Scriptures
Aluma 57


Essuula 57

Kelamani alombojja okuwambibwa kw’Antipala n’okwewaayo n’oluvannyuma eby’okwerinda bya Kumeni; Embulakalevu ze Abamooni balwana n’obuzira; bonna balumizibwa, naye tewali n’omu attibwa; Gidi alanga okuttibwa n’okutoloka kw’abasibe Abalamani. Nga mu mwaka gwa 63 nga Kristo tannazaalibwa.

Era kaakano olwatuuka ne nfuna ebbaluwa okuva eri Amolooni, kabaka, nga egamba nti singa mpaayo abasibe abo ab’olutalo be twali tututte, ajja kuwaayo ekibuga Antipala gye tuli.

Naye nnaweereza ebbaluwa eri kabaka, nga twali tukakasa nti amagye gaffe gaali gamala okutwala ekibuga Antipala n’amaanyi gaffe; era tekijja kubeera kya magezi ffe okuwaayo abasibe baffe olw’ekibuga ekyo, era engeri yokka gye tunawaayo abasibe baffe enabeera yakuwanyisiganya.

Era Amolooni yagaana ebbaluwa yange, kubanga yali tayagala kuwanyisiganya basibe; n’olwekyo twatandika okukola enteekateeka okugenda okulumba ekibuga Antipala.

Naye abantu ba Antipala baava mu kibuga, era ne baddukira mu bibuga byabwe ebirala, bye baalinako obwannanyini, okunyweza eby’okwerinda kwa byo; era bwe kityo ekibuga Antipala kyagwa mu mikono gyaffe.

Era bwe gutyo bwe gwaggwako omwaka ogw’amakumi abiri mu munaana ogw’obufuzi bw’abalamuzi.

Era olwatuuka ku ntandikwa y’omwaka ogw’amakumi abiri mu mwenda, twafuna obugabirizi mu bungi, era ate n’okwongerwa ku ggye lyaffe, okuva mu nsi ya Zalakemula, n’okuva mu nsi eyetoolooddewo, ogwatuuka ku muwendo gw’abasajja kakaaga, nga tobaliddeeko enkaaga ku batabani b’Abamooni abaali bazze okwegatta ku baganda baabwe, ekibinja kyange eky’abasajja enkumi ebbiri. Era kaakano laba, twali ba maanyi, weewaawo, era ate twalina mu bungi obugabirizi obwa tuleetebwa.

Era olwatuuka kyali kigenderera kyaffe okutanula olutalo ku ggye eryateekebwawo okukuuma ekibuga Kumeni.

Era kaakano laba, nja kubalaga nti mangu ddala twatuukiriza ekigendererwa kyaffe; weewaawo, n’eggye lyaffe ery’amaanyi, oba n’ekitundu ky’eggye lyaffe ery’amaanyi, twazingiza, ekiro, ekibuga Kumeni, akasera katono bwe baali nga banaatera okufuna obugabirizi mu bungi.

Era olwatuuka twaguumba mu nkambi okwetooloola ekibuga okumala ebiro bingi; naye twezizika ebitala byaffe, era twassaawo abakuumi, olwo Abalamani baleme okututuukako ekiro era batutte, kye baagezaako emirundi emingi; naye emirundi gyonna gye baagezaako kino omusaayi gwabwe gwayiibwa.

10 Nga wayise ebbanga obugabirizi bwabwe bwatuuka, era baali banaatera okuyingira mu kibuga ekiro. Naffe, mu kifo ky’okubeera Abalamani, twali Baneefi; n’olwekyo, twabawamba n’obugabirizi bwabwe.

11 Era newakubadde nga Abalamani baasalibwako okuva eri obugabirizi bwabwe mu ngeri eno, baali bakyamaliridde okufuga ekibuga; n’olwekyo kyali kisaanidde okutwala obugabirizi obwo era tubiweereze e Buyudaaya, era n’abasibe baffe mu nsi y’e Zalakemula.

12 Era olwatuuka tewaayita nnaku nnyingi nga Abalamani tebannatandika kuggwamu ssuubi lyonna ery’obuyambi; n’olwekyo bawaayo ekibuga mu mikono gyaffe; era bwe tutyo twali tutuukirizza enteekateeka zaffe mu kufuna ekibuga Kumeni.

13 Naye olwatuuka abasibe baffe baali bangi nnyo ne kiba nti, wadde nga omuwendo gwaffe gwali munene nnyo, twawalirizibwa okukozesa eggye lyaffe lyonna okubakuuma, oba ekitali ekyo okubatta.

14 Kubanga laba, bamenyanga okufuluma mu bungi, era balwanyisanga amayinja, n’emiggo, oba buli kintu kyonna kye baali basobola okufuna mu ngalo zaabwe, okutuuka nti twatta abasukka mu nkumi bbiri ku bo oluvannyuma lw’okwewaayo ng’abasibe b’olutalo.

15 N’olwekyo kyatugwanira, okukomya obulamu bwabwe, oba okubakuuma, n’ekitala mu ngalo, okuserengeta mu nsi y’e Zalakemula; era ate obugabirizi bwaffe bwali butono ddala okumala abantu baffe, wadde nga waaliwo bwe twali tuggye ku Balamani.

16 Era kaakano, mu mbeera ezo enzibu, yafuuka nsonga ya maanyi nnyo okusalawo ku bikwata ku basibe bano ab’olutalo; wabula, twasalawo okubaserengesa mu nsi ya Zalakemula; n’olwekyo twalonda ekitundu ku basajja baffe, ne tubawa obuvunaanyizibwa ku basibe baffe okuserengeta mu nsi ya Zalakemula.

17 Naye olwatuuka enkeera baakomawo. Era kaakano laba, tetwababuuza ku bikwata ku basibe; kubanga laba, Abalamani baali batulumbye, era baakomawo mu budde okutuwonya okugwa mu mikono gyabwe. Kubanga laba, Amolooni yali abasindikidde obugabirizi obuggya mu bungi era n’eggye ly’abasajja eddene.

18 Era olwatuuka abasajja abo be twaweereza n’abasibe baatuukira mu budde okubayimiriza, kubanga baali banaatera okutuwangula.

19 Naye laba, ekibinja kyange eky’abasajja enkumi ebbiri mu enkaaga baalwana bwezizingirire; weewaawo, baali banywevu mu maaso g’Abalamani, era baabatuusaako okufa abo bonna abaabalwanyisa.

20 Era eggye lyaffe eryasigalawo bwe lyali linaatera okudduka Abalamani, laba, abo enkumi ebbiri mu enkaaga baali banywevu era nga bazira nnamige.

21 Weewaawo, era baagonderanga n’okufaayo okutuukiriza buli kigambo eky’ekiragiro mu butuufu; weewaawo, era ddala okusinziira ku kukkiriza kwabwe kyakolebwanga gye bali; era ne nzijukira ebigambo bye baŋŋamba nti bannyaabwe bye babayigirizza.

22 Era kaakano laba, baali batabani bange bano, n’abasajja abo abaali balondeddwa okutwala abasibe, be tuwa obuwanguzi buno obw’amaanyi; kubanga baali bo abaakuba Abalamani; n’olwekyo baagobebwa okuzzibwayo mu kibuga ky’e Manti.

23 Era twasigaza ekibuga kyaffe Kumeni, era tetwazikirizibwa fenna na kitala; wabula, twali tufiiriddwa nnyo.

24 Era olwatuuka Abalamani bwe bamala okudduka, amangu ago nnalagira nti abasajja bange abaali bafunye ebisago baggibwe mu bafu, era nnalagira ebiwundu byabwe bijjanjabibwe.

25 Era olwatuuka waaliwo ebikumi bibiri, ku nkumi zange ebbiri mu enkaaga, abaali bazirise olw’okuvaamu omusaayi; wabula, okusinziira ku bulungi bwa Katonda, n’ekyatwewunyisa ennyo, era nate essanyu ery’eggye lyaffe lyonna, tewaaliwo muntu n’omu ku bo eyazikirira; weewaawo, era tewaaliwo muntu wadde n’omu mu bo atafuna biwundu bingi.

26 Era kaakano, okukuumibwa kwabwe kwali kwewuunyisa eri eggye lyaffe lyonna, weewaawo, bo okuba nga baawona ate nga waaliwo lukumi ku b’oluganda lwaffe abattibwa. Era mu bwenkanya tukikwanaganya n’amaanyi ga Katonda ag’ebyamagero, olw’okukkiriza kwabwe okusuffu mu ekyo kye baali bayigiriziddwa okukkiriza; nti waaliwo Katonda omwenkanya, era oyo yenna ataabuusabuusanga, balina okuumibwanga olw’amaanyi ge ag’ekitalo.

27 Kaakano kuno kwe kwali okukkiriza kwa bano be njogeddeko; bato, era n’ebirowoozo byabwe biteefu, era bateeka obwesige bwabwe mu Katonda bulijjo.

28 Era kaakano olwatuuka bwe tutyo bwe twamala okujjanjaba abasajja baffe abaali bafunye ebisago, n’okuziika abafu baffe era n’abafu b’Abalamani, abaali abangi, laba, twabuuza Gidi ku bikwata ku basibe be baali batandise okuserengeta nabo mu nsi ya Zalakemula.

29 Kaakano Gidi ye yali ssenkulu ow’eggye ow’ekibinja eyalondebwa okubakuuma okutuuka mu nsi.

30 Era kaakano, bino bye bigambo Gidi bye yaŋŋamba: Laba, twatandika okuserengeta mu nsi y’e Zalakemula n’abasibe baffe. Era olwatuuka ne tusisinkana abakessi b’amagye gaffe, abaali basindikiddwa okukuumira eriiso ku nkambi y’Abalamani.

31 Era ne batubagulizzaako, nga bagamba nti; Laba, amagye g’Abalamani gatambula nga goolekera ekibuga Kumeni; era laba, bajja kubakolako obulumbaganyi, weewaawo, era bajja kuzikiriza abantu baffe.

32 Era olwatuuka abasibe baffe baawulira okulabula kwabwe, ekyabaleetera okuguma; ne basituka okutujeemera.

33 Era olwatuuka olw’obujeemu bwabwe twasalawo okubaggyirayo ebitala byaffe. Era olwatuuka mu bungi baasisinkana ebitala byaffe, nga mu ekyo, omuwendo ogusinga obungi ku bo battibwa; era abaasigalawo baawaguza era ne batuddukako.

34 Era laba, bwe baali baadduse era nga tetukyasobola kubatuukako, ne tutambula mu bwangu nga twolekera ekibuga Kumeni; era laba, twatukira mu kiseera tusobole okuyamba baganda baffe mu kukuuma ekibuga.

35 Era laba, tununuliddwa nate okuva mu mikono gy’abalabe baffe. Era erinnya lya Katonda waffe lyebazibwe; kubanga laba, y’atununudde; weewaawo, oyo atukoledde ekintu kino ekikulu.

36 Kaakano olwatuuka nze, Keramani, bwe nnawulira ebigambo bino ebya Gidi, najjula essanyu erisukkiridde olw’obulungi bwa Katonda mu kutukuuma, nti fenna tuleme kuzikirira; weewaawo, era nkakasa nti emyoyo gy’abo abattiddwa giyingidde mu kiwummulo kya Katonda waabwe.