Essuula 6
Ekkanisa mu Zalakemula etukuzibwa era n’etegekebwa; Aluma agenda e Gidiyoni okubuulira. Nga mu mwaka gwa 83 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka oluvannyuma nga Aluma amalirizza okwogera eri abantu b’ekkanisa, eyateekebwawo mu kibuga eky’e Zalakemula, yatongoza bakabona n’abakadde, ng’abateekako emikono gye okusinziira ku ntegeka ya Katonda, okukulembera n’okulabirira ekkanisa.
2 Era olwatuuka buli yenna ataali kitundu ku kkanisa eyeenenya ebibi bye yabatizibwa olw’okwenenya, era n’ayanirizibwa mu kkanisa.
3 Era nate olwatuuka abo bonna abaali ab’ekkanisa abateenenya bubi bwabwe era n’okwetoowaza mu maaso ga Katonda; Ntegeeza abo abaali bakulumbalidde mu malala ag’emitima gyabwe; beebamu abaagaanibwa, era amannya gaabwe ne gasangulwamu, nti amannya gaabwe tegaabalibwa mu ago ag’abatuukirivu.
4 Era bwe batyo ne batandika okuteekawo entegeka y’ekkanisa mu kibuga eky’e Zalakemula.
5 Kaakano nandyagadde mmwe mukitegeere nti ekigambo kya Katonda kyali kyabuwa eri bonna, nti tewali n’omu ataaweebwa mwagaanya gwa kukuŋŋaanira awamu okuwulira ekigambo kya Katonda.
6 Wadde nga kyali kityo abaana ba Katonda balagirwa nti balina okukuŋŋaanira awamu buli kiseera, era beegatte mu kusiiba n’okusaba okw’amaanyi ku lw’obulungi bw’emyoyo gy’abo abaali batamanyi Katonda.
7 Era kaakano olwatuuka Aluma bwe yali akoze ennambika zino n’agenda, weewaawo, okuva mu kkanisa eyali mu kibuga eky’e Zalakemula, n’agenda mu buvanjuba obw’omugga Sidoni, mu kiwonvu kya Gidiyoni, eyo nga waaliyo ekibuga ekyazimbibwa, ekyali kiyitibwa ekibuga kya Gidiyoni, ekyali mu kiwonvu ekyo ekyali kiyitibwa Gidiyoni, nga kyatuumibwa erinnya ly’omusajja eyattibwa omukono gwa Nekoli n’ekitala.
8 Era Aluma n’agenda n’atandika okulangirira ekigambo kya Katonda eri ekkanisa eyateekebwawo mu kiwonvu kya Gidiyoni, okusinziira ku kubikkulirwa okw’amazima g’ekigambo ekyali kyogeddwa bajjajjaabe, era n’okusinziira ku mwoyo gw’obunnabbi ogwali mu ye, okusinziira ku kujulirwa kwa Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, alina okujja okununula abantu be okuva mu bibi byabwe, era n’entegeka entukuvu okwava okuyitibwa kwe. Era bwe kityo kiwandiikiddwa. Amiina.