Scriptures
Aluma 1


Ekitabo Kya Aluma
omutabani w’Aluma

Ennyinyonnyolwa ya Aluma, eyali mutabani wa Aluma, omulamuzi eyasooka era ne ssabalamuzi eri abantu ba Neefi, era nate kabona ow’oku ntikko eri ekkanisa. Ennyinyonnyolwa ey’obufuzi bw’abalamuzi, era n’entalo n’ennyombo mu bantu. Era nate ennyinyonnyolwa ey’olutalo wakati w’Abaneefi era n’Abalamani, okusinziira ku kiwandiiko kya Aluma, omulamuzi eyasooka era ssabalamuzi.

Essuula 1

Nekoli ayigiriza enjigiriza ez’obulimba, atandikawo ekkanisa, aleetawo embuulira ey’obulimba, era atta Gidiyoni; Nekoli attibwa olw’ebikolobero bye; Okubuulira eby’obulimba n’okuyigganyizibwa bisaasaana mu bantu; Bakabona beeyimirizawo, abantu bafaayo eri abaavu, era ekkanisa ekulaakulana. Nga mu mwaka gwa 91–88 nga Kristo tannazaalibwa.

Kaakano olwatuuka mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bw’abalamuzi eri abantu ba Neefi, okuva mu kiseera kino okweyongerayo, kabaka Mosiya nga amaze okufa nga bwe kiri mu nsi yonna, ng’alwanye olutalo olulungi, ng’atambulira mu bwesimbu mu maaso ga Katonda, nga teyalekawo wadde n’omu okufuga mu kifo kye; wabula yali ataddewo amateeka, era gaali gakkiriziddwa abantu; n’olwekyo kyali kibakakatako okugondera amateeka ago geyali akoze.

Era olwatuuka mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Aluma mu ntebe ey’obulamuzi, waaliwo omusajja eyaleetebwa mu maaso ge okusalirwa omusango, omusajja eyali omuwagguufu, era eyali amanyiddwa olw’amaanyi ge amangi.

Era yali atambudde mu bantu, ng’ababuulira kye yayita ekigambo kya Katonda, ng’avumirira ekkanisa; ng’alangirira eri abantu nti buli kabona n’omusomesa asaanidde okufuuka ow’ettutumu; era tebasaanidde kukola na mikono gyabwe, wabula basaanidde okuwanirirwa abantu.

Era nate yawa obujulizi eri abantu nti abantu bonna balirokolebwa ku lunaku olw’enkomerero, era nti tebeetaaga kutya wadde okukankana, wabula bayimuse emitwe gyabwe era basanyuke; kubanga Mukama yali atonze abantu bonna, era nate yali anunudde abantu bonna; era, ku nkomerero, abantu bonna balina okufuna obulamu obutaggwaawo.

Era olwatuuka yayigiriza ebintu bino mu ngeri nti bangi bakkiriza ebigambo bye, ddala bangi nnyo nti batandika okumuwagira n’okumuwa ssente.

Era yatandika okwekulumbaza mu malala ag’omutima gwe, n’okwambala engoye ez’omuwendo omungi, weewaawo, era ddala yatandika okuteekawo ekkanisa ng’asinziira ku mbuulira ye.

Awo olwatuuka bwe yali ng’agenda, okubuulira abo abakkiririza mu kigambo kye, n’asisinkana omusajja eyali ow’ekkanisa ya Katonda, weewaawo, ddala omu ku basomesa baabwe; n’atandika okukaayana ennyo naye, nti asobole okukyamya abantu b’ekkanisa; naye omusajja yamuziyiza, ng’amubuulirira n’ebigambo bya Katonda.

Kaakano erinnya ly’omusajja oyo yali Gidiyoni; era ye wuuyo eyali ekikozesebwa mu mikono gya Katonda mu kununula abantu ba Limuki okuva mu buddu.

Kaakano, olw’okuba Gidiyoni yamuziyiza n’ebigambo bya Katonda n’asunguwalira Gidiyoni, era yasowolayo ekitala kye n’atandika okumukuba. Kaakano olw’emyaka gya Gidiyoni emingi, n’olwekyo teyasobola kuziyiza kukubwa kwe, n’olwekyo yattibwa n’ekitala.

10 Era omusajja eyamutta yatwalibwa abantu b’ekkanisa, era n’aleetebwa mu maaso ga Aluma, okusalirwa omusango okusinziira ku bikolobero bye yali akoze.

11 Era olwatuuka n’ayimirira mu maaso ga Aluma era ne yeewolereza n’obuvumu obungi.

12 Naye Aluma n’amugamba nti: Laba, guno gwe mulundi ogusoose embuulira ey’obulimba okuyingizibwa mu bantu bano. Era laba, tosingisibwa musango gwa kubuulira bya bulimba gwokka, naye ofubye okubukaka n’ekitala; era singa embuulira ey’obulimba yali yakukakibwa mu bantu bano kyandiviiriddeko ddala okuzikirizibwa kwabwe bonna.

13 Era oyiye omusaayi ogw’omusajja omutuukirivu, weewaawo, omusajja akoze ebirungi ebingi mu bantu bano; era singa tugezaako okukusonyiwa omusaayi gwe gwakutuddira olw’okuwoolera.

14 N’olwekyo osaliddwa gwa kufa, okusinziira ku tteeka eryatuweebwa Mosiya, kabaka waffe eyasembayo; era lyakkirizibwa abantu bano; n’olwekyo abantu bano balina okugoberera etteeka.

15 Era olwatuuka baamutwala; era erinnya lye yali Nekoli; era baamusitula okutuuka ku ntikko y’akasozi Manti, era eyo yawalirizibwa, oba yakkiriza, wakati w’eggulu n’ensi, nti bye yali ayigirizza abantu byali bikontana n’ekigambo kya Katonda; era awo yafa mu ngeri ey’obuswavu.

16 Wabula, kino tekyakomya kusaasaana kwa mbuulira ey’obulimba mu nsi; kubanga waaliwo bangi abaagala ebintu eby’ensi eby’obutaliimu nsa, era bagenda mu maaso n’okubuulira enjigiriza ez’obulimba; era kino baakikola ku lw’obugagga n’ekitiibwa.

17 Wabula, tebetantala kulimba, singa kyamanyibwanga, olw’okutya amateeka, kubanga abalimba baabonerezebwanga; n’olwekyo kyebaava beefuula ababuulira okusinziira ku nzikiriza yaabwe; era kaakano amateeka tegavunaanaanga muntu yenna olw’okukkiriza kwe.

18 Era tebetantalanga kubba, olw’okutya amateeka, kubanga abo baabonerezebwanga; so tebetantalanga kunyaga, wadde okutemula, kubanga oyo eyatemulanga yabonerezebwanga okutuusa okufa.

19 Naye olwatuuka buli ataali mu kkanisa ya Katonda yatandika okuyigganya abo abaali ab’ekkanisa ya Katonda, era abaali bayitibwa erinnya lya Kristo.

20 Weewaawo, baabayigganya, era nga baboogerera ebigambo ebya buli ngeri, era kino olw’obwetoowaze bwabwe; kubanga tebeekulumbaza mu malala mu ndaba yaabwe, era kubanga baagabananga ekigambo kya Katonda, buli omu n’omulala, awatali ssente era awatali muwendo.

21 Kaakano waaliwo etteeka ekkakali mu bantu b’ekkanisa, nti tewalina kubaawo muntu yenna, ow’ekkanisa, okusituka n’ayigganya abo abataali ba kkanisa, era nti tewaalina kubaawo kuyigganyizibwa wakati waabwe.

22 Wadde nga kyali kityo, mu bo mwalimu bangi abaatandika okwemanya, era baatandika okuyombagana n’abalabe baabwe, ddala n’okukubagana; weewaawo, baakubagana ebikonde.

23 Kaakano kino kyaliwo mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Aluma, era kyaviirako ebibonoobono ebingi eri ekkanisa; weewaawo, kyaviirako okugezesebwa okungi eri ekkanisa.

24 Kubanga emitima gy’abangi gyali gikakanyadde, era amannya gaabwe gaasangulwa, nti tebaddamu kujjukirwa nate mu bantu ba Katonda. Era nate bangi babeeyawulako.

25 Kaakano kino kyali ekigezo ekinene eri abo abaali bayimiridde n’obumalirivu mu kukkiriza; wadde nga kyali kityo, baali banywevu era nga tebakyuka mu kukuuma biragiro bya Katonda, era ne bagumiikiriza okuyigganyizibwa okwabateekebwako.

26 Era awo bakabona bwe baalekanga emirimu gyabwe okubunyisa ekigambo kya Katonda eri abantu, abantu nabo bwe batyo baalekanga emirimu gyabwe okuwulira ekigambo kya Katonda. Era awo kabona bwe yamalanga okubawa ekigambo kya Katonda bonna nga bakomawo nate n’obunyiikivu ku mirimu gyabwe; era ne kabona, nga teyeetwala nti asinga abawuliriza be, kubanga omubuulizi teyasinga muwuliriza, so n’omusomesa teyasinganga muyizi; era bwe batyo bonna nga benkanaankana, era bonna baakola, buli muntu ng’amaanyi ge bwe gaali.

27 Era baagabana ku by’obugagga byabwe, buli muntu okusinziira kw’ebyo bye yalina, eri abaavu, n’abeetaaga, n’abalwadde, n’ababonaabona; era tebaayambalanga ngoye za muwendo mungi, naye ate nga baali bayonjo era nga babalagavu.

28 Era bwe batyo ne banyweza ensonga ez’ekkanisa; era bwe batyo ne batandika okufuna emirembe egitatadde nate, nga oggyeko eby’okuyigganyizibwa byonna.

29 Era kaakano, olw’obunyiikivu bw’ekkanisa baatandika okugaggawala ennyo, nga baalina mu bungi olw’ebintu byonna bye baalinako obwetaavu; obungi bw’ebisibo n’amagana, n’ensolo ensava eza buli ngeri, era n’obungi obw’emmere ey’empeke, era ne zaabu, era ne ffeeza, era n’ebintu eby’omuwendo, era n’obungi bwa liiri ne bafuta ennungi, era n’engoye ezitali nnungi kisusse ez’engeri zonna.

30 Era bwe batyo, mu mbeera zaabwe ez’obugagga, tebagobanga oyo yenna eyali obwereere, oba eyali omuyala, oba eyali alumwa ennyonta, oba eyali omulwadde, oba eyali omukovvu; era tebassa mitima gyabwe ku bya bugagga; n’olwekyo baali basembeza bonna, wamu abakulu n’abato, wamu abaddu n’ab’eddembe, wamu abasajja n’abakazi, ka babe nga baava mu kkanisa oba bali mu kkanisa, nga tebalina okusosola mu bantu abaali bayimiridde mu bwetaavu.

31 Era bwe batyo ne bakulaakulana era ne bafuuka bagagga nnyo okusinga abo abatali ba kkanisa yaabwe.

32 Kubanga abo abataali mu kkanisa yaabwe beenyigiranga mu by’obulogo, era ne mu kusinza ebifaananyi oba obugayaavu, era ne mu kulokopya, era ne mu buggya n’obutabanguko; okwambala engoye ez’omuwendo omungi; nga beekulumbaza mu malala mu ndaba yaabwe; okuyigganya, okulimba, okubba, okunyaga, okwenda, era n’okutemula, era n’obubi obw’engeri zonna; wabula, etteeka lyassibwanga mu nkola eri abo bonna abaalimenyanga, okutuusa ddala nga bwe kyali kisoboka.

33 Era olwatuuka nga bwe gatyo amateeka bwe gateekebwa mu nkola ku bo, buli muntu ng’abonerezebwa okusinziira kw’ebyo bye yali akoze, ne beeyongera okutebenkera, era ne batetantala kukola bubi bwonna bwe buba nga bumanyiddwa; n’olwekyo, waaliwo emirembe mingi mu bantu ba Neefi okutuusa omwaka ogw’okutaano ogw’obufuzi bw’abalamuzi.