Scriptures
Aluma 24


Essuula 24

Abalamani bajja okulwanyisa abantu ba Katonda; Ab’Anti-Neefi-Leki basanyukira mu Kristo era bakyalirwa bamalayika; Basalawo okufa okusinga okwerwanako; Abalamani bangi bakyusibwa. Nga mu mwaka gwa 90–77 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka Abamaleki era n’Abamulooni era n’Abalamani abaali mu nsi ya Amulooni, era ne mu nsi ya Kelamu, era n’abaali mu nsi e Yerusaalemi, era okutwalira awamu, mu nsi yonna eyeetoolodde, abaali batakyusiddwa era nga tebetuumiddwa linnya lya Anti-Neefi-Leki, baasiikuulwa Abamaleki era n’Abamulooni okusunguwalira baganda baabwe.

Era obukyayi bwabwe bwayitirira nnyo gye bali, mu ngeri nti baatandika okujeemera kabaka waabwe, mu ngeri nti tebaayagala abeere kabaka waabwe; n’olwekyo, baakwata ebyokulwanyisa okulumba abantu ba Anti-Neefi-Leki.

Kaakano kabaka n’awa omwana we obwakabaka, n’amutuuma erinnya Anti-Neefi-Leki.

Era kabaka yafa mu mwaka ogwo gwennyini Abalamani mwe baatandikira okukola enteekateeka ez’olutalo eri abantu ba Katonda.

Kaakano Amoni ne baganda be n’abo bonna abajja naye bwe baalaba enteekateeka z’Abalamani okuzikiriza baganda baabwe, ne bajja mu nsi y’e Midiyani, era eyo Amoni n’asisinkana baganda be bonna; era okuva awo ne bajja mu nsi ya Isimayiri basobole okutuuza olukiiko ne Lamoni era ne muganda we Anti-Neefi-Leki, kye balina okukola okwetangira Abalamani.

Kaakano tewaaliwo muntu n’omu mu bantu bonna abaali bakyusiddwa okudda eri Mukama eyali ayinza okukwata ebyokulwanyisa eri baganda baabwe; nedda, baali tebayiinza wadde okukola enteekateeka yonna ey’olutalo; weewaawo, era ne kabaka waabwe yabalagira nti tebageza.

Kaakano, bino bye bigambo bye yagamba abantu ebikwata ku nsonga eno: Nnebaza Katonda wange, abantu bange abaagalwa, nti Katonda waffe ow’amaanyi mu bulungi yatuma baganda baffe bano, Abaneefi, gye tuli okutubuulira, n’okutumatiza obulombolombo bwa bakitaffe ababi.

Era laba, nnebaza Katonda wange ow’amaanyi nti yatuwa ekitundu eky’Omwoyo we okugonza emitima gyaffe, nti twaggulawo empuliziganya n’ab’oluganda bano, Abaneefi.

Era laba, nate nnebaza Katonda wange, nti olw’okuggulawo empuliziganya eno batukirizisizza ebibi byaffe, era n’ettemu eringi lye twakola.

10 Era nate nnebaza Katonda wange, weewaawo, Katonda wange ow’amaanyi, olw’okutusobozesa okwenenya ebintu bino, era nate nti atusonyiye ebibi byaffe ebingi era n’ettemu lye twakola, era n’aggyawo omusango mu mitima gyaffe, olw’obulungi bw’Omwana we.

11 Era kaakano laba, baganda bange, okuva lwe kibadde nti ebyo byonna bye twasobola okukola (olw’okuba twali abaabulira ddala okusinga abantu bonna) okwenenya ebibi byaffe byonna n’ettemu eringi lye twakola, era n’okufuna Katonda okubiggya ku mitima gyaffe, kubanga kye kyokka kye twali tusobola okukola okwenenya ekimala mu maaso ga Katonda nti alyoke aggyewo ebbala lyaffe;

12 Kaakano, baganda bange abaagalwa ennyo, olw’okuba Katonda aggyewo amabala gaffe, era n’ebitala byaffe bitemagana, ka tuleme nate kuddamu okuddugaza ebitala byaffe n’omusaayi gwa baganda baffe.

13 Laba, mbagamba nti, nedda, ka tukuume ebitala byaffe nga tebiddugadde n’omusaayi gwa baganda baffe; kubanga mpozzi, bwe tunaaddamu okuddugaza ebitala byaffe tebiyinza nate kunaazibwa kutemagana okuyita mu musaayi gw’Omwana wa Katonda waffe ow’amaanyi, oguliyiibwa ng’omutango ku lwe’ebibi byaffe.

14 Era Katonda ow’amaanyi abadde musaasizi gye tuli, era n’atutegeeza ebintu bino tuleme okuzikirira; weewaawo, era ebyo yabitutegeeza nga bukyali, kubanga ayagala emyoyo gyaffe nga bw’ayagala abaana baffe; n’olwekyo, mu kusaasira kwe atukyalira nga ayita mu bamalayika be, olwo enteekateeka ey’obulokozi esobole okumanyisibwa gye tuli era n’emirembe egijja.

15 O, Katonda waffe nga musaasizi! Era kaakano laba, okuva lwe kibadde nti tukoze kyonna ekisoboka okuggyibwako amabala gaffe, n’ebitala byaffe bitemagana ka tubikweke wala bisobole okukuumibwa nga bitemagana, ng’obujulizi eri Katonda waffe ku lunaku olw’enkomerero, oba ku lunaku lwe tulireetebwa okuyimirira mu maaso ge okulamulwa, nti tetuddugazza bitala byaffe n’omusaayi gwa baganda baffe okuva lwe yatuwa ekigambo kye era n’atufuula abalongoofu olw’ekyo.

16 Era kaakano, baganda bange, singa baganda baffe banaanoonya okutuzikiriza, laba, tujja kukweka ebitala byaffe, weewaawo, era tujja kubiziika wansi mu ttaka, bisobole okukuumibwa nga bitemagana, nga obujulizi nti tetubikozesangako, ku lunaku olw’enkomerero; era singa baganda baffe batuzikiriza, laba, tujja kugenda eri Katonda waffe era tunaalokolebwa.

17 Era kaakano olwatuuka kabaka bwe yamaliriza ebigambo bino, n’abantu bonna nga bakuŋŋaanye wamu, baatwala ebitala byabwe, n’ebyokulwanyisa byonna ebyakozesebwanga okuyiwa omusaayi gw’omuntu, ne babiziika wala mu ttaka.

18 Era kino baakikola, nga mu kulaba kwabwe bujulizi eri Katonda, n’eri abantu, nti tebajja kuddamu kukozesa byakulwanyisa kuyiwa musaayi gw’omuntu; era kino baakikola, nga bakakasa era nga balagaana endagaano ne Katonda, nti mu kifo eky’okuyiwa omusaayi gwa baganda baabwe baali baakuwaayo obulamu bwabwe; era mu kifo eky’okunyaga ow’oluganda baali baakumuwa buwi; era mu kifo eky’okumala ennaku zaabwe mu bugayaavu baali bakukola nnyo n’emikono gyabwe.

19 Era bwe tutyo tulaba nti, Abalamani bano bwe baleetebwa okukkiriza era n’okumanya amazima, baali banywevu, era ddala wakiri okufa okusinga okukola ekibi; era bwe tutyo tulaba nti baaziika ebyokulwanyisa byabwe olw’emirembe, oba baziika ebyokulwanyisa eby’olutalo, ku lw’emirembe.

20 Era olwatuuka baganda baabwe, Abalamani, baakola enteekateeka ez’olutalo, ne bagenda mu nsi ya Neefi n’ekigendererwa eky’okuzikiriza kabaka, era n’okuteekako omulala mu kifo kye, era ate n’okuzikiriza abantu ba Anti-Neefi-Leki okuva mu nsi.

21 Kaakano abantu bwe baalaba nga bajja okubalumba baafuluma okubasisinkana, ne beeyala mu maaso gaabwe ku ttaka, era ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama; era bwe batyo bwe baali mu mbeera eno Abalamani ne baatandika okubakkakkanako, ne batandika okubatta n’ekitala.

22 Era bwe batyo nga tebasanze kuziyizibwa kwonna, batta lukumi mu bataano ku bo; era tumanyi nti baweereddwa omukisa, kubanga bagenze okubeera ne Katonda waabwe.

23 Kaakano Abalamani bwe baalaba nga baganda baabwe tebadduka kuviira kitala, wadde okukyuka okudda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono, wabula nti beyalanga wansi era ne bazikirira, era baatendereza Katonda ddala ne mu kikolwa kyennyini eky’okuzikirira wansi w’ekitala;

24 Kaakano Abalamani bwe baalaba kino ne balekeraawo okubatta; era waaliwo bangi emitima gyabwe gyali gijjudde enyiike olw’abamu ku baganda baabwe abaali bafudde olw’ekitala, kubanga beenenya olw’ebintu bye baali bakoze.

25 Era olwatuuka baasuula wansi ebyokulwanyisa byabwe eby’olutalo, obutaddamu kubikwata nate, kubanga baali balumiddwa olw’ettemu lye baali bakoze; era ne bavvunnama nga baganda baabwe, nga beesigama ku kusaasira kw’abo abaali bagaludde ebyokulwanyisa byabwe okubatta.

26 Era olwatuuka abantu ba Katonda ne beegattibwako ku lunaku olwo omuwendo ogusinga kw’abo abattibwa; era n’abo abaali battiddwa baali bantu batuukirivu, n’olwekyo tetulina nsonga kubuusabuusa wabula nti baalokolebwa.

27 Era tewaali muntu mubi mu bo eyattibwa; naye waaliwo abasukka mu lukumi abaatuusibwa ku kumanya amazima; bwe tutyo tulaba nti Mukama akolera mu ngeri nnyingi okulokola abantu be.

28 Kaakano omuwendo ogusinga obunene ogwa Abalamani abo abatta baganda baabwe abangi ennyo bwe batyo baali Bamaleki n’Abamulooni, omuwendo ogusinga obunene ku bo baali ba kabondo k’Abanekooli.

29 Kaakano, mu abo abeegatta ku bantu ba Mukama, tewaaliwo wadde Abamaleki oba Abamulooni, oba abaali ab’akabondo ka Nekooli, wabula baali ba lulyo lwa Lamani ne Lemweri lwennyini.

30 Era bwe tutyo tusobola bulungi okukitegeera, nti abantu bwe bamala okuyigirizibwa Omwoyo wa Katonda, era nga bafunye okumanya okw’amaanyi okw’ebintu ebyekuusa ku butuukirivu, n’oluvannyuma ne bagwa mu kibi n’okusobya, beeyongera okukaluba, era bwe batyo embeera yaabwe ne yeeyongera okuba embi okusingawo bwe kyalibadde nga tebannamanyirako ddala bintu bino.