Essuula 14
Aluma ne Amuleki basibibwa era ne bakubibwa; Abakkiriza n’ebyawandiikibwa byabwe ebitukuvu byokebwa omuliro; Abajulizi bano banirizibwa Mukama mu kitiibwa; Ebisenge by’ekkomera bibuulukukamu era ne bigwa; Aluma ne Amuleki banunulibwa, era n’ababayigganya battibwa. Nga mu mwaka gwa 82–81 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka oluvannyuma nga afundikidde okwogera eri abantu bangi ku bo bakkiririza mu bigambo bye, era ne batandika okwenenya, era n’okwekenneenya ebyawandiikibwa.
2 Naye ekitundu ekisinga obungi ku bo baayagala nnyo okusobola okusaanyaawo Aluma ne Amuleki; kubanga baali banyiigidde Aluma, olw’obutegeerekefu bw’ebigambo bye eri Zeziromu; era ne bagamba nti Amuleki yali abalimbye, era nga avumiridde amateeka gaabwe era ne bannamateeka baabwe era n’abalamuzi.
3 Era nate baali banyiivu eri Aluma era ne Amuleki; era olw’okuba baali bawadde nnyo obujulizi mu bwerufu ku bubi bwabwe, bagezaako okubaggyawo mu ngeri ey’ekyama.
4 Naye olwatuuka ne batakikola; naye ne babatwala era ne babasiba n’emiguwa egy’amaanyi, era ne babatwala mu maaso ga ssabalamuzi ow’ensi.
5 Era abantu bavaayo era ne babawaako obujulizi; nga babalumiriza nti baali bavumiridde amateeka, ne bannamateeka baabwe era n’abalamuzi b’ensi, era n’abantu bonna abaali mu nsi; era ne bawa obujulizi nti waliwo Katonda omu yekka, era nti alituma Omwana we mu bantu, naye talibalokola; era n’ebintu bingi ebiringa ebyo abantu bye baalumiriza Aluma ne Amuleki. Kaakano kino kyakolebwa mu maaso ga ssabalamuzi ow’ensi.
6 Era olwatuuka Zeziromu yeewuunya nnyo olw’ebigambo ebyali byogeddwa; era naye yali amanyi ku buzibe bw’endowooza, bwe yali aleeseewo mu bantu olw’ebigambo bye eby’obulimba; era emmeeme ye yatandika okulumwa ennyo olw’okutegeera kw’omusango gwe; weewaawo, yatandika okwetooloolwa obulumi bwa ggeyeena.
7 Era olwatuuka n’atandika okulangirira eri abantu, ng’agamba nti: Laba, gunsinze, era abasajja bano tebalina bbala mu maaso ga Katonda. Era yatandika okubawolereza okuva mu kiseera ekyo n’okweyongerayo; naye ne bamuvuma, nga bagamba nti: Naawe olinnyiddwako setaani? Era ne bamuwandurira amalusu, era ne bamugoba abaveemu, era n’abo bonna abaali bakkiririza mu bigambo ebyali byogeddwa Aluma ne Amuleki; era ne babagoba, era ne baweereza abantu okubakuba amayinja.
8 Era ne baleeta bakazi baabwe awamu n’abaana baabwe, era na buli oyo yenna eyali akkiririza oba eyali ayigiriziddwa okukkiririza mu kigambo kya Katonda baalagira nti balina okusuulibwa mu muliro; era nate baleeta ebiwandiiko byabwe ebyalimu ebyawandiikibwa ebitukuvu, era nabyo ne babisuula mu muliro, bisobole okwokebwa era n’okuzikirizibwa omuliro.
9 Era olwatuuka baatwala Aluma ne Amuleki, era baabatuusa mu kifo ewaali ettambiro, nti basobole okulaba okusaanyizibwawo kw’abo abaali bookebwa omuliro.
