Ebigambo bya Aluma bye yayogera eri abantu e Gidiyoni, okusinziira ku kiwandiiko kye kennyini.
Mulimu essuula 7.
Essuula 7
Kristo ajja kuzaalibwa Maliyamu; Ajja kusumulula emiguwa gy’okufa era yeettike ebibi by’abantu be; Abo abenenya, ne babatizibwa, era ne bakuuma ebiragiro bajja kuba n’obulamu obutaggwaawo; Obugwagwa tebusobola kusikira bwakabaka bwa Katonda; Obwetoowaze, okukkiriza, essuubi, n’okwagala okwa nnamaddala byetaagibwa. Nga mu mwaka gwa 83 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Laba baganda bange abaagalwa, nga bwe mulaba nti nzikiriziddwa okujja gye muli, n’olwekyo ngezaako okwogerako gye muli mu bigambo byange; weewaawo, n’akamwa kange, nga bwe mulaba nti gwe mulundi ogusoose okwogera gye muli n’ebigambo by’akamwa kange, nga nnina ebinkwatidde mu ntebe ey’obulamuzi, nga mbadde na bingi eby’okukola nti sisobodde kujja gye muli.
2 Era ssandisobodde kujja na kaakano mu kiseera kino singa si nti entebe ey’obulamuzi ewereddwa omulala, okufuga mu kifo kyange; era Mukama mu kusaasira okungi ennyo akkirizza nzijje gye muli.
3 Era laba, nzize nga nnina essuubi lingi n’okuyaayaana okuyitiridde nti nsobole okubasisinkana nga mwetoowazizza mu maaso ga Katonda, era nga mukyagenda mu maaso n’okwegayirira olw’ekisa kye, nti mbasange nga temulina musango mu maaso ge, nti nsange nga temuli mu buzibu obw’amaanyi obwo baganda baffe bwe baalimu e Zalakemula.
4 Naye erinnya lya Katonda lyebazibwe, nti ampadde okumanya, weewaawo, ampadde essanyu erisukkiridde ery’okumanya nti batebenkedde nate mu kkubo ery’obutuukirivu bwe.
5 Era nnina essuubi, okusinziira ku Mwoyo wa Katonda ali mu nze, nti nange naafuna essanyu ku bibakwatako; wabula ssaagala ssanyu lyange ku bibakwatako nti lijje nga liyita mu bibonoobono n’okunakuwala okungi ennyo kwembadde nakwo eri ab’oluganda e Zalakemula, kubanga laba, essanyu lyange lijja ku bibakwatako abo oluvannyuma olw’okuwaguza okuyita mu bibonoobono eby’amaanyi ennyo n’ennaku.
6 Naye laba, nnina essuubi nti temuli mu mbeera ey’obutakkiriza obungi ennyo nga baganda bammwe bwe baali; Nnina essuubi nti temwekulumbazizza mu malala g’emitima gyammwe; weewaawo, nnina essuubi nti temutadde mitima gyammwe ku bugagga n’ebintu ebutaliimu nsa eby’ensi; weewaawo, nnina essuubi nti temusinza bifaananyi, wabula nti musinza Katonda ow’amazima era omulamu, era nti mulindirira okusonyiyibwa kw’ebibi byammwe, n’okukkiriza okw’olubeerera, okwo okulijja.
7 Kubanga laba, mbagamba nti waliwo ebintu bingi ebirijja; era laba, waliwo ekintu kimu ekikulu okusinga byonna; kubanga laba, ekiseera tekiri wala nnyo nti Omununuzi mulamu era ajja mu bantu be.
8 Laba, sigamba nti ajja kujja mu ffe mu kiseera eky’okubeera kwe mu weema ye ey’okufa; kubanga laba, Omwoyo taŋŋambye nti kino bwe kiribeera bwe kityo. Kaakano ku kintu kino simanyi; naye kino kye mmanyi, nti Mukama Katonda alina amaanyi okukola ebintu byonna okusinziira ku kigambo kye.
9 Naye laba, Omwoyo ayogedde bingi gye ndi, ng’agamba nti: Langirira eri abantu bano, nga ogamba nti mwenenye, era mutegeke ekkubo lya Mukama, era mutambulire mu makubo ge, amagolokofu; kubanga laba, obwakabaka obw’omu ggulu buli kumpi, era Omwana wa Katonda ajja ku lukalu lw’ensi.
10 Era laba, alizaalibwa Malyamu, e Yerusaalemi nga y’ensi ya bajjajjaffe, ye nga mbeerera, ekibya eky’omuwendo era ekironde, alisiikirizibwa era naafuna olubuto olw’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, alizaala omwana ow’obulenzi, weewaawo, nga era ye Mwana wa Katonda.
11 Era aligenda mu maaso, n’okubonaabona mu bulumi n’ebibonoobono era n’okukemebwa okwa buli ngeri; era kino olwo ekigambo kituukirire ekigamba nti alyetikka obulumi n’endwadde z’abantu be.
12 Era alyetikka okufa, asobole okusumulula emiguwa egy’okufa egisiba abantu be; era alyetikka obunafu bwabwe, nti enda ye ejjuzibwe okusaasira, okusinziira ku mubiri, asobole okumanya okusinziira ku mubiri engeri ey’okuyambamu abantu be okusinziira ku bunafu bwabwe.
13 Kaakano Omwoyo amanyi byonna; wadde nga kiri kityo Omwana wa Katonda abonaabona okusinziira ku mubiri asobole okwetikka ebibi by’abantu be, asobole okusangulawo okusobya kwabwe okusinziira ku maanyi ag’okusumulula kwe; era kaakano laba, buno bwe bujulizi obuli mu nze.
14 Kaakano mbagamba nti mulina okwenenya, era muzaalibwe omulundi ogw’okubiri; kubanga Omwoyo agamba nti bwe muba nga temuzaaliddwa mulundi gwa kubiri temuyinza kusikira bwakabaka bwa mu ggulu; n’olwekyo mujje mubatizibwe olw’okwenenya, mulyoke munaazibwe okuva mu bibi byammwe, mulyoke mubeere n’okukiriza mu Mwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi eby’ensi, ow’amaanyi okulokola era n’okutukuza okuva mu butali butuukirivu bwonna.
15 Weewaawo, mbagamba nti mujje era temuba na kutya, era muteeke ku bbali buli kibi, ekibezingirirako amangu, ekibasibira mu kuzikirizibwa, weewaawo, mujje era mugende mu maaso, era mulage Katonda wammwe nti muli beetegefu okwenenya ebibi byammwe era mulagaane endagaano naye okukuuma ebiragiro bye, era obujulizi gyali olunaku luno nga mugenda mu mazzi ag’okubatizibwa.
16 Era buli oyo yenna akola kino, era n’akuuma ebiragiro bya Katonda okuva kaakano n’okweyongerayo, oyo y’omu anajjukira nti mugamba, weewaawo, ajja kujjukira nti mugambye, aliba n’obulamu obutaggwaawo, okusinziira ku bujulizi obw’Omwoyo Omutukuvu, oyo ajulira mu nze.
17 Era kaakano baganda bange abaagalwa, mukkiriza ebintu bino? Laba, mbagamba, weewaawo, nkimanyi nti mubikkiriza; era engeri gye nkitegeeramu nti mubikkiriza kwe kwolesebwa kw’Omwoyo ali mu nze. Era kaakano kubanga okukkiriza kwammwe kw’amaanyi ku bikwata ku ekyo, weewaawo, ku bikwata ku bintu bye njogedde, essanyu lyange lingi nnyo.
18 Kubanga nga bwe n’abagamba okuva ku ntandikwa, nti nnalina okuyaayaana okuyitiridde ennyo nti temwali mu mbeera enzibu ennyo nga baganda bammwe, bwe ntyo nkizudde nti okuyaayaana kwange kumatiziddwa.
19 Kubanga nkitegeera nti muli mu makubo ag’obutuukirivu; Nkitegeera nti muli mu kkubo erituusa mu bwakabaka bwa Katonda; weewaawo, nkitegeera nti muluŋŋamya amakubo ge.
20 Nkitegeera nti kibamanyisiddwa, olw’obujulizi bw’ekigambo kye, nti tasobola kutambulira mu makubo agaakyama; newakubadde okwawukana ku ekyo ky’ayogedde; wadde okuba n’ekisiikirize eky’okukyuka okuva ku ddyo okudda ku kkono, oba okuva ku ekyo ekituufu eri ekyo ekikyamu; n’olwekyo, ekkubo lye lya mwetooloolo gumu ogw’olubeerera.
21 Era tabeera mu yeekaalu zitali ntukuvu; newakubadde obugwagwa oba ekintu kyonna ekitali kirongoofu okwanirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda; n’olwekyo mbagamba nti ekiseera kijja kujja, weewaawo, era kijja kuba ku lunaku olusembayo, nti oyo omugwagwa alisigala mu bugwagwa bwe.
22 Era kaakano baganda bange abaagalwa, njogedde ebintu bino gye muli nsobole okubagolokosa okutegeera okw’obuvunanyizibwa bwammwe eri Katonda, nti mulyoke mutambule nga temuliiko musango mu maaso ge, nti mulyoke mutambule nga mugoberera entegeka ya Katonda entukuvu, eyo gye mwaniriziddwamu.
23 Era kaakano nandyagadde mubeere beetoowaze, era mubeere abagonvu era abakakkamu; abawulize; abajjudde obugumiikiriza n’okugumiikiriza okugundiivu; nga muli beegendereza mu bintu byonna; nga muli banyiikivu mu kukuuma ebiragiro bya Katonda ekiseera kyonna; nga musaba buli kyonna kye muyinza okwetaaga, mu by’omwoyo era n’eby’omubiri; bulijjo nga muzza okwebaza eri Katonda olw’ebintu byonna bye mufuna.
24 Era mulabe nti mulina okukkiriza, essuubi, era n’okwagala okwa nnamaddala, olwo mujja kujjula ebikolwa ebirungi.
25 Era Mukama abawe omukisa, era akuume ebyambalo byammwe nga tebiriiko bbala lyonna, nti ku nkomerero musobole okuleetebwa okutuula ne Ibulayimu, Isaaka, era ne Yakobo, era ne bannabbi abatukuvu ababaddewo okuva ensi lwe yatandika, nga ebyambalo byammwe tebiriiko bbala nga ebyambalo byabwe bwe bitaliiko bbala, mu bwakabaka obw’omu ggulu obutaddamu kufuluma.
26 Era kaakano baganda bange abaagalwa, njogedde ebigambo bino gye muli okusinziira ku mwoyo ajulira mu nze; era emmeeme yange esanyuka bya nsusso, olw’obunyiikivu obusukkiridde era n’okufaayo kwe muwaddeyo eri ekigambo kyange.
27 Era kaakano, emirembe gya Katonda gibeere ku mmwe, ne ku mayumba gammwe ne ku ttakka lyammwe, era ne ku bisibo byammwe era n’amagana gammwe, era ne byonna bye mulina, abakazi bammwe era n’abaana bammwe, okusinziira ku kukkiriza kwammwe n’ebikolwa ebirungi, okuva mu kiseera kino n’emirembe gyonna. Era bwe ntyo bwe njogedde. Amiina.