Scriptures
Aluma 15


Essuula 15

Aluma ne Amuleki bagenda e Sidomu era ne batandikawo ekkanisa; Aluma awonya Zeziromu, eyeegatta ku kkanisa; Bangi babatizibwa, era ekkanisa n’ekulaakulana; Aluma ne Amuleki bagenda e Zalakemula. Nga mu mwaka gwa 81 nga Kristo tannazaalibwa.

Era olwatuuka Aluma ne Amuleki baalagirwa okuva mu kibuga ekyo; era ne bavaayo, era bajja ne bayingira mu nsi ya Sidomu; era laba, eyo gye baasanga abantu bonna abaali bavudde mu nsi ya Amonayika, abaali bagobeddwa era n’okukubibwa amayinja, kubanga bakkiririza mu bigambo bya Aluma.

Era ne babalombojjera byonna ebyali byatuukawo eri bakazi baabwe era n’abaana baabwe, era n’abo bennyini, era n’amaanyi gaabwe ag’okusumululwa.

Era ne Zeziromu yali mulwadde ku ndiri e Sidomu, ng’alina omusujja ng’abugujja, ogwava ku bunnaku obw’amaanyi obw’ebirowoozo bye ku lw’obubi bwe, kubanga yalowooza nti Aluma ne Amuleki baali tebakyaliwo; era yali alowooza nti baali battibwa olw’obutali butuukirivu bwe. Era ekibi kino ekinene, n’ebibi bye ebirala bingi, byatawaanya endowooza ye okutuusa lwe yazitoowererwa ekisukkiridde, nga talina kusumululwa; n’olwekyo yagwamu ekisujja nga abugujja.

Kaakano, bwe yawulira nti Aluma ne Amuleki baali mu nsi ey’e Sidomu, omutima gwe gwatandika okuddamu amaanyi; era n’aweereza obubaka mbagirawo gye bali, ng’ayagala bajje gy’ali.

Era olwatuuka ne bagenda mbagirawo, nga bagondera obubaka bwe yali aweerezza gye bali; era ne bayingira mu nnyumba eri Zeziromu; era bamusanga ku kitanda kye, nga mulwadde, nga munaffu nnyo ng’abugujja olw’omusujja; era ng’azitoowereddwa ebirowoozo ekisukkiridde olw’obubi bwe; era bwe yabalaba n’agolola omukono gwe, n’abegayirira nti basobole okumuwonya.

Era olwatuuka Aluma n’amugamba, nga bw’amukwata ku mukono: Okkiririza ggwe mu maanyi ga Kristo okutuuka ku bulokozi?

Era n’addamu n’agamba: Weewaawo, nzikiriza ebigambo byonna by’oyigirizza.

Era Aluma n’agamba: Bw’oba nga okkiririza mu kununulibwa kwa Kristo osobola okuwonyezebwa.

Era n’agamba: Weewaawo, nzikiriza nga ebigambo byo bwe biri.

10 Era awo Aluma n’awanjagira Mukama, nga agamba: Ayi Mukama Katonda waffe, saasira omusajja ono, era omuwonye okusinziira ku kukkiriza kwe okuli mu Kristo.

11 Era Aluma bwe yali ayogedde ebigambo bino, Zeziromu ne yekakaba n’adda ku bigere bye, era n’atandika okutambula; era kino kyakolebwa ne kyewuunyisa nnyo abantu bonna; era kino kyamanyika okubuna wonna mu nsi y’e Sidomu.

12 Era Aluma n’abatiza Zeziromu eri Mukama; era n’atandika okuva mu kiseera ekyo n’okweyongerayo okubuulira eri abantu.

13 Era Aluma n’atandikawo ekkanisa mu nsi ya Sidomu, era n’atogonza bakabona era n’abasomesa mu nsi, okubatiza eri Mukama abo bonna abaali baagala okubatizibwa.

14 Era olwatuuka baali bangi; kubanga beeyiwa okuva mu bitundu byonna ebyetoolodde Sidomu, era ne babatizibwa.

15 Naye eri abantu abaali mu nsi ya Amonayika, baasigala nga ba mitima migumu era abantu abakakanyavu b’ensingo; era tebeenenya bibi byabwe, nga bajweteka nti amaanyi ga Aluma ne Amuleki ga setaani; kubanga baali ba nkola y’emu ey’enzikiriza nga Nekooli, era nga tebakkiririza mu kwenenya kwa bibi byabwe.

16 Era olwatuuka Aluma ne Amuleki, Amuleki ng’alese zaabu we yenna, era ne ffeeza, era n’ebintu bye eby’omuwendo, ebyali mu nsi ya Amonayika, olw’ekigambo kya Katonda, ng’agaaniddwa abo abaaliko mikwano gye era ne kitaawe era n’ab’ekika kye;

17 N’olwekyo, oluvannyuma nga Aluma ataddewo ekkanisa e Sidomu, bwe yalaba enkyukakyuka ey’amaanyi, weewaawo, bwe yalaba nga abantu bakyuse okuva mu malala a’gomu mitima gyabwe, era ne batandika okwetoowaza mu maaso ga Katonda, era ne batandika okukuŋŋaananga awamu mu masinzizo gaabwe okusinza Katonda mu maaso g’ekyoto, nga balindirira era n’okusabanga obutakoowa, olwo balyoke banunulibwe okuva eri setaani, era n’okuva eri okufa, era n’okuzikirizibwa;

18 Kaakano nga bwe nnagambye, Aluma bwe yalaba ebintu bino byonna, n’olwekyo yatwala Amuleki ne bajja mu nsi y’e Zalakemula, era n’amutwala mu nnyumba ye, era n’amudduukirira mu bunnaku bwe y’alimu, era n’amugumya mu Mukama.

19 Era bwe gutyo bwe gwagwako omwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.