Scriptures
Aluma 50


Essuula 50

Moloni anyweza ensi z’Abaneefi; Bazimba ebibuga ebipya bingi; Entalo n’okuzikirizibwa byatuuka ku Baneefi mu nnaku ez’obubi n’ebizira byabwe; Moliyantoni n’abo bakyewaggula bawangulwa Tiyankamu; Nefayika afa, era mutabani we Pakolani atuula ku ntebe ey’obulamuzi. Nga mu mwaka gwa 72–67 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano olwatuuka Moloni teyalekera awo kukola nteekateeka ez’olutalo, oba okulwanirira abantu be eri Abalamani; kubanga yalagira amagye ge okutandika ku ntandikwa y’omwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bw’abalamuzi, okutandika okubibira entuumu z’ettaka okwetooloola ebibuga byonna, mu nsi yonna eyali yasengebwamu Abaneefi.

Era ku ntikko y’ebibibiro bino eby’ettaka yalagira wateekebweyo emiti, weewaawo, ebigo eby’emiti ebizimbiddwa okutuuka ku buwanvu bw’omuntu, okwetooloola ebibuga.

Era yalagira ku bigo eby’emiti kuteekebweko omusekese gw’ebikondo ebisongole okubyetooloola; era gyali migumu era nga miwanvu.

Era yalagira eminaala okuzimbibwa egyali girengera waggulu w’ebikondo ebisongole, era yalagira ebifo eby’obukuumi okuzimbibwa ku minaala egyo, olwo amayinja n’obusaale eby’Abalamani bireme okubalumya.

Era baali beeteefuteefu okukasuka amayinja okuva waggulu ku gyo, okusinziira ku kye baali baagala n’amaanyi gaabwe, era batte oyo anaagezaako okusembera okumpi ne bbugwe ow’ekibuga.

Bw’atyo Moloni y’ateekateeka ebigo okwerinda okujja kw’abalabe baabwe, okwetooloola buli kibuga mu nsi yonna.

Era olwatuuka Moloni yalagira amagye ge okugenda mu lukoola lw’ebuvanjuba; weewaawo, era baagenda ne bagoba Abalamani bonna abaali mu lukoola lw’ebuvanjuba mu nsi zaabwe, ezaali mu bukiika obwa ddyo obw’ensi y’e Zalakemula.

Era ensi ya Neefi yali nga yamuseetwe okuva ku nnyanja ey’ebuvanjuba okutuuka mu bugwanjuba

Era olwatuuka Moloni bwe yali agobye Abalamani bonna okuva mu lukoola olw’ebuvanjuba, olwali mu bukiika obwa kkono obw’ensi zaabwe, yalagira abatuuze abaali mu nsi ya Zalakemula ne mu nsi eyeetoolodde okweyongerayo mu lukoola lw’ebuvanjuba, okutuukira ddala ku nsalo eziriraanye olubalama lw’ennyanja, era batwale ensi.

10 Era nate y’ateeka amagye ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo, ku nsalo z’amatwale gaabwe, era yabalagira okuzimba ebigo basobole okukuuma amaggye gaabwe n’abantu baabwe okuva mu mikono gy’abalabe baabwe.

11 Era bw’atyo yasalako ebigo byonna eby’Abalamani mu lukoola olw’ebuvanjuba, weewaawo, era ate n’ebugwanjuba, ng’anyweza olukooto olwawula wakati w’Abaneefi n’Abalamani, wakati w’ensi ya Zalakemula n’ensi ya Neefi, okuva ku nnyanja ey’ebugwanjuba, nga lutuuka kumpi n’ensibuko y’omugga Sidoni; Abaneefi nga balina ensi yonna ey’obukiika obwa kkono, weewaawo, ddala n’ensi yonna eyali mu bukiika obwa kkono obw’ensi Kyengera, okusinziira ku kwagala kwabwe.

12 Bw’atyo Moloni, n’amagye ge, ageyongerangako buli lunaku olw’obukakafu bw’obukuumi emirimu gye bwe gyabaleetera, yafuba okusalako amaanyi n’obuyinza bw’Abalamani okuva ku nsi yaabwe, olwo baleme kuba na buyinza ku nsi ez’obusika bwabwe.

13 Era olwatuuka Abaneefi baatandika omusingi gw’ekibuga, era ekibuga baakituuma erinnya Moloni; era kyali kumpi n’ennyanja ey’ebuvanjuba; era kyali ku luuyi olw’obukiika obwa ddyo ku nsalo ez’amatwale g’Abalamani.

14 Era ne batandika omusingi gw’ekibuga wakati w’ekibuga Moloni n’ekibuga ky’Alooni, nga kigatta ensalo za Alooni ne Moloni; ne batuuma ekibuga, oba ensi, Nefayika.

15 Era ate baatandika mu mwaka ogwo gwe gumu okuzimba ebibuga bingi ku luuyi olw’obukiika obwa kkono, ekimu mu ngeri ey’enjawulo kye baayita Leki, ekyali mu bukiika obwa kkono ku nsalo z’olubalama lw’ennyanja.

16 Era bwe gutyo omwaka ogw’amakumi abiri bwe gwaggwako.

17 Era mu mbeera zino ez’enkulaakulana abantu ba Neefi ze baalimu ku ntandikwa y’omwaka ogw’amakumi abiri mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.

18 Era baakulaakulana nnyo, era baagaggawala nnyo; weewaawo, ne beeyongera obungi era ne bafuuka b’amaanyi mu nsi.

19 Era bwe tutyo tulaba enkola za Mukama zonna bwe ziri ez’obusaasizi era ez’obwenkanya, okutuukiriza ebigambo bye byonna eri abaana b’abantu; weewaawo, tusobola okulaba nga ebigambo bye bikakasibwa, ddala mu kiseera kino, kye yayogera ne Leki, ng’agamba nti:

20 Owereddwa omukisa ggwe n’abaana bo; era baliweebwa omukisa, kasita banaakuumanga ebiragiro byange balikulaakulana mu nsi. Naye jjukira, kasita bataakuumenga biragiro byange baliboolebwa okuva mu maaso ga Mukama.

21 Era tulaba nti ebisuubizo bino bikakasiddwa eri abantu ba Neefi; kubanga kubadde kuyomba kwabwe n’okukaayana kwabwe, weewaawo, ettemu lyabwe, n’okunyaga kwabwe, okusinza kwabwe okw’ebifaananyi, obwenzi bwabwe, n’ebizira byabwe, ebyali masekkati gaabwe, ebyabaleetera entalo zaabwe n’okuzikirizibwa kwabwe.

22 Era abo abaali abeesigwa mu kukuuma ebiragiro bya Mukama baanunulwanga ebiseera byonna, so nga enkumi n’enkumi za baganda baabwe ababi baweereddwayo mu buddu, oba okuzikirizibwa n’ekitala, oba okubulira mu butakkiriza, era n’okwetaba n’Abalamani.

23 Naye laba tewabangawo kiseera kya ssanyu mu bantu ba Neefi, okuva mu biro bya Neefi, okusinga mu biro bya Moloni, weewaawo, ddala mu kiseera kino, mu mwaka ogw’amakumi abiri mu ogumu ogw’obufuzi bw’abalamuzi.

24 Era olwatuuka omwaka ogw’amakumi abiri mu ebiri ogw’obufuzi bw’abalamuzi nagwo ne guggwa mu mirembe; weewaawo, era ate n’omwaka ogw’amakumi abiri mu esatu.

25 Era olwatuuka ku ntandikwa y’omwaka ogw’amakumi abiri mu ena ogw’obufuzi bw’abalamuzi, era wandibaddewo emirembe mu bantu ba Neefi singa tewaaliwo nnyombo masekkati gaabwe ku bikwata ku nsi ya Leki, n’ensi ya Moriyantoni, eyakwatagananga n’ensalo za Leki; byombi ebyali ku nsalo ku lubalama lw’ennyanja.

26 Kubanga laba, abantu abaali mu nsi ya Moliyantoni baali bakaayanira ekitundu ku nsi ya Leki; n’olwekyo kyewava watandika okubaawo okunen󠅋eŋŋana okw’ebbugumu wakati waabwe, ddala okutuusa nti abantu ba Moliyantoni baabagalira ebyokulwanyisa eri baganda baabwe, era baali bamalirivu n’ekitala okubatta.

27 Naye laba, abantu abaali babeera mu nsi ya Leki baddukira mu nkambi ya Moloni, ne bamwegayirira okuyambibwa; kubanga laba tebaali mu nsobi.

28 Era olwatuuka abantu ba Moliyatoni, abaali bakulemberwa omusajja erinnya lye lyali Moliyatoni, bwe baalaba ng’abantu ba Leki baddukidde mu nkambi ya Moloni, baatya nnyo si kulwa nga eggye lya Moloni libatuukako ne libazikiriza.

29 N’olwekyo, Moliyantoni yakiteeka mu mitima gyabwe nti balina okuddukira mu nsi eyali mu bukiika obwa kkono, eyali ejjudde amazzi amangi, era batwale ensi eyali mu bukiika obwa kkono.

30 Era laba, bandibadde bateeka mu nkola enteekateeka eno, (eyandibadde ensonga ereetera okwejjusa) naye laba, Moliyantoni olw’okuba omusajja ow’akasunguyira ennyo, n’olwekyo yali munyiivu n’omu ku bazaana be, era yamulumba n’amukkakkanako n’amukuba nnyo.

31 Era olwatuuka y’adduka, n’ajja mu nkambi ya Moloni, era n’abuulira Moloni byonna ebikwata ku nsonga eyo, era n’ebikwata ku bigendererwa byabwe eby’okuddukira mu nsi ey’ebukiika obwa kkono.

32 Kaakano laba, abantu abaali mu nsi Kyengera, oba kaŋŋambe Moloni, yatya nti bayinza okuwuliriza ebigambo bya Moliyantoni ne beegatta n’abantu be, era bw’atyo yandifunye obuyinza ku bitundu ebyo eby’ensi, ekyanditaddewo omusingi ogw’embeera enzibu masekkati g’abantu ba Neefi, weewaawo, embeera enzibu eyandiviiriddeko okuvunikibwa kw’ebbeetu lyabwe.

33 N’olwekyo Moloni y’asindika eggye, n’enkambi yonna okusanga abantu ba Moliyantoni, okuyimiriza okudduka kwabwe okudda mu nsi y’obukiika obwa kkono.

34 Era olwatuuka tebaabasanga okutuusa lwe baatuuka ku nsalo z’ensi Matongo; era eyo gye baabasanga, okuyita mu kkubo effunda eryali liyita ku nnyanja okudda mu nsi y’ebukiika obwa kkono, weewaawo, ku nnyanja, ku luuyi olw’ebuggwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba.

35 Era olwatuuka eggye eryasindikibwa Moloni, eryakulemberwa omusajja erinnya lye Tiyankamu, lya sisinkana abantu ba Moliyantoni; era abantu ba Moliyantoni baali bakakanyavu nnyo, (nga baluŋŋamizibwa obubi bwe n’ebigambo bye eby’okwewaana) olwo olutalo ne lutandika wakati waabwe, Tiyankamu mweyattira Moliyantoni n’awangula n’eggye lye, n’abatwala ng’abasibe, n’adda mu nkambi ya Moloni. Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’amakumi abiri mu ena ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.

36 Era bwe batyo abantu ba Moliyantoni baakomezebwawo. Era ku lw’okulagaana kwabwe okukuuma emirembe baakomezebwawo mu nsi ya Moliyatoni, era ensisinkano ne baawo wakati waabwe n’abantu ba Leki; era nabo ne bazzibwayo mu bibanja byabwe.

37 Era olwatuuka mu mwaka gwe gumu abantu ba Neefi mwe baddizibwa emirembe, olwo Neefika, ssabalamuzi ow’okubiri, yafa, nga yali atudde mu ntebe ey’obulamuzi n’obwesimbu obutuukiridde mu maaso ga Katonda.

38 Wabula, yali yagaana okutwala okuva eri Aluma ebiwandiiko ebyo n’ebintu ebyo Aluma ne bajjajjaabe bye baatwalanga okuba ebitukuvu ennyo; n’olwekyo Aluma yali abiwadde mutabani we, Keramani.

39 Laba, olwatuuka mutabani wa Nefayika yalondebwa okutuula ku ntebe ey’obulamuzi, mu kifo kya kitaawe; weewaawo, yalondebwa okuba ssabalamuzi era omufuzi eri abantu, n’ekirayiro n’omukolo omutukuvu okulamula mu butuukirivu, n’okukuuma emirembe n’okwetaaya kw’abantu, era n’okubawa eddembe lyabwe eritajjulukuka ery’okusinza Mukama Katonda waabwe, weewaawo, okuwagira n’okukuuma ensonga ya Katonda ennaku ze zonna, n’okuleeta ababi eri obwenkanya okusinziira ku misango gyabwe.

40 Kaakano laba, erinnya lye lyali Pakolani. Era Pakolani yadda ku ntebe ya kitaawe, era n’atandika okufuga kwe ku nkomerero ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu ena, eri abantu ba Neefi.