Scriptures
Aluma 49


Essuula 49

Abalamani abalumbaganyi balemererwa okuwamba ebibuga bya Amonayika ne Nuuwa ebyanywezebwa; Amalikaya akolimira Katonda era n’alayira okunywa omusaayi gwa Moloni; Kelamani ne baganda be bagenda mu maaso n’okuzzaamu ekkanisa amaanyi. Nga mu mwaka gwa 72 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano olwatuuka mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu ogw’omwaka ogw’ekkumi n’omwenda, ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi, amagye g’Abalamani gaalabibwako nga gasembera nga goolekedde ensi ya Amonayika.

Era laba, ekibuga kyali kizimbiddwa buggya, era Moloni yali atadde eggye ku nsalo z’ekibuga, era nga baali batuumye ettaka okwetooloola wonna okuziyiza obusaale n’amayinja g’Abalamani; kubanga laba, baalwanyisanga amayinja era n’obusaale.

Laba, nnagambye nti ekibuga Amonayika kyali kizimbiddwa buggya. Mbagamba nti, weewaawo, kyali kyakazimbibwako ekitundu; era olw’okuba Abalamani baali bakisaanyawoko omulundi ogumu olw’obubi bw’abantu, balowooza nti kyandiddamu okufuuka omuyiggo omwangu gye bali.

Naye laba, nga okusoberwa kwabwe kwali kw’amaanyi nnyo; kubanga laba, Abaneefi baali basimye entuumu y’ettaka okubetooloola, eyali waggulu ennyo ne kiba nti Abalamaani baali tebasobola kukasuka mayinja gaabwe n’obusaale bwabwe gye bali okusobola okubakolako obulabe bwonna, era tebaasobola kubakolako bulumbaganyi okuggyako nga bayise mu kifo kyabwe ewayingirirwa.

Kaakano mu kiseera kino bassenkulu ab’eggye eri Abalamani beewuunya nnyo byansusso, olw’amagezi g’Abaneefi mu kutegeka ebifo byabwe eby’obukuumi.

Kaakano abakulembeze b’Abalamani baali balowoozezza nti, olw’obungi bw’emiwendo gyabwe, weewaawo, balowooza nti balina omukisa okubakolako obulumbaganyi nga bwe baakolanga nnazikuno; weewaawo, era nabo baali beetegese n’engabo, era n’ebyambalo ebyomubifuba; era baali beetegese n’engoye ez’amaliba, weewaawo, engoye enzito ennyo okubikka obwereere bwabwe.

Era nga bwe baali betegese bwe batyo baalowooza nti kijja kubabeerera kyangu ddala okubawangula era n’okussa baganda baabwe mu kikoligo ky’obuddu, oba okubatta n’okubatirimbulira ddala okusinziira nga bwe baagala.

Naye laba, ekyabewuunyisiza ddala ennyo, baali babeetegekedde, mu ngeri eyali temanyikiddwa mu baana ba Leki. Kaakano baali beetegekedde Abalamani, okulwana nga bassa mu nkola ebiragiro bya Moloni.

Era olwatuuka Abalamani, oba Abamalikaya, beewuunya nnyo olw’engeri yaabwe gye beetegekeramu olutalo.

10 Kaakano, singa kabaka Amalikaya yali akkiridde okuva mu nsi ya Neefi, nga y’akulembedde eggye lye, oba oli awo yandiragidde Abalamani okulumbagana Abaneefi mu kibuga kya Amonayika; kubanga laba, yali tafaayo ku musaayi gw’abantu be.

11 Naye laba, Amalikaya teyakkirira ye kennyini okulwana. Era laba, bassenkulu be ab’eggye tebetantala kukola bulumbaganyi ku Baneefi mu kibuga kya Amonayika, kubanga Moloni yali akyusizza enzirukanya y’ensonga mu Baneefi, mu ngeri nti Abalamani baali bennyamivu mu bifo byabwe gye baddukira era ne batayinza nakuvaayo kubalwanyisa.

12 N’olwekyo badda ennyuma mu lukoola, ne baggyawo enkambi yaabwe ne batambula nga boolekera ensi ya Nuuwa, nga bagiteebereza okubeera ekifo ekiddako okubeera ekirungi gye bali okusobola okulwanyisa Abaneefi.

13 Kubanga tebaamanya nti Moloni yali anywezezza, oba yali azimbye ebigo eby’obukuumi, eri buli kibuga mu nsi yonna okwetoloola; n’olwekyo, beeyongerayo okwolekera ensi ya Nuuwa n’obumalirivu obw’amaanyi; weewaawo, bassenkulu baabwe ab’eggye baavayo ne bakola ekirayiro nti bajja kusaanyawo abantu b’ekibuga ekyo.

14 Naye laba, kyababuukako, ekibuga Nuuwa, ekyali ekifo ekinafu okutuusa kaakano, kati, olwa Moloni, kyafuuka kya maanyi, weewaawo, ddala n’okusukkuluma amaanyi g’ekibuga Amonayika.

15 Era Kaakano, laba, gano gaali magezi mu Moloni; kubanga yali ateeberezza nti bajja kutya ekibuga Amonayika; era ng’ekibuga Nuuwa okutuusa kaakano kyali ekitundu eky’ensi ekikyasingidde ddala obunafu, n’olwekyo bajja kugendayo mu lutalo; era bwe kityo bwe kyali okusinziira nga bwe yali ayagala.

16 Era laba, Moloni yali alonze Leki okubeera ssenkulu ow’eggye eri abasajja b’ekibuga ekyo; era yali Leki oyo y’omu eyalwanagana n’Abalamani mu kiwoonvu ku luuyi lw’ebuvanjjuba bw’omuga Sidoni.

17 Era Kaakano laba olwatuuka, Abalamani bwe baali bakizudde nti Leki ye yali omuduumizi w’ekibuga baggwamu amaanyi nate, kubanga baali batya Leki byansusso; wadde nga kyali kityo bassenkulu baabwe ab’eggye baali basuubiza n’ekirayiro okulumba ekibuga; n’olwekyo, baaleeta amagye gaabwe.

18 Kaakano laba, Abalamani baali tebasobola kuyingira mu bigo byabwe eby’obukuumi mu ngeri endala yonna okuggyako okuyita mu mulyango, olw’obugulumivu bw’entuumu ezaali waggulu, n’obuwanvu bw’ekinnya ekyali kisimiddwa okwetooloola, okuggyako nga bayise mu mulyango.

19 Era bwe batyo Abaneefi bwe baali abetegefu okusanyaawo bonna nga abo abaagezangako okuwalampa wagulu okuyingira ekigo mu ngeri endala yonna, nga babakasukira amayinja n’obusaale.

20 Bwe batyo baali beetegefu, weewaawo, ekibinja ky’abasajja baabwe abasingira ddala okuba ab’amaanyi, n’ebitala n’envumuulo zaabwe, okukuba abo bonna abaagezangako okuyingira mu kifo kyabwe eky’obukuumi nga bayita mu mulyango; era bwe batyo bwe beetegeka okwerwanako okuva eri Abalamani.

21 Era olwatuuka abakulu ab’eggye eri Abalamani baaleeta amagye gaabwe mu maaso g’ekifo ekiyingirirwamu, ne batandika okulwanagana n’Abaneefi, nga baagala okuyingira mu kifo kyabwe eky’obukuumi; naye laba, bazzibwa ennyuma buli luvannyuma lwa kiseera, ddala okutuusa nti battibwa n’okusanjagibwa okw’amaanyi ennyo.

22 Kaakano bwe bakizuula nti baali tebasobola kufuna buwanguzi ku Baneefi nga bayita mu mulyango, baatandika okusima wansi w’entuumu zaabwe ez’ettaka olwo basobole okufuna ekkubo eribatuusa eri amagye gaabwe, olwo basobole okufuna omukisa ogw’ekyenkanyi okulwana; naye laba, mu kugezaako kuno baayiringisibwanga amayinja n’obusaale ebya bakasukirwanga; era mu kifo ky’okujjuza ebinnya byabwe nga bazimbulula entuumu z’ettaka, byajjuzibwa mu bungi n’emibiri gy’abafu baabwe era n’abaafunanga ebisago ku mibiri.

23 Bwe batyo Abaneefi baalina obuyinza bwonna ku balabe baabwe; era bwe batyo Abalamani bwe baagezaako okusanyaawo Abaneefi okutuusa bassenkulu baabwe bonna ab’eggye bwe battibwa; weewaawo, era Abalamani abasukka mu lukumi battibwa, ng’ate, ku ludda olulala, tewaali wadde omwoyo n’ogumu ogw’Abaneefi ogwattibwa.

24 Waaliwo nga amakumi ataano abaali bafunye ebisago, abaali bafumitiddwa obusaale bw’Abalamani okuyita mu mulyango, naye bwaziyizibwa engabo zaabwe, era n’ebyambalo byabwe ebyomubifuba, era n’ebyambalo byabwe ebyokumitwe, ddala okutuusa nti ebisago byabwe byali kumagulu gaabwe, ebingi ku byo ebyali eby’amaanyi ennyo.

25 Era olwatuuka, Abalamani baddukira mu lukoola bwe balaba nga bassenkulu baabwe boona ab’eggye baali battiddwa, badduka okwolekera olukoola. Era olwatuuka baakomawo eri ensi ya Neefi, okubuulira kabaka waabwe, Amalikaya, eyali ow’obuzaale bwa Baneefi ebikwata ku kufiirwa kwabwe okuyitirivu ennyo.

26 Era olwatuuka yali musunguwavu byansusso eri abantu be, kubanga yali tafunye kye yali ayagala eri Abaneefi; yali tabataddeko kikoligo kya buddu.

27 Weewaawo, yasunguwala byansusso, era n’akolimira Katonda, era ne Moloni, ng’asuubiza n’ekirayiro nti ajja kunywa omusaayi gwe; era kino kubanga Moloni yali akuumye ebiragiro bya Katonda mu kutegeka obukuumi bw’abantu be.

28 Era olwatuuka, nti ku luda olulala, abantu ba Neefi beebaza Mukama Katonda waabwe, olw’amaanyi ge agatenkanika mu ku banunula okuva mu mikono gy’abalabe baabwe.

29 Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi.

30 Weewaawo, era waaliwo emirembe egitatadde mu bo, era n’enkulaakulana ey’amaanyi ennyo mu kkanisa olw’obuwulize n’obunyiikivu bwabwe bye bawaayo eri ekigambo kya Katonda, ekyalangirirwa Kelamani gye bali, era ne Sibulooni, era ne Kolyantoni, era ne Amoni ne baganda be, weewaawo, era n’abo bonna abaali batongozeddwa okusinziira ku nsengekebwa entukuvu eya Katonda, nga babatizibwa ku lw’okwenenya, era ne basindikibwa okubuulira mu bantu.