Essuula 60
Moloni yemulugunya eri Pakolani olw’obulagajjavu bw’obufuzi eri amagye; Mukama aleka abatuukirivu okuttibwa; Abaneefi bateekwa okukozesa amaanyi gaabwe gonna n’ebintu eby’ensimbi okwenunula okuva eri abalabe baabwe; Moloni atiisatiisa okulwanyisa obufuzi okuggyako nga obuyambi buweereddwa eri amagye ge. Nga mu mwaka gwa 62 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era olwatuuka yaddamu nate okuwandiikira omufuzi w’ensi, eyali Pakolani, era bino bye bigambo bye yawandiika, nga agamba nti: Laba, Ebbaluwa yange ngiwandiikira Pakolani, mu kibuga kya Zalakemula, nga ye ssabalamuzi era omufuzi eri ensi, era n’eri abo bonna abaalondebwa abantu bano okufuga n’okuddukanya ensonga z’olutalo.
2 Kubanga laba, nnina eky’okwogera gye bali mu ngeri ey’okubasalira omusango; kubanga laba, mmwe mwennyini mukimanyi nti mwalondebwa okukuŋŋaanya awamu abasajja, era mubakwase ebitala, era n’ebyambe, era n’ebyokulwanyisa ebya buli ngeri eby’olutalo ebya buli kika, era mu biweereze okulwanyisa Abalamani, mu buli kitundu kyonna mwe bayinza okujja mu nsi yaffe.
3 Era kaakano laba, mbagamba nti nze kennyini, era n’abasajja bange, era ne Keramani n’abasajja be, babonyeebonye bya nsusso okubonaabona okungi ennyo; weewaawo, ddala enjala, ennyonta, era n’obukoowu, na buli ngeri yonna ey’ebibonoobono ebya buli kika.
4 Naye laba, singa bino byonna bye twali tugumidde tetwanditolotoomye wadde okwemulugunya.
5 Naye laba, okuttibwa kubadde kw’amaanyi nnyo mu bantu baffe; weewaawo, enkumi n’enkumi battiddwa n’ekitala, so ng’ate kyandibadde kirala singa amagye gaffe mwali mugawadde obuyambi obutumala n’okugazzaamu amaanyi. Weewaawo, bubadde bw’amaayi nnyo obulagajjavu bwammwe gye tuli.
6 Era kaakano laba, twagala okumanya ekiviiriddeko obulagajjavu buno obw’amaanyi ennyo; weewaawo, twagala okumanya ekiviirako embeera yammwe ey’obutafaayo.
7 Musobola okulowooza okutuula ku nnamulondo zammwe mu mbeera y’okwewugguusa, nga eno abalabe bammwe bwe basaasaanya omulimu gw’okufa okubeetooloola? Weewaawo, nga bwe batemula enkumi n’enkumi za baganda bammwe;
8 Weewaawo, ddala abo ababeesize okubakuuma, weewaawo, bataddemu obwesige nti muyinza okubayamba, weewaawo, mwandibadde muweereza amagye gyebali, okubazzaamu amaanyi, era mwanditasizza enkumi n’enkumi zaabwe obutattibwa nakitala.
9 Naye laba, kino si kye kyoka; mubammye obugabirizi bwammwe, ddala okutuusa nti bangi balwanye era ne bayiwa omusaayi okutuuka okufiirwa obulamu bwabwe olw’okwagala kwabwe okungi ennyo kwe baalina olw’embeera y’abantu bano ennungi; weewaawo, era kino baakikola bwe baali banaatera okuzikirira n’enjala, olw’obulagajjavu bwammwe obw’amaanyi ennyo gye bali.
10 Era kaakano, baganda bange abaagalwa; kubanga musaanye okwagalibwa; weewaawo, era musaanidde okuba nga mwewaddeyo nnyo n’obunyiikivu ku olw’embeera ennungi n’eddembe ly’abantu bano; naye laba, mubalagajjalidde ddala okutuusa nti omusaayi gw’enkumi n’enkumi guliba ku mitwe gyammwe okuwoolera; weewaawo, kubanga emiranga gyabwe gyonna gyali gimanyiddwa Katonda, era n’okubonaabona kwabwe kwonna;
11 Laba, muyinza okulowooza nti musobola okutuula ku nnamulondo zammwe, era olw’obulungi bwa Katonda obusukkiridde tewali kye muyinza kukola n’abanunula? Laba, bwe muba nga mulowoozezza kino mulowoozezza butaliimu nsa.
12 Mulowooza nti, kubanga baganda bammwe bangi nnyo battiddwa kiva ku bubi bwabwe? Mbagamba nti, bwe muba nga kino kye mulowoozezza, mulowoozezza kya butaliimu nsa; kubanga mbagamba nti, eriyo bangi nnyo abattiddwa n’ekitala; era laba musingisibwa omusango;
13 Kubanga Mukama aleka abatuukirivu okuttibwa olwo obwenkanya bwe n’okulamula kwe bisobole okutuuka ku babi; n’olwekyo temusaanidde kuteebereza nti abatuukirivu babula kubanga battibwa; naye laba, bayingira mu kiwummulo kya Mukama Katonda waabwe.
14 Era kaakano, mbagamba nti, ntya nnyo nti okulamulwa kwa Katonda kulijja ku bantu bano, olw’obugayaavu bwabwe obusukkiridde, weewaawo, ddala obugayaavu bw’enfuga yaffe, era n’obulagajjavu bwabwe obw’amaanyi ennyo eri baganda baabwe, weewaawo, eri abo abattiddwa.
15 Kubanga singa tebwali bubi obwatandika okuviira ddala ku mukulembeze waffe, twandisobodde okuziyiza abalabe baffe ne batasobola kufuna maanyi kutuwangula.
16 Weewaawo, singa terwali lutalo olwabalukawo mu masekkati gaffe; weewaawo, singa singa si lwa bano ab’obwakabaka, abaviirako okuyiwa omusaayi omungi ennyo mu masekkati gaffe; weewaawo, mu kiseera we twali tuneneŋŋanira, singa twali tugasse wamu amaanyi gaffe nga bwe tuzze tukola okuva edda; weewaawo, singa tekyali kya kuyayanira kufuna bukulu na buyinza ab’obwakabaka kwe baalina ku ffe; singa baali bamazima eri nsonga y’eddembe lyaffe, era nga batwegasseeko, era ne balumba abalabe baffe, mu kifo eky’okukwata ebitala byabwe okutulwanyisa, ekyaviirako okuyiwa omusaayi omungi ennyo mu masekkati gaffe; weewaawo, singa twali tubalumbye mu maanyi ga Mukama, abalabe baffe twandibabunyizza emiwabo, kubanga kyandikoleddwa, okusinziira ku kutuukirizibwa okw’ekigambo kye.
17 Naye laba, kaakano Abalamani batulumba, batwala ebibanja byaffe, era batemula abantu baffe n’ekitala, weewaawo, bakazi baffe n’abaana baffe, era nate babatwala mu buwambe, babaleetere okubonaabona n’ebibonoobono eby’engeri zonna, era kino olw’obubi obw’amaanyi ennyo obw’abo abanoonya obukulu n’obuyinza, weewaawo, ddala abo ab’obwakabaka.
18 Naye lwaki mba njogera ebingi ku kikwata ku nsonga eno? Kubanga tetumanyi oba nti nammwe mwennyinimunoonya buyinza. Tumanyiki oba nammwe muli bali bankwe eri ensi yammwe.
19 Oba mutulagajjalidde kubanga muli mu mutima ogw’ensi yaffe era nga mwetooloddwa obukuumi, kyekyo lwaki temukkirizza mmere kusindikibwa gye tuli, era n’abasajja okunyweza amagye gaffe?
20 Mwerabidde ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe? Weewaawo, mwerabidde obusibe bwa bajjajjaaffe? Mwerabidde emirundi emingi gye tununuliddwa okuva mu mikono gy’abalabe baffe?
21 Oba mulowooza nti Mukama alitununula, nga tutudde ku nnamulondo zaffe ne tutakozesa bintu bino Mukama by’atuwadde?
22 Weewaawo, mugenda kutuula mu bugayaavu ate nga mwetooloddwa enkumi n’enkumi z’abo, weewaawo, era emitwalo n’emitwalo, nabo ate abatuula mu bugayaavu, ate nga waliwo enkumi n’enkumi okwetoloola wonna ku nsalo z’ensi abagwa olw’ekitala, weewaawo, abafunye ebisago era nga batiriika omusaayi?
23 Mulowooza nti Katonda ajja kubatunuulira ng’abatalina musango nga mutudde obutaseguka era nga mulaba ebintu bino? Laba mbagamba nti, Nedda. Kaakano nandyagadde mujjukire nti Katonda agambye nti ekibya eky’omunda kye kijja okusooka okuyonjebwa, olwo ekibya eky’ebweru ate nakyo kiyonjebwe.
24 Era Kaakano, okuggyako nga mwenenyezza olw’ebyo bye mukoze, era ne mutandika okuba abanyiikivu mu kukola ebyo, era ne muwereeza emmere n’abasajja gye tuli, era n’eri Keramani, asobole okuwanirira ebitundu ebyo eby’ensi yaffe by’anunudde, era tusobole okweddiza eby’obugagga byaffe ebisigaddeyo mu bitundu bino, laba kijja kuba kyetaagisa ffe obutaddamu okulwanagana na Balamani okutuusa nga tusoose okulongoosa ebibya byaffe eby’omunda, weewaawo, ddala omukulembeze omukulu ow’amaanyi ow’obufuzi bwaffe.
25 Era okuggyako nga mukkiriza bye nsabye mu bbaluwa yange, ne muvaayo ne mundaga omwoyo ogw’eddembe ogw’amazima, era ne mufuba okuzzaamu amaanyi n’okunyweza eby’okwerinda by’amagye gaffe, era ne mubawa emmere olw’okuwanirirwa kwabwe, laba nja kuleka ekitundu ku basajja bange ab’eddembe okulabirira ekitundu kino eky’ettaka lyaffe, era nja kuleka amaanyi n’emikisa gya Katonda ku bo, olwo nga tewali maanyi malala gonna gayinza kubalwanyisa;
26 Era kino olw’okukkiriza kwabwe okusukkiridde, n’obugumiikiriza bwabwe mu bunaku bwabwe;
27 Era nja kujja gye muli, era bwe wabaawo wadde omu mu mmwe ayayanira okufuna eddembe, weewaawo, singa wabaawo wadde ettondo ly’eddembe erisigadde, laba nja kusiikuula obuyeekera mu mmwe, ddala okutuusa ng’abo abalina endowooza okwewangamya ku bukulu n’obuyinza basaaniddewo ddala.
28 Weewaawo, laba sitya bukulu bwammwe wadde obuyinza bwammwe, naye Katonda wange gwe ntya; era nsinziira ku biragiro bye okukwata ekitala kyange okulwanirira ebigendererwa by’ensi yange, era lwa bubi bwammwe nti tufunye okufiirwa kungi nnyo.
29 Laba kino kye kiseera, weewaawo, ekiseera kaakano kiri kumpi, okuggyako nga mwekubye mu kifuba okulwanirira ensi yammwe n’abaana bammwe abato, ekitala eky’obwenkanya kibagaluliddwa; weewaawo, era kiribagwako n’okubakyalira ddala eri okuzikirizibwa kwammwe okw’enkomeredde.
30 Laba, nnindirira obuyambi okuva gye muli; era, okuggyako nga mutudduukirira n’obuyambi, laba, nzijja gye muli, ddala mu nsi y’e Zalakemula, era mbattise ekitala, okutuuka nti temuddamu kubeera na buyinza kuziyiza nkulaakulana ya bantu bano mu nsonga ey’eddembe.
31 Kubanga laba, Mukama tajja kubakkiriza kubeera balamu era mweyongere okukola obubi musanyeewo abantu be abatuukirivu.
32 Laba, muyinza okulowooza nti Mukama an’abasonyiwa n’avaayo okulamula Abalamani mu butakkirizaganya, ate ng’akalombolombo ka bajjajjaabwe ke kaviriddeko obukyayi bwabwe, weewaawo, era nga bukubisiddwamu abo abaatwabulira emirundi ebiri, nga obubi bwammwe bwa nsonga ya kwagala bitiibwa era n’ebintu eby’obutaliimu nsa eby’ensi?
33 Mukimanyi nti musobya amateeka ga Katonda, era mukimanyi nti mugalinnyiririra wansi w’ebigere byammwe. Laba, Mukama aŋŋamba nti: Singa abo be mulonze okubeera abafuzi tebeenenya bibi byabwe n’obutali butuukirivu, mujja kugenda mubalwanyise mu lutalo.
34 Era kaakano laba, nze, Moloni, nziyiziddwa, okusinziira ku ndagaano gy’enkoze okukuumanga ebiragiro bya Katonda wange; n’olwekyo nandyagadde muwulirize ekigambo kya Katonda, era munsindikire mu bwangu ku bugabirizi bwammwe n’abasajja bammwe, era n’eri Keramani.
35 Era laba, singa temuukole kino nzijja gye muli mu bwangu ddala; kubanga laba, Katonda tajja kutuleka kusaanawo olw’enjala; n’olwekyo ajja kutuwa ku mmere yammwe, ddala ne bwe kinabeera olw’ekitala. Kaakano mulabe nga mutuukiriza ekigambo kya Katonda.
36 Laba, nze Moloni, ssenkulu wammwe ow’eggye. Sinoonya buyinza, wabula okubukkakkanya. Sinoonya bitiibwa byansi, wabula ekitiibwa kya Katonda, era n’eddembe n’obulungi bw’ensi yange. Era bwe ntyo malirizza ebbaluwa yange.