Scriptures
Aluma 63


Essuula 63

Sibulooni n’oluvannyuma Keramani batwala ebiwandiiko ebitukuvu; Abaneefi bangi bagenda mu nsi ey’omu bukiikakkono; Kagoti azimba ebyombo, ebisaabala ku nnyanja ey’omu bugwanjuba; Molonayika awangula Abalamani mu lutalo. Nga mu mwaka gwa 56–52 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka mu ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi asatu mu omukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, Sibulooni y’atwala ebintu ebyo ebitukuvu ebyali biweereddwa Keramani okuva eri Aluma.

Era yali musajja mwenkanya, era yatambuliranga mu butuukirivu mu maaso ga Katonda; era yafubanga okukola obulungi bulijjo, okukuuma ebiragiro bya Mukama Katonda we; era ne muganda we naye bw’atyo bwe yakolanga.

Era olwatuuka Moloni naye yafa. Era bwe gutyo omwaka ogw’amakumi asatu mu omukaaga ogw’obufuzi bw’abalamuzi bwe gwagwako.

Era olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’obufuzi bw’abalamuzi, waaliwo ekibinja ekinene eky’abasajja, ddala okwenkana omuwendo gw’abasajja enkumi ttaano mu bina, n’abakazi baabwe n’abaana baabwe, abaava mu nsi y’e Zalakemula ne bagenda mu nsi eyali mu bukiikakkono.

Era olwatuuka Kagoti, nga yali musajja eyali ayagala ennyo okumanya, n’olwekyo yagenda n’azimba ekyombo ekinene ennyo, ku nsalo z’ensi Kyengera, okumpi n’ensi Matongo, era nakigolomola okugenda mu nnyanja ey’ebugwanjuba, okumpi n’omuwaatwa ogwali gwolekera mu nsi ey’ebukiikakkono.

Era laba, waaliwo bangi ku Baneefi abaayingiramu era ne basaabala n’obugabirizi obungi, era n’abakazi n’abaana bangi; era ne bakwata olugendo lwabwe nga boolekera obukiikakkono. Era bwe gutyo bwe gwagwako omwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu.

Era mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana, omusajja ono yazimba ebyombo ebirala. Era ekyombo ekyasooka nakyo kyakomawo, era abantu abalala bangi bakiyingiramu; era nabo baatwala obugabirizi bungi, era ne bakigolomola nate okwolekera ensi ey’ebukiikakkono.

Era olwatuuka tebayongera kubawulizaako. Era tuteebereza nti babbira ebuziba mu nnyanja. Era olwatuuka ekyombo ekirala kimu nakyo kyasaabala ne kigenda; era gye ky’agenda gye tutamanyi.

Era olwatuuka mu mwaka guno waaliwo abantu bangi abagenda mu nsi ey’ebukiikakkono. Era bwe gutyo bwe gwagwako omwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana.

10 Era olwatuuka mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi, Sibulooni naye yafa, era Kolyantoni yali agenze mu nsi ey’ebukiikakkono mu kyombo, okutwala obugabirizi eri abantu abaali bagenze mu nsi eyo.

11 N’olwekyo kyali kyetaagisa Sibulooni okuwaayo ebintu ebyo ebitukuvu, nga tannafa, eri mutabani wa Keramani, eyali ayitibwa Keramani, nga yabbulwa mu kitaawe.

12 Kaakano laba, ebyole ebyo byonna ebyali mu mikono gya Keramani byawandiikibwa ne biweerezebwa mu baana b’abantu mu nsi yonna, okuggyako ebitundu ebyo ebyali biraggiddwa Aluma obutabikkulwa.

13 Wadde nga kyali kityo, ebintu bino byali bya kukuumibwa nga bitukuvu, era nga byakusikizibwa okuva ku mulembe ogumu okudda ku mulala; n’olwekyo, mu mwaka guno, byali biweereddwa Keramani, nga Sibulooni tannafa.

14 Era olwatuuka mu mwaka guno namwo mwalimu ku bakyewaggula abaali bagenze eri Abalamani; era nate baddamu okusiikuulwa okusunguwalira Abaneefi.

15 Era mu mwaka guno gwe gumu baali bakoze eggye eddene ennyo okulwanyisa abantu ba Molonayika mu lutalo, oba okulwanyisa amagye ga Molonayika, omwo mwe baakubibwa ne bazzibwa nate ennyuma mu nsi zaabwe, nga bafiiriddwa nnyo.

16 Era bwe gutyo bwe gwagwako omwaka ogw’amakumi asatu mu omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.

17 Era bw’etyo bwe yakomekkerera enyinnyonnyolwa ya Aluma, ne Keramani mutabani we, nate ne Sibulooni, eyali mutabani we.