Ebigambo Aluma, kabona ow’oku ntikko okusinziira ku ntegeka entukuvu eya Katonda, ebyayogerwa eri abantu mu bibuga byabwe ne mu byalo mu nsi yonna.
Okutandika n’essuula 5.
Essuula 5
Okufuna obulokozi, abantu balina okwenenya ne bakuuma ebiragiro, bazaalibwe omulundi ogw’okubiri, batukuze ebyambalo byabwe okuyitira mu musaayi gwa Kristo, babeere beetoowaze era beyambule amalala n’obuggya, era bakole ebikolwa eby’obutuukirivu; Omusumba omulungi ayita abantu be; Abo abakola ebikolwa ebibi baana ba setaani; Aluma awa obujulizi ku mazima g’enjigiriza ye era n’alagira abantu okwenenya; Amannya g’abatuukirivu galiwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu. Nga mu mwaka gwa 83 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kaakano olwatuuka Aluma yatandika okubuulira ekigambo kya Katonda eri abantu, okusookera mu nsi y’e Zalakemula, era okuva awo ne mu nsi yonna.
2 Era bino bye bigambo bye yayogera eri abantu mu kkanisa eyassibwawo mu kibuga Zalakemula, okusinziira ku kiwandiiko kye, ng’agamba nti:
3 Nze, Aluma, nga mmaze okutongozebwa kitange, Aluma, okuba kabona ow’oku ntikko eri ekkanisa ya Katonda, ye ng’alina amaanyi n’obuyinza okuva eri Katonda okukola ebintu bino, laba, mbagamba nti yatandika okussaawo ekkanisa mu nsi eyali mu nsalo za Neefi; weewaawo, ensi eyayitibwanga ensi ya Momoni; weewaawo, era yabatiza baganda be mu mazzi ga Momoni.
4 Era laba, mbagamba nti, baanunulibwa okuva mu mikono gy’abantu ba kabaka Nuuwa, olw’okusaasira n’amaanyi ga Katonda.
5 Era laba, oluvannyuma lw’ekyo, baaleetebwa mu buddu emikono gy’Abalamani mu lukoola; weewaawo, mbagamba nti, baali mu buwambe, era nate Mukama yabanunula okuva mu buddu olw’amaanyi g’ekigambo kye; era twaleetebwa mu nsi eno, era wano twatandika okussaawo Ekkanisa ya Katonda mu nsi eno yonna nayo.
6 Era kaakano laba, mbagamba, baganda bange, mmwe ab’ekkanisa eno, musigazza ekimala mu kujjukira obusibe bwa bakitammwe? Weewaawo, era musigazza ekimala mu kujjukira okusaasira n’okugumiikiriza kwe okugundiivu ku lwabwe? Era n’ekirala, musigazza ekimala mu kujjukira nti anunudde emyoyo gyabwe okuva mu ggeyeena?
7 Laba, yakyusa emitima gyabwe; weewaawo, yabazuukusa okuva mu tulo otungi, era ne bazuukukira eri Katonda. Laba, baali wakati mu kizikiza; wabula, emyoyo gyabwe gyali gyaka olw’ekitangaala eky’ekigambo eky’olubeerera; weewaawo, baali beetooloddwa emiguwa egy’okufa, era n’enjegere za ggeyeena, era n’okuzikirizibwa okw’olubeerera kwabalindirira.
8 Era kaakano mbabuuza baganda bange, bazikirizibwa? Laba, mbagamba nti, nedda, tebaazikiribwa.
9 Era nate mbuuza, emiguwa gy’okufa gyakutulibwa, n’enjegere za ggeyeena ebyali bibeetoolodde, byasumululwa? Mbagamba nti, Weewaawo, byasumululwa, era emyoyo gyabwe gyazimbulukusibwa, era ne bayimba omukwano ogununula. Era mbagamba nti baalokolebwa.
10 Era kaakano mbabuuza ku bukwakkulizo ki kwe balokolebwa? Weewaawo, nsonga ki ze baalina okusuubira obulokozi? Kiki ekibaviirako okusumululwa okuva mu miguwa egy’okufa, weewaawo, era n’enjegere za ggeyeena?
11 Laba, nsobola okubagamba; kitange Aluma teyakkiriza bigambo ebyayogerwa akamwa ka Abinadi? Era teyali nnabbi mutukuvu? Teyayogeranga ebigambo bya Katonda, era ne kitange Aluma n’abikkiriza?
12 Era okusinziira ku kukkiriza kwe waaliwo enkyukakyuka ey’amaanyi eyaleetebwa mu mutima gwe. Laba mbagamba nti bino byonna bituufu.
13 Era laba, yabuulira ekigambo eri bakitammwe, era enkyukakyuka ey’amaanyi nayo ate yaleetebwa mu mitima gyabwe, era ne beetoowaza ne bateeka obwesige bwabwe mu Katonda omutuufu era omulamu. Era laba, baali beesigwa okutuusa ku nkomerero; n’olwekyo baalokolebwa.
14 Era kaakano laba, mbabuuza, baganda bange ab’ekkanisa, mu by’omwoyo muzaaliddwa Katonda? Mukkirizza ekifaananyi kye mu ndabika yammwe? Mufunye enkyukakyuka eno ey’amaanyi mu mitima gyammwe?
15 Mulina okukkiriza mu kununulibwa kw’oyo eyabatonda? Musuubira n’eriiso ery’okukkiriza, ne mulaba omubiri guno ogufa nga guyimusiddwa mu butafa, era n’okuvunda kuno nga kuyimusiddwa mu butavunda, okuyimirira mu maaso ga Katonda okulamulwa okusinziira ku bikolwa ebikoleddwa mu mubiri ogufa?
16 Mbagamba nti, muyinza okukifumiitirizako nti muwulira eddoboozi lya Mukama, nga libagamba nti, ku lunaku olwo: Mujje gye ndi mmwe abaweereddwa omukisa, kubanga laba, ebikolwa byammwe bibadde ebikolwa eby’obutuukirivu ku lukalu lw’ensi?
17 Oba muyinza okukifumiitirizako nti musobola okulimba Mukama ku lunaku olwo, era mugambe; Mukama, ebikolwa byaffe bibadde bituukirivu ku lukalu lw’ensi; era nti ajja kubalokola?
18 Oba mu ngeri endala, muyinza okukifumiitiriza nga muleteddwa eri embuga ya Katonda n’emyoyo gyammwe nga girumirizibwa ekibi era n’okwejjusa, nga mulina okujjukira kw’okulumirizibwa ekibi kwonna, weewaawo, okujjukira okutuukiridde okw’obubi bwammwe bwonna, weewaawo, okujjukira kwemutaddewo olw’okujeemera ebiragiro bya Katonda?
19 Mbagamba nti, muyinza okutunuulira Katonda ku lunaku olwo n’omutima omulongoofu era n’emikono emiyonjo? Mbagamba nti, muyinza okuyimusa amaaso, nga mulina ekifaananyi kya Katonda ekyoleddwa mu ndabika yammwe?
20 Mbagamba nti, muyinza okulowooza ku kulokolebwa nga mumaze okwewaayo okufuuka abafugibwa setaani?
21 Mbagamba nti, mujja kumanya ku lunaku olwo nti temuyinza kulokolebwa; kubanga tekisoboka kubaawo muntu yenna alokolebwa okuggyako nga ebyambalo bye bitukuziddwa ne bibeera byeru; weewaawo, ebyambalo bye birina okulongoosebwa okutuusa nga biyonjebwa okuvaako amabala gonna, okuyitira mu musaayi gw’oyo eyayogerwako bakitaffe, oyo alina okujja okununula abantu be okuva mu bibi byabwe.
22 Era kaakano mbabuuza, baganda bange, yenna kummwe aliwulira atya, bwe muliyimirira mu maaso g’emmeeza ya Katonda ey’obulamuzi, nga ebyambalo byammwe byonooneddwa amabala g’omusaayi n’obugwagwa obw’engeri zonna? Laba, ebintu bino binaabawako bujulizi ki?
23 Laba tebiiwe obujulizi nti muli batemu, weewaawo, era nate nti musingisibwa omusango ogw’obubi obw’engeri zonna?
24 Laba, baganda bange, mulowooza nti omuntu nga oyo ayinza okuba n’ekifo okutuula mu bwakabaka bwa Katonda, ne Ibulayimu, ne Isaaka, era ne Yakobo, era nate ne bannabbi abatukuvu bonna, abo ebyambalo byabwe ebitukuziddwa era nga tebiriiko bbala lyonna, ebirongoofu era nga byeru?
25 Mbagamba nti, Nedda; okuggyako nga Omutonzi waffe mumufudde omulimba okuva ku lubereberye, oba muteebereza nti mulimba okuva ku lubereberye, temuyinza kuteebereza nti abo basobola okuba n’ekifo mu bwakabaka obw’omu ggulu; naye baligobebwa kubanga be baana ab’obwakabaka bwa setaani.
26 Era kaakano laba, mbagamba, baganda bange, bwe muba nga mufunye okwekuba mu mutima, era bwe muba nga mukiwulira okuyimba oluyimba lw’omukwano ogununula, nandibuuzizza, muyinza okuwulira bwe mutyo kaakano?
27 Mutambudde, nga mwekuuma obutabeera na musango mu maaso ga Katonda? Muyinza okugamba nti, singa muyitibwa okufa mu kiseera kino, munda mummwe, nti mubadde beetoowaze ekimala? Nti ebyambalo byammwe bitukuziddwa era bifuuliddwa ebyeru okuyitira mu musaayi gwa Kristo, oyo alijja okununula abantu be okuva mu bibi byabwe?
28 Laba, mweyambudde amalala? Mbagamba nti, bwe muba nga temunnaba, temuli beetegefu kusisinkana Katonda. Laba mulina okwetegeka mu bwangu; kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bujja mu bbanga ttono ddala, era omuntu nga oyo talina bulamu bwa lubeerera.
29 Laba, ŋŋamba, waliwo n’omu mu mmwe ateyambuddeeko buggya? Mbagamba nti omuntu nga oyo teyeetegese; era nandyagadde yeetegeke mu bwangu, kubanga essaawa eri kumpi ddala, era tamanyi ddi kiseera lwe kirituuka; kubanga omuntu nga oyo tasangibwa nga talina musango.
30 Era nate mbagamba nti, waliwo n’omu mu mmwe aduulira muganda we, oba oyo amutikka okuyigganyizibwa?
31 Zimusaanze omuntu nga oyo, kubanga teyeetegese, era ekiseera kiri kumpi nti alina okwenenya oba tayinza kulokolebwa!
32 Weewaawo, ddala zibasanze mmwe mwenna abakozi b’obubi; mwenenye, mwenenye, kubanga Mukama Katonda yakyogedde!
33 Laba, aweereza okuyitibwa eri abantu bonna, kubanga emikono egy’okusaasira gigoloddwa gye bali, era ng’ayogera nti: mwenenye, era ndibaaniriza.
34 Weewaawo, ayogera nti: Mujje gye ndi era muligabana ku bibala eby’omuti ogw’obulamu; weewaawo, mulirya era n’okunywa ku mugaati era n’amazzi ag’obulamu mu ddembe;
35 Weewaawo, mujje gye ndi era muleete ebikolwa eby’obutuukirivu, era temulitemebwa wadde okusuulibwa mu muliro;
36 Kubanga laba, ekiseera kiri kumpi nti yenna aleeta ebibala ebitali birungi, oba oyo yenna atakola bikolwa bya butuukirivu, oyo y’alina ensonga okukaaba n’okukungubaga.
37 Wattu mmwe abakozi b’obubi; mmwe abeegulumizza mu bintu eby’ensi ebitaliimu nsa, mmwe abeefuula okumanya amakubo ag’obutuukirivu kyokka nga muwabye, nga endiga ezitalina musumba, newakubadde nga omusumba abakoowoodde era nga akyabakoowoola, naye temuwulirizza ddoboozi lye!
38 Laba, mbagamba nti, omusumba omulungi abayita; weewaawo, era mu linnya lye ye kennyini abayita, nga lye linnya lya Kristo; era singa temuwulirize ddoboozi ly’omusumba omulungi, eri erinnya lye muyitibwa, laba, mmwe temuli ndiga za musumba omulungi.
39 Era kaakano bwe muba nga temuli ndiga za musumba omulungi, muli ba kisibo ki mmwe? Laba, mbagamba nti, setaani ye musumba wammwe, era muli ba kisibo kye; era kaakano, ani ayinza okwegaana kino? Laba, mbagamba nti, oyo yenna eyegaana kino mulimba era mwana wa setaani.
40 Kubanga mbagamba nti buli kyonna ekirungi kiva wa Katonda, era na buli kyonna ekibi kiva wa setaani.
41 N’olwekyo, omuntu bw’aleeta ebikolwa ebirungi awulira eddoboozi ly’omusumba omulungi, era amugoberera; naye oyo yenna aleeta ebikolwa ebibi, oyo y’omu afuuka omwana wa setaani, kubanga awuliriza eddoboozi lye, era n’amugoberera.
42 Era oyo yenna akola kino alina okufuna empeera ye okuva gy’ali; n’olwekyo, ku lw’empeera ye afuna okufa, nga bwe kiri ku bintu ebikwata ku butuukirivu, nga mufu ku lw’ebikolwa byonna ebirungi.
43 Era kaakano, baganda bange, nandyagadde mumpulirize, kubanga njogera mu maanyi ag’omwoyo gwange; kubanga laba, njogedde gye muli mu ngeri etegeerekeka nti muleme okukola ensobi, oba njogedde okusinziira ku biragiro bya Katonda.
44 Kubanga mpitiddwa okwogera mu ngeri eno, okusinziira ku ntegeka ya Katonda entukuvu, eri mu Kristo Yesu; weewaawo, ndagiddwa okuyimirira okuwa obujulizi eri abantu bano ebintu ebyayogerwa bakitaffe ebyekuusa ku bintu ebirijja.
45 Era kino si kye kyokka. Temulowooza nti ebintu bino nze kennyini mbimanyiiko? Laba, mpa obujulizi gye muli nti nkimanyi nti ebintu bino bye njogeddeko bituufu. Era mmwe mulowooza mmanyi ntya obukakafu bwabyo?
46 Laba, mbagamba nti bimmanyisibwa Omwoyo Omutukuvu owa Katonda. Laba, nsiibye era nsabye ennaku nnyingi nsobole okumanya ebintu bino ku lwange. Era kaakano nze kennyini mmanyi nti bituufu; kubanga Mukama Katonda abiretedde okweyoleka gye ndi olw’Omwoyo we Omutukuvu; era nga guno gwe mwoyo ogw’okubikkulirwa oguli mu nze.
47 Era nate, mbagamba nti bwe kityo bwe kibikkuliddwa gye ndi, nti ebigambo ebyayogerwa bakitaffe bituufu, na bwe kityo okusinziira ku Mwoyo w’obunnabbi ali mu nze, era n’eky’okwolesebwa kw’Omwoyo wa Katonda.
48 Mbagamba, nti nze mmanyi nti kyonna kye n’abagamba, ekyekuusa kw’ebyo ebigenda okujja, kituufu; era mbagamba, nti mmanyi nti Yesu Kristo ajja kujja, weewaawo, Omwana, omu yekka eyazaalibwa Kitaffe, ajjudde ekisa, era n’okusaasira, era n’amazima. Era laba, era ye wuuyo aliggyawo ebibi by’ensi, weewaawo, ebibi bya buli muntu akkiriza nga tawunjawunja mu linnya lye.
49 Era kaakano mbagamba nti eno y’entegeka mwe mpitiddwa, weewaawo, okubuulira eri baganda bange abaagalwa, weewaawo, era na buli omu abeera mu nsi; weewaawo, okubuulira eri bonna, bombiriri abakadde n’abato, bombiriri abasibe era n’abalina eddembe; weewaawo, mbagamba mmwe abakadde, n’abakuze mu myaka, n’omulembe ogusituka; weewaawo, okubalangiririra nti balina okwenenya era bazaalibwe omulundi ogw’okubiri.
50 Weewaawo, bw’atyo bw’ayogera Omwoyo: Mwenenye, mmwe mwenna enkomerero ez’ensi, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu buli kumpi kujja; weewaawo, Omwana wa Katonda ajja mu kitiibwa kye, mu maanyi ge, obukulu, obuyinza, era n’obufuzi. Weewaawo, baganda bange abaagalwa, mbagamba, nti Omwoyo agamba: Laba ekitiibwa kya Kabaka w’ensi yonna; era nate Kabaka w’eggulu mu bbanga ttono ddala alyakaayakana mu baana b’abantu bonna.
51 Era nate Mwoyo aŋŋamba, weewaawo, alangirira gye ndi n’eddoboozi ery’amaanyi, nga agamba nti, genda ogambe abantu bano; Mwenenye, kubanga okuggyako nga mwenenyezza tewali ngeri yonna gye mulisikira obwakabaka obw’omu ggulu.
52 Era nate mbagamba nti, Mwoyo agamba nti: Laba, embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’omuti; n’olwekyo buli muti ogutaabale bibala birungi gujja kutemebwa era gusuulibwe mu muliro, weewaawo, omuliro ogutayinza kuggwawo, ddala omuliro ogutazikizibwa. Laba, era mujjukire, Omutukuvu y’akyogedde.
53 Era kaakano baganda bange abaagalwa, mbagamba nti, muyinza okugumira bino ebyogeddwa; weewaawo, muyinza okuteeka ku bbali ebintu bino, era ne mulinnyirira Omutukuvu wansi w’ebigere byammwe; weewaawo, muyinza okwegulumiza mu malala ag’emitima gyammwe; weewaawo, munaalemera ku ky’okwambala engoye ez’omuwendo omungi n’okuteeka emitima gyammwe ku bintu ebitaliimu nsa eby’ensi, ku bugagga bwammwe?
54 Weewaawo, munaalemera ku kuteebereza nti omu asinga ku mulala; weewaawo, muliremera ku kuyigganya baganda bammwe, abeetoowaza era ne batambula nga bagoberera ensengekebwa entukuvu eya Katonda, mwe baleeteddwa mu kkanisa eno, nga batukuziddwa Omwoyo Omutukuvu, era baleeta ebikolwa ebituukiriza okwenenya;
55 Weewaawo, era munaagendamu maaso n’okulagajjalira abaavu, era n’abo abali mu bwetaavu, era n’okukodowalira ebintu byammwe gye bali?
56 Era ekisembayo, mwenna abaliremera mu bubi bwammwe, mbagamba nti bano beebo abajja okutemebwa era basuulibwe mu muliro okuggyako nga beenenya mu bwangu.
57 Era kaakano mbagamba nti, mmwe mwenna abeegoomba okugoberera eddoboozi ly’omusumba omulungi, muve mu babi, era mweyawule, era temukwata ku bintu byabwe ebitali birongoofu; era laba, amannya gaabwe gajja kusangulwamu, nti amannya g’ababi tegalibalibwa mu mannya g’abatuukirivu, nti ekigambo kya Katonda kiryoke kituukirizibwe, ekigamba nti: Amannya g’ababi tegalitabulwa wamu n’amannya g’abantu bange;
58 Kubanga amannya g’abatuukirivu gajja kuwandiikibwa mu Kitabo eky’Obulamu, era ndiwaayo gye bali obusika ku mukono gwange ogwa ddyo. Era kaakano, baganda bange, kiki eky’okwogera kye mulina okuwakanya kino? Mbagamba nti, kino bwe mukiwakanya, si kikulu, kubanga ekigambo kya Katonda kiteekwa okutuukirizibwa.
59 Kubanga musumba ki ali mu mmwe nga alina endiga nnyingi nga tazikuuma, nti emisege ne gitayingira ne girya ekisibo kye? Era laba, singa omusege guyingira mu kisibo kye tagufulumya? Weewaawo, era ekitono ennyo, bw’aba asobola, ajja kuguzikiriza.
60 Era kaakano mbagamba nti omusumba omulungi abakoowoola; era singa muwuliriza eddoboozi lye ajja kubaleeta mu kisibo kye, era muli ndiga ze; era abalagira nti temukkiriza musege muyala okwetaba mu mmwe, mulyoke muleme okuzikirizibwa.
61 Era kaakano nze, Aluma, mbalagira mu lulimi olw’oyo eyandagira, nti mukakasenga okukwata ebigambo bye njogedde gye muli.
62 Njogera mu ngeri ey’okulagira gye muli mmwe ab’ekkanisa; era n’eri abo abatali ba kkanisa njogera mu ngeri ey’okubasaba, nga bagamba nti: Mujje era mubatizibwe olw’okwenenya, nti nammwe mulyoke mubeere abanaagabana ku bibala eby’omuti ogw’obulamu.