Neefi ne batwala weema zaabwe, ne bava mu kiwonvu ekya Gidiyoni okwolekera ekibuga kyabwe, ekyali ekibuga eky’e Zalakemula.
27 Era laba, bwe baali basomoka omugga Sidoni, Abalamani n’Abamulisi, nga kumpi bayitirivu nnyo, nga bwekyalibadde, nga omusenyu ogw’omu nnyanja, baabakkakkanako okubazikiriza.
28 Wabula, Abaneefi nga banywezeddwa omukono gwa Mukama, nga bamaze okumusaba n’amaanyi nti abawonye okuva mu mikono gy’abalabe baabwe, n’olwekyo Mukama yawulira emiranga gyabwe, era n’abanyweza, era Abalamani n’Abamulisi baafiira mu maaso gaabwe.
29 Era olwatuuka Aluma n’alwana ne Amulisi n’ekitala, maaso ku maaso; ne bayomba nnyo, buli omu n’omulala.
30 Era olwatuuka Aluma, olw’okubeera omusajja wa Katonda, nga ajjuziddwa okukkiriza okuyitirivu, yawanjaga, ng’agamba nti: Ayi Mukama, nsaasira era otalize obulamu bwange, nsobole okubeera ekikozesebwa mu mikono gyo okulokola n’okukuuma abantu bano.
31 Kaakano Aluma bwe yamala okwogera ebigambo bino n’alwana nate ne Amulisi; era yanywezebwa, mu ngeri nti yatta Amulisi n’ekitala.
32 Era nate yayomba ne kabaka w’Abalamani; naye kabaka w’Abalamani yadduka n’addayo okuviira Aluma era n’asindika abakuumi be okulwana ne Aluma.
33 Naye Aluma, n’abakuumi be, baalwana n’abakuumi ba kabaka w’Abalamani okutuusa lwe yabatta era n’abagoba okubazzaayo.
34 Era bw’atyo yalongoosa ekitundu, oba kale olubalama, olwali mu bugwanjuba obw’omugga Sidoni, ng’asuula emirambo gy’Abalamani abaali battiddwa mu mazzi ga Sidoni, abantu be basobole okufuna webayita okusomoka era balwane n’Abalamani n’Abamulisi ku luuyi olw’ebugwanjuba obw’omugga Sidoni.
35 Era olwatuuka bonna bwe baamala okusomoka omugga Sidoni, Abalamani n’Abamulisi ne batandika okudduka mu maaso gaabwe, wadde nga baali bayitirivu nnyo nti tekyasoboka kubalibwa.
36 Era ne badduka mu maaso g’Abaneefi okwolekera olukoola olwali ebugwanjuba n’obukiika obwa kkono, ewala emitala w’ensalo z’ensi; era Abaneefi ne babagoberera n’amaanyi gaabwe, ne babatta.
37 Weewaawo, ne babaazingiza ku buli mukono, era ne battibwa era ne bagobebwa, okutuusa lwe baasaasaana ku luuyi olw’ebugwanjuba, era n’olwe bukiika obwa kkono, okutuusa lwe baatuuka mu lukoola, olwali luyitibwa Kamawuntisi; era kye kitundu ekyo eky’olukoola ekyali kijjudde ebisolo eby’omu nsiko era ebikambwe.
38 Era olwatuuka bangi baafiira mu lukoola olw’ebisago byabwe, era baaliibwa ensolo ezo era n’ensega ez’omu bbanga; era amagumba gaabwe gazuuliddwa, era gatuumiddwa ku nsi.