Scriptures
Aluma 45


Enyinnyonnyolwa y’abantu ba Neefi, n’entalo zaabwe n’obutakkaanya, mu biseera bya Keramani, okusinziira ku biwandiiko bya Keramani, bye yatereka mu biseera bye.

Mulimu essuula 45 okutuuka ku 62.

Essuula 45

Keramani akkiririza ebigambo bya Aluma; Aluma awa obunnabbi bw’okuzikirizibwa kw’Abaneefi; Awa omukisa era n’okukolimira ensi; Aluma ayinza okuba nga yatwalibwa Omwoyo, ddala nga Musa; Obutakkaanya bweyongera okusensera ekkanisa. Nga mu mwaka gwa 73 nga Kristo tannazaalibwa

Laba, kaakano olwatuuka abantu ba Neefi baali basanyufu byansusso, kubanga Mukama yali abanunudde nate okuva mu mikono gy’abalabe baabwe; n’olwekyo baawaayo okwebaza eri Mukama Katonda waabwe; weewaawo, era baasiiba nnyo era ne basaba nnyo, era baasinza Katonda n’essanyu eringi ennyo.

Era olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, olwo Aluma y’ajja eri mutabani we Keramani n’amugamba nti: Okkiriza ebigambo bye nnakugamba ebikwata ku biwandiiko ebyo ebibadde bikuumibwa?

Era Keramani n’amugamba nti: Weewaawo, nzikiriza

Era Aluma n’addamu n’agamba nti: Okkiririza mu Yesu Kristo, oyo alijja?

Era n’agamba nti: Weewaawo, nzikiriza ebigambo byonna by’oyogedde.

Era Aluma n’addamu n’amugamba nti: On’akuumanga ebiragiro byange?

Era y’agamba nti: Weewaawo, nja kukuumanga ebiragiro byo n’omutima gwange gwonna.

Awo Aluma n’amugamba nti: Oweereddwa omukisa; era Mukama alikukulaakulanya mu nsi eno.

Naye laba, nnina kye nnalyagadde okuwaako obunabbi gyoli; naye obunabbi bwe mpa gyoli tolibumanyisa; weewaawo, obunnabbi bwenkuwa tebulimanyisibwa, ddala okutuusa obunabbi nga butuukiridde; n’olwekyo wandiika ebigambo bye naayogera.

10 Era bino bye bigambo: Laba, ntegeera nti abantu bano bennyini, Abaneefi, okusinziira ku mwoyo gw’okubikkulirwa oguli mu nze, mu myaka ebikumi bina okuva mu kiseera Yesu Kristo lw’alyeraga gye bali, bajja kubulira mu butakkiriza.

11 Weewaawo, era olwo baliraba entalo ne kawumpuli, weewaawo, enjala n’okuyiwa omusaayi, ddala okutuusa abantu ba Neefi bwe baliggwerawo ddala;

12 Weewaawo, era kino kubanga balibulira mu butakkiriza era ne bagwa mu bikolwa eby’ekizikiza, n’obukaba, n’engeri zonna ez’okwonoona; weewaawo, nkugamba nti olw’okuba balyonoona eri ekitangaala eky’amaanyi ennyo n’okumanya, weewaawo, nkugamba, nti okuva ku lunaku olwo, ddala omulembe ogw’okuna teguliyita gwonna nga okwonoona kuno kuno okw’amaanyi tekunajja.

13 Era olunaku olwo olukulu bwe lulituuka, laba, ekiseera mangu ddala kijja ng’abo abali kaakano, oba ezzadde ly’abo kaakano ababalirwa mu bantu ba Neefi, tebaliddamu kubalibwa mu bantu ba Neefi.

14 Naye buli oyo yenna asigalawo, era n’atazikirizibwa ku lunaku olwo olukulu era olw’entiisa, alibalibwa mu Balamani, era alifuuka nga bo, bonna, okuggyako abatono abaliba bayitibwa abayigirizwa ba Mukama; era abo Abalamani be baliyigganyiza ddala okutuusa lwe balisaanirawo ddala. Era kaakano, olw’okwonona kuno, obunabbi buno bujja kutuukirira.

15 Era kaakano olwatuuka oluvannyuma lwa Aluma okwogera ebintu bino eri Keramani, y’amuwa omukisa, era ne batabani be abalala; era yawa ensi omukisa ku lw’abatuukirivu.

16 Era y’agamba nti: Bw’atyo bwayogera Mukama Katonda; Ensi erikolimirwa, weewaawo, ensi eno, eri buli ggwanga, ekika, olulimi, era n’abantu, okutuuka okuzikirira, abakola obubi, bwe baliba nga bengereredde ddala; era nga bwe ŋŋambye bwe kityo bwe kiriba; kubanga kuno kwe kukolima n’okuwa omukisa gwa Katonda ku nsi, kubanga Mukama tayinza kutunuulira kibi n’ekigero wadde ekitono ennyo eky’okukikkiriza.

17 Era kaakano, Aluma bwe yali ayogedde ebigambo bino yawa ekkanisa omukisa, weewaawo, abo bonna abalina okunywera mu kukkiriza okuva mu kiseera ekyo n’okweyongerayo.

18 Era Aluma bweyamala okukola kino n’ava mu nsi y’e Zalakemula, n’aba nga agenda mu nsi ya Mereki. Era olwatuuka teyaddamu kuwulirwako nate; ku ky’okufa kwe oba okuziikibwa tetulina kye tubimanyiiko.

19 Laba, kino kye tumanyi, nti yali omusajja omutuukirivu; era enjogera yabuna wangi mu kkanisa nti yatwalibwa Omwoyo, oba yaziikibwa omukono gwa Mukama, ddala nga Musa. Naye laba, ebyawandiikibwa bigamba Mukama yatwala Musa gy’ali; era tulowooza nti ne Aluma naye yamwaniriza mu mwoyo, gy’ali; n’olwekyo, olw’ensonga eno tetumanyi kintu kyonna kikwata ku kufa kwe n’okuziikibwa.

20 Era kaakano olwatuuka ku ntandikwa y’omwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi obw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, Keramani yagenda mu bantu okulangirira ekigambo gye bali.

21 Kubanga laba, olw’entalo zaabwe n’Abalamani n’obutakkaanya obutonotono bungi era n’okutaataaganyizibwa okwali mu bantu, kyatuuka nga kyetagisa ekigambo kya Katonda okulangirirwa mu bo, weewaawo, era nti ekiragiro kyali kisaana okukolebwa mu kkanisa yonna.

22 N’olwekyo, Keramani ne baganda be baagenda mu maaso okuddamu okuteekawo ekkanisa mu nsi yonna, weewaawo, mu buli kibuga mu nsi yonna eyali ey’abantu ba Neefi. Era olwatuuka baalonda bakabona n’abasomesa mu nsi yonna, eri amakanisa gonna.

23 Era kaakano olwatuuka oluvannyuma lwa Keramani ne baganda be okulonda bakabona n’abasomesa eri amakanisa olwo wabalukawo obutakkaanya mu bo, era tebaasobola kussaayo mwoyo eri bigambo bya Keramani ne baganda be;

24 Naye baafuna amalala, nga beekulumbaza mu mitima gyabwe, olw’obugagga bwabwe obungi ekisukkiridde; n’olwekyo baagaggawala mu kulaba kwabwe, era nga tebakyayiinza kussaayo mwoyo ku bigambo byabwe, okutambulira mu butuukirivu mu maaso ga Katonda.