10 Era Amuleki bwe yalaba obulumi bw’abakazi n’abaana abaali bokebwa mu muliro, naye yalumizibwa; era n’ayogera eri Aluma: Tuyinza tutya okulaba ekintu kino eky’entiisa? N’olwekyo leka tugolole emikono gyaffe, era tukozese amaanyi ga Katonda agali mu ffe, era tubataase okuva mu nnimi ez’omuliro.
11 Naye Aluma n’ayogera gy’ali: Omwoyo anziyiza nti sirina kugolola mukono gwange; kubanga laba Mukama abaaniriza waggulu gy’ali, mu kitiibwa; era abalesse balyoke bakole ekintu kino, oba nti abantu basobole okukola ekintu kino gye bali, okusinziira ku bukakanyavu bw’emitima gyabwe, nti ebibonerezo by’alibateekako mu busungu bwe bibeere bya bwenkanya; era n’omusaayi gw’abatalina musango gujja kuyimirira nga obujulirwa eri bo, weewaawo, era gubakaabirire nnyo ku lunaku olusembayo.
12 Kaakano Amuleki n’ayogera eri Aluma: Laba, oba oli awo naffe bajja kutwokya.
13 Era Aluma n’agamba: Kakibeere nga Mukama bw’ayagala. Naye, laba, omulimu gwaffe tegunnaggwa; n’olwekyo tebajja kutwokya.
14 Kaakano olwatuuka nga emirambo gy’abo abaali basuuliddwa mu muliro gisirisse, era n’ebiwandiiko ebyasuulibwamu nabo, ssabalamuzi ow’ensi yajja n’ayimirira mu maaso ga Aluma ne Amuleki, bwe baali nga basibiddwa; n’abakuba empi ku matama gaabwe, era n’abagamba nti: Oluvannyuma lw’ebyo bye mulabye, munaddamu okubuulira nate eri abantu bano, nti banaasuulibwa mu nnyanja ey’omuliro n’obuganga?
15 Laba, mulaba nti mubadde temulina buyinza kutaasa abo abaali basuuliddwa mu muliro; wadde Katonda tabataasizza kubanga babadde banzikiriza yammwe. Era omulamuzi n’addamu n’abakuba nate ku matama gaabwe, era n’abuuza: Muyinza kugamba ki ku lwammwe?
16 Kaakano omulamuzi ono yali asinziira ku nnambika era n’enzikkiriza za Nekooli, oyo eyatta Gidiyoni.
17 Era olwatuuka Aluma era ne Amuleki tebaamuddamu kintu kyonna; era nayongera okubakuba, era n’abawaayo eri abaserikale okusuulibwa mu kkomera.
18 Era bwe baali nga basuuliddwa mu kkomera ennaku ssatu, wajjawo bannamateeka bangi, n’abalamuzi, ne bakabona, n’abasomesa, abaali ab’enkola ey’enzikiriza eya Nekooli; era ne bayingira mu kkomera okubalaba, ne bababuuza ebibuuzo ku by’enjigiriza bingi; naye tebaabaddamu kintu kyonna.
19 Era olwatuuka omulamuzi n’ayimirira mu maaso gaabwe, era n’agamba nti: Lwaki temuddamu bigambo bya bantu bano? Temumanyi nti nnina obuyinza okubawaayo eri ennimi ez’omuliro? Era n’abalagira okwogera; naye tebalina kye baddamu.
20 Era olwatuuka ne bavaayo era ne baddayo ku mirimu gyabwe, naye ne bakomawo enkeera; era n’omulamuzi naye y’addamu okubakuba ku matama gaabwe. Era bangi bajja nabo, era ne babakuba, nga bagamba: Munaddamu okuyimirira nate ne mulamula abantu bano, era ne muvumirira amateeka gaffe? Bwe muba mulina amaanyi mangi bwe gatyo lwaki temwesumulula?
21 Era ebintu bingi nga ebyo bye bagamba, nga babalumira obugigi, era n’okubawandulira amalusu, nga bagamba: Tulitunula tutya nga tukomezeddwa?
22 Era n’ebintu bingi ng’ebyo, weewaawo, eby’engeri zonna ebiringa ebyo baabibogerera; era bwe batyo ne babaŋŋoola okumala ennaku nnyingi. Era babamma emmere basobole okulumwa enjala, era n’amazzi balumwe ennyonta; era baabaggyako n’engoye zaabwe nti baali bukunya; era bwe batyo baali basibiddwa n’emiguwa egy’amaanyi, era nga baggaliddwa mu kkomera.
23 Era olwatuuka bwe batyo nga baali babonaabonedde ennaku nnyingi, (era ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, mu mwezi ogw’ekkumi, mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu be Neefi) nti ssabalamuzi mu nsi ya Amonayika n’abangi ku basomesa baabwe era ne bannamateeka baabwe bayingira mu kkomera eri Aluma ne Amuleki gye baali basibiddwa n’emiguwa.
24 Era ssabalamuzi n’ayimirira mu maaso gaabwe, n’addamu okubakuba nate, era n’abagamba: Bwe muba nga mulina amaanyi ga Katonda mwesumulule okuva mu miguwa gino, era olwo lwe tunakkiriza nti Mukama anaazikiriza abantu bano okusinziira ku bigambo byammwe.
25 Era olwatuuka bonna ne bagenda era ne babakuba, nga boogera ebigambo bye bimu, ddala n’okutuuka kw’asembayo; era awo asembayo nga amalirizza okwogera gye baali amaanyi ga Katonda gaali ku Aluma ne Amuleki, era baasituka ne bayimirira ku bigere byabwe.
26 Era Aluma n’alangirira, ng’agamba: Tunaamala bbanga ki nga tuyita mu bibonoobono bino eby’amaanyi, ayi Mukama? ayi Mukama, tuwe amaanyi okusinziira ku kukkiriza kwaffe okuli mu Kristo, ddala okutuuka okununulibwa. Era ne bakutula emiguwa gye baali basibiddwa; era abantu bwe baalaba kino, ne batandika okudduka, kubanga okutya okuzikirizibwa kwali kuze ku bo.
27 Era olwatuuka okutya kwabwe kwali kw’amaanyi nnyo nti baagwa ku ttaka, era ne batatuuka na ku luggi olw’ebweru olw’ekkomera; era ensi n’ekankana n’amaanyi, era ebisenge eby’ekkomera ne bimenyekamu bibiri, kyebyava bigwa ku ttaka; era ssabalamuzi, era ne bannamateeka, era ne bakabona, era n’abasomesa, abaakuba Aluma ne Amuleki, battibwa olw’okugwa kwe bisenge.
28 Era Aluma ne Amuleki ne bavaayo mu kkomera, era baali tebalumiziddwa; kubanga Mukama yali abawadde amaanyi, okusinziira ku kukkiriza kwabwe okwali mu Kristo. Era mbagirawo ne bavaayo mu kkomera; era ne basumululwa okuva mu miguwa gyabwe; era ekkomera lyali ligudde ku ttaka, era na buli muntu eyali munda w’ebisenge, okuggyako Aluma ne Amuleki, yattibwa; era mbagirawo baavaayo okujja mu kibuga.
29 Kaakano abantu bwe baawulira oluyoogaano olw’amaanyi ne bajja nga baddukira wamu mu nkuyanja okumanya kwe kyali kivudde; era bwe baalaba Aluma ne Amuleki nga bava mu kkomera, era nga ebisenge byalyo byali bigudde ku ttaka, ne bafuna okutya okw’amaanyi, era ne badduka okuva awo Aluma ne Amuleki we baali ddala ng’embuzi bw’edduka n’omwana gwayo okuviira empologoma ebbiri; era bwe batyo bwe badduka okusegulira Aluma ne Amuleki.