Enyinnyonnyolwa y’abatabani ba Mosiya, abagaana eddembe lyabwe ery’obwebange eri obwakabaka olw’ekigambo kya Katonda, era ne bajja mu nsi ya Neefi okubuulira eri Abalamani; okubonaabona kwabwe n’okununulibwa; okusinziira ku kiwandiiko kya Aluma.
Mulimu essuula 17 okutuuka ku 27.
Essuula 17
Batabani ba Mosiya balina omwoyo ogw’obunnabbi n’okubikkulirwa; Bagenda mu makubo gaabwe ag’enjawulo okulangirira ekigambo eri Abalamani; Amoni agenda mu nsi ya Yisimayiri n’afuuka omuweereza wa kabaka Lamoni; Amoni ataasa ebisibo bya kabaka era n’atta abalabe be ku mazzi ga Sebusi. Ennyiriri 1–3, nga mu mwaka gwa 77 nga Kristo tannazaalibwa; olunyiriri 4, nga mu mwaka gwa 91–77 nga Kristo tannazaalibwa; era n’ennyiriri 5–39, nga mu mwaka gwa 91 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano olwatuuka Aluma bwe yali nga atambula okuva mu nsi y’e Gidiyoni mu bukiika obwa ddyo, okudda mu nsi ey’e Manti, laba, ekyamwewuunyisa, yasisinkagana ne batabani ba Mosiya abaali batambula nga boolekera ensi ey’e Zalakemula.
2 Era kaakano batabani ba Mosiya bano baali ne Aluma mu kiseera malayika we yasookera okumulabikira; n’olwekyo Aluma yasanyuka byansusso okulaba baganda be; era ekyayongera ku ssanyu lye, baali bakyali baganda be mu Mukama; weewaawo, era baali beyongedde okunywera mu kumanya amazima; kubanga baali basajja abategeera obulungi era nga baali beekennenyezza ebyawandiikibwa n’obunyiikivu, nti basobole okumanya ekigambo kya Katonda.
3 Naye kino si kye kyokka; baali beewaddeyo mu kusaba okuyitiridde, era n’okusiiba; n’olwekyo baalina omwoyo ogw’obunnabbi, era n’omwoyo ogw’okubikkulirwa, era bwe baayigirizanga, bayigirizanga n’amaanyi n’obuyinza bwa Katonda.
4 Era baali bayigirizza ekigambo kya Katonda okumala ebbanga lya myaka kkumi n’ena mu Balamani, nga baali bafunye obuwanguzi bungi mu kuleeta bangi eri okumanya amazima; weewaawo, olw’amaanyi g’ebigambo byabwe bangi baaleetebwa mu maaso g’ekyoto kya Katonda, okukoowoola erinnya lye era n’okwatula ebibi byabwe mu maaso ge.
5 Kaakano zino ze mbeera zebasisinkana mu ŋŋendo zaabwe, kubanga baalina ebibonoobono ebingi; babonaabona nnyo, byombi mu mubiri era ne mu birowoozo, gamba ng’enjala, ennyonta n’obukoowu, era n’okukola ennyo mu mwoyo.
6 Kaakano zino ze zaali entambula zaabwe: nga baali balesse kitaabwe, Mosiya, mu mwaka ogw’asooka ogw’abalamuzi; nga baali bagaanye obwakabaka kitaabwe bwe yali ayagala okubakwasa, era nga eno ye yali endowooza y’abantu;
7 Wabula baava mu nsi ey’e Zalakemula, ne batwala ebitala byabwe, n’amafumu gaabwe, n’emitego gyabwe, n’obusaale bwabwe, n’envuumuulo zabwe; era kino bakikola basobole okwetuusako emmere nga bali mu lukoola.
8 Era bwe batyo bwe bagenda mu lukoola n’omuwendo gw’abo be baali balonze, okugenda mu nsi ya Neefi, okubuulira ekigambo kya Katonda eri Abalamani.
9 Era olwatuuka baatambula ennaku nnyingi mu lukoola, era ne basiiba nnyo n’okusaba ennyo Mukama asobole okubawa ekitundu ku Mwoyo we okugenda nabo, era abeere nabo, basobole okuba ekikozesebwa mu mikono gya Katonda okuleeta, singa kyali kisoboka, baganda baabwe, Abalamani, eri okumanya amazima, eri okumanya okw’obubi obw’ennono za bajjajjaabwe, ezitaali ntuufu.
10 Era olwatuuka Mukama y’abakyalira n’omwoyo we, era n’abagamba nti: Mukubagizibwe. Era ne bakubagizibwa.
11 Era Mukama n’abagamba ate: Mugende mu Balamani, baganda bammwe, era muteekewo ekigambo kyange; naye nga mujja kuba bagumiikiriza mu buyinike obugundidde n’ebibonoobono, mulyoke mulage ebyokulabirako ebirungi gye bali mu nze, era nja ku bafuula ekikozesebwa mu mikono gyange ekinaavaamu okulokolebwa okw’abantu abangi.
12 Era olwatuuka emitima gya batabani ba Mosiya, era n’abo abaali nabo, gy’afuna obuvumu okugenda eri Abalamani okulangirira gye bali ekigambo kya Katonda.
13 Era olwatuuka bwe baali nga batuuse mu nsalo z’ensi ey’Abalamani, beeyawulamu era ne bagenda buli omu n’ayawukana ne munne, nga beesiga Mukama nti baliddamu nate okusisinkana ku nkomerero ey’amakungula gaabwe; kubanga bakkiriza nti omulimu gwe baali beewaddeyo okukola gwali mukulu.
14 Era kikakafu ddala gwali mukulu nnyo, kubanga baali beewaddeyo okubuulira ekigambo kya Katonda eri abantu abataamufu era abakalubo era abantu abakambwe; abantu abasanyukiranga mu kutemula Abaneefi, n’okubabba era n’okubanyaga; era nga emitima gyabwe gyali giteekeddwa ku bya bugagga, oba ku zaabu ne ffeeza, era n’amayinja ag’omuwendo; naye nga ate bafubanga okufuna ebintu bino nga batemula era n’okunyaga, nti bo baleme okubikolerera n’emikono gyabwe.
15 Bwe batyo baali bantu bagayaavu nnyo, bangi ku bo baasinzanga ebifaananyi, era ekikolimo kya Katonda kyali kibasseeko olw’ennono za bajjajjaabwe; wadde nga ebisuubizo bya Mukama byali bibaweereddwa ku bukwakkulizo obw’okwenenya.
16 N’olwekyo, eno ye yali ensonga batabani ba Mosiya okwewaayo okukola omulimu, nti oba oli awo basobole okubaleeta eri okwenenya; nti oba oli awo baali basobola okubaleetera okumanya enteekateeka y’okununulibwa.
17 N’olwekyo beeyawulamu buli omu okuva ku mulala, era ne bagenda mu bo, buli muntu nga ali yekka, okusinziira ku kigambo n’amaanyi ga Katonda ebyabaweebwa.
18 Kaakano Amoni nga ye yali omukulu mu bo, oba mu ngeri endala yabaluŋŋamya, era n’abalekawo, oluvannyuma lw’okubawa omukisa okusinziira ku buweereza bwabwe obw’enjawulo, bwe yali nga amaze okubamanyisa ekigambo kya Katonda, oba okubaluŋŋamya nga tanaba kugenda. Era bwe batyo bagenda ku ŋŋendo zabwe eziwerako mu nsi yonna.
19 Era Amoni n’agenda mu nsi ya Yisimayiri, ensi eyitibwa erinnya lya batabani ba Yisimayiri, nga nabo bafuuka Balamani.
20 Era Amoni bwe yali nga ayingira mu nsi ya Yisimayiri, Abalamani ne bamutwala era ne bamusiba, nga bwe yali empisa yaabwe okusiba Abaneefi bonna abaagwanga mu mikono gyabwe, era ne babatwala mu maaso ga kabaka; era bwe kityo kyalekebwanga eri okusiima kwa kabaka okubatta, oba okubasigaza mu buwambe, oba okubasuula mu kkomera, oba okubagoba okuva mu nsi ye, okusinziira ku kwagala kwe n’okusiima.
21 Era bw’atyo Amoni bwe yatwalibwa mu maaso ga kabaka eyali mu buyinza mu nsi ya Yisimayiri; era erinnya lye lyali Lamoni; era yali muzzukulu wa Yisimayiri.
22 Era kabaka n’abuuza Amoni oba nga kwali kwagala kwe okubeera mu nsi mu Balamani, oba mu bantu be.
23 Era Amoni n’amugamba: Weewaawo, njayaayaana okubeera mu bantu bano okumala akabanga akawerako; oba oli awo okutuusa ku lunaku lwe ndifa.
24 Era olwatuuka Kabaka Lamoni yali musanyufu nnyo eri Amoni, era n’alagira emiguwa gye okusumululwa; era yayagala Amoni atwale omu ku bawala be amufuule mukazi we.
25 Naye Amoni n’amugamba: Nedda, wabula nja kubeera muweereza wo. N’olwekyo Amoni yafuuka omuweereza wa kabaka Lamoni. Era olwatuuka nti yateekebwa mu baweereza abalala okulabirira ebisibo bya Lamoni, okusinziira ku mpisa y’Abalamani.
26 Era oluvannyuma lw’okuweereza kabaka ennaku ssatu, bwe yali n’abaweereza Abalamani nga bagenda n’ebisibo byabwe mu kifo eky’amazzi, ekyayitibwanga amazzi ga Sebusi, era Abalamani bonna baleetanga wano ebisibo byabwe, bisobole okunywa ku mazzi;
27 N’olwekyo, Amoni n’abaweereza ba kabaka bwe baali nga bagoba ebisibo byabwe okugenda mu kifo kino eky’amazzi, laba, omuwendo ogutamanyikiddwa ogw’Abalamani, abaali n’ebisibo byabwe okubiwa amazzi, baayimirira ne basaasaanya ebisibo bya Amoni n’abaweereza ba kabaka, era baabisaasaanyiza ddala mu ngeri nti byaddukira mu makubo mangi.
28 Kaakano abaweereza ba kabaka baatandika okwemulugunya, nga bagamba: Kaakano kabaka wa kututta, nga bwe yakola baganda baffe kubanga ebisibo byabwe byali bisaasaanye olw’obubi bw’abasajja bano. Era ne batandika okukaaba ekisukkiridde, nga bagamba: Laba, ebisibo byaffe byasaasaanye dda.
29 Kaakano baakaaba olw’okutya okuttibwa. Kaakano Amoni bwe yalaba kino omutima gwe gwagejja munda mu ye olw’essanyu; kubanga, yagamba, nja kulaga amaanyi gange eri bano abaweereza bannange, oba amaanyi agali mu nze, mu kukomyawo ebisibo bino eri kabaka, nsobole okuwangula emitima gy’abaweereza bannange bano, nsobole okubaleetera okukkiririza mu bigambo byange.
30 Era kaakano, bino byali birowoozo bya Amoni, bwe yalaba ebibonoobono by’abo be yatwala okuba baganda be.
31 Era olwatuuka n’abawaaniriza n’ebigambo bye, ng’agamba: Baganda bange, temuba na kweraliikirira era katugende tunoonye ebisibo, era tujja kubikuŋŋaanya wamu era tubikomyewo mu kifo eky’amazzi; era bwe tutyo tujja kukuumira kabaka ebisibo aleme okututta.
32 Era olwatuuka ne bagenda okunoonya ebisibo, era ne bagoberera Amoni, era baakozesa obwangu bungi era ne bakulemberamu ebisibo bya kabaka, era babikuŋŋaanya wamu nate mu kifo eky’amazzi.
33 Era abasajja abo baddamu nate okuyimirira okusaasaanya ebisibo byabwe; naye Amoni n’agamba baganda be: Muzingize ebisibo okubyetoloola bireme okudduka; era nze ngende nnwanagane n’abasajja bano abasaasaanya ebisibo byaffe.
34 N’olwekyo, baakola nga Amoni bwe yabalagira, n’agenda n’ayimirira okulwanagana n’abo abaali bayimiridde okulinana amazzi ga Sebusi; era baali mu muwendo ogutaali mutono.
35 N’olwekyo tebaatya Amoni, kubanga baalowooza nti omu ku basajja baabwe yali asobola okumutta okusinziira kusiima kwabwe, kubanga tebaamanya nti Mukama yali asuubizza Mosiya nti yali ajja kununula batabani be okuva mu mikono gyabwe; baali tebaamanyi wadde ekintu kyonna ekikwata ku Mukama; n’olwekyo kyebaava basanyukira mu kusaanyaawo baganda baabwe; era olw’ensonga eno baayimirira okusaasaanya ebisibo bya kabaka.
36 Naye Amoni yayimirira n’atandika okubakasukira amayinja n’envuumuulo ye; weewaawo, n’amaanyi mangi yakasuka amayinja mu bo; era bw’atyo n’atta omuwendo ogutaali mugere ku bo mu ngeri nti batandika okwewuunya amaanyi ge; wