Essuula 44
Moloni alagira Abalamani okulagaana endagaano ey’emirembe oba bazikirizibwe; Zerakemuna agaana omukisa ogumuweereddwa, era olutalo luddamu; Amagye ga Moloni gawangula Abalamani. Nga mu mwaka gwa 74–73 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka ne balekera awo ne baddako ennyuma katono okuva gye bali. Era Moloni n’agamba Zerakemuna nti; Laba, Zerakemuna, nti tetwagala kubeera basajja ba musaayi. Okimanyi nti muli mu mikono gyaffe, naye ate nga tetwagala kubatta.
2 Laba, tetuvuddeyo kulwanagana nammwe nti tusobole okuyiwa omusaayi gwammwe olw’obuyinza; newakubadde okwagala okuleeta muntu yenna ku kikoligo ky’obuddu. Naye eno y’ensonga yennyini ebaleese okutulwanyisa; weewaawo, era mutunyiigira olw’eddiini yaffe.
3 Naye kaakano, mulaba nti Mukama ali naffe; era mulaba nti abawaddeyo mu mikono gyaffe. Era kaakano nandyagadde mutegeere nti kino kikoleddwa gye tuli olw’eddiini yaffe n’enzikiriza yaffe mu Kristo. Era kaakano mulaba nti temuyinza kusaanyawo kukkiriza kwaffe kuno.
4 Kaakano mulaba nti eno y’enzikiriza ya Katonda entuufu; weewaawo, mulaba nti Katonda ajja kutuwanirira, era akuume, era n’okutubeezawo, kasita tunabeera nga tuli besigwa gy’ali, era n’eri okukkiriza kwaffe, n’eddiini yaffe; era Mukama taliganya tuzikirizibwe okuggyako nga tugudde mu nsobi era ne twegaana okukkiriza kwaffe.
5 Era kaakano, Zerakemuna, mbalagira, mu linnya lya Katonda oyo ow’amaanyi gonna, oyo anywezezza emikono gyaffe nti tufunye obuyinza eri mmwe, olw’okukkiriza kwaffe, olw’eddiini yaffe, era n’olw’emikolo gyaffe egy’okusinza, era n’olw’ekkanisa yaffe, n’olw’okuwanirirwa okutukuvu okutubanjibwa bakazi baffe n’abaana baffe, olw’eddembe eryo eritunywereza ku bibanja byaffe n’ensi yaffe; weewaawo, era n’okukuuma ekigambo kya Katonda ekitukuvu, ekyo nga ye nsibuko y’essanyu lyaffe lyonna; era ebyo byonna bye bisinga okuba eby’amakulu gye tuli;
6 Weewaawo, era kino si kye kyokka; mbalagira olw’okwagala kwonna kwe mulina eri obulamu, nti muweeyo ebyokulwanyisa byammwe eby’olutalo gye tuli, era tetujja kunoonya musaayi gwammwe, naye tujja kutaliza obulamu bwammwe, bwe munaagenda amakubo gammwe ne mutaddamu kujja kutulwanyisa.
7 Era kaakano, bwe mutaakole kino, laba, muli mu mikono gyaffe, era nja kulagira basajja bange babakkakkaneko, era bateeke ebiwundu eby’okufa ku mibiri gyammwe, olwo mulyoke musaanirewo ddala; era olwo tujja kulaba ani anabeera n’obuyinza ku bantu bano; weewaawo, tujja kulaba ani alireetebwa mu buddu.
8 Era kaakano olwatuuka Zerakemuna bwe yawulira enjogera eno n’avaayo era n’awaayo ekitala kye n’ekyambe kye, n’omutego gwe mu mikono gya Moloni, era n’amugamba nti: Laba, bibino ebyokulwanyisa byaffe eby’olutalo; tujja kubiwaayo gy’oli, naye tetujja kukkiriza kukola kirayiro gy’oli, kye tumanyi nti tujja kukimenya, era ate n’abaana baffe; naye twala ebyokulwanyisa byaffe eby’olutalo, era okkirize tusobole okugenda mu lukoola; bwe kitaba ekyo tujja kusigaza ebitala byaffe, era tujja kuzikirira oba okuwangula.
9 Laba, tetuli ba nzikiriza yo; tetukkiriza nti Katonda y’atuwaddeyo mu mikono gyammwe; naye tukkiriza nti obukabakaba bwammwe bwe bubakuumye okuva eri ebitala byaffe. Laba, ebyomubifuba byammwe n’engabo zammwe bye bibataasizza.
10 Era kaakano olwo Zerakemuna nga afundikidde okwogera ebigambo bino, Moloni n’akomyawo ekitala n’ebyokulwanyisa eby’olutalo, bye yali afunye, eri Zerakemuna, ng’agamba nti: Laba, tujja kukomya embiranye.
11 Kaakano siyinza kumenyawo bigambo bye njogedde, n’olwekyo nga Mukama bwali omulamu, temujja kugenda okuggyako nga mugenda n’ekirayiro nti temujja kudda nate kuddamu kutulwanyisa mu lutalo. Kaakano nga bwe muli mu mikono gyaffe tujja kuyiwa omusaayi gwammwe ku ttaka, oba mujja kugondera obukwakkulizo bwe nteesezza.
12 Era kaakano Moloni bwe yali nga ayogedde ebigambo bino, Zerakemuna y’asigaza ekitala kye, era n’asunguwalira Moloni, n’ayanguwa okugenda asobole okutta Moloni; naye bwe yagolola ekitala kye, laba, omu ku balwanyi ba Moloni n’akikuba ddala ne kigwa ku ttaka, era ne kikutukiramu ku kikono; era n’attema ne Zerakemuna n’amuggyako obwezinge obw’omutwe ne bugwa ku ttaka. Era Zerakemuna n’ava mu maaso gaabwe n’ayingira mu masekkati g’abalwanyi be.
13 Era olwatuuka omulwanyi eyayimirira awo, oyo eyatemako obwezinge obw’omutwe gwa Zerakemuna, yaggyawo obwezinge obw’omutwe okuva ku ttaka nga akute ku nviiri zaabwo, n’abuteeka ku kasongezo k’ekitala kye, n’akigolola gye bali, nga abagamba n’eddoboozi ery’omwanguka nti:
14 Ddala nga obwezinge buno obw’omutwe bwe bugudde ku ttaka, nga buno bwe bwezinge bw’omutwe gw’omukulu wammwe, bwe mutyo nammwe bwe munaagwa ku ttaka okuggyako nga muwaddeyo ebyokulwanyisa byammwe eby’olutalo era ne mugenda n’endagaano ey’emirembe.
15 Kaakano waaliwo bangi, bwe baawulira ebigambo bino ne balaba obwezinge obw’omutwe obwali ku kitala, abaakubwa entiisa; era bangi bavaayo ne basuula wansi ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo ku bigere bya Moloni, era ne balagaana y endagaano ey’emirembe. Era bangi nga bwe baalagaana endagaano bakkirizibwa okugenda mu lukoola.
16 Kaakano olwatuuka Zerakemuna yali musunguwavu byansusso, era yasiikuula abalwanyi be abaali basigaddewo mu busungu, okulwana n’amaanyi ennyo n’Abaneefi.
17 Era kaakano Moloni yali munyiivu, olw’emputtu y’Abalamani; n’olwekyo yalagira abantu be nti babakkakkaneko era babatte. Era olwatuuka batandika okubatta; weewaawo, era Abalamani balwana n’ebitala byabwe era n’amaanyi gaabwe.
18 Naye laba, ensusu zaabwe ezaali obwereere n’emitwe gyabwe egitaaliko bibikka kubataasa okuva eri ebitala ebyogi eby’Abaneefi; weewaawo, laba baafumitibwa era ne bakubwa, weewaawo, era ne bafa mu bwangu obuyitiridde mu maaso g’ebitala by’Abaneefi; era baatandika okusanyizibwawo, ddala nga omulwanyi wa Moloni bwe yali alagudde.
19 Kaakano Zerakemuna, bwe yalaba nga bonna banaatera okuzikirizibwa, n’awanjaga nnyo eri Moloni, nga bw’asuubiza nti ajja kulagaana era n’abantu be nabo, singa banataliza obulamu bwabasigaddewo, nti tebaliddamu nate kujja kubalwanyisa.
20 Era olwatuuka Moloni n’alagira nti omulimu gw’okufa mu bantu nate gukome awo. Era n’aggya ebyokulwanyisa eby’olutalo ku Balamani; era bwe baamala okulagaana endagaano naye ey’emirembe bakkirizibwa okugenda mu lukoola.
21 Kaakano omuwendo gw’abafu baabwe tegwabalibwa olw’obunene bw’omuwendo; weewaawo, omuwendo gw’abafu baabwe gwali munene nnyo, ku njuuyi zombi olw’Abaneefi ne ku lw’Abalamani.
22 Era olwatuuka baasuula emirambo gy’abafu baabwe mu mazzi ga Sidoni, era gyakka ne giziikibwa mu buziba bw’ennyanja.
23 Era amagye g’Abaneefi, oba aga Moloni gaakomawo ne bajja mu mayumba gaabwe n’ebibanja byabwe.
24 Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi. Era bwe kityo bwe kyakomekkerera ekiwandiiko kya Aluma, ekyawandiikibwa ku mbaati za Neefi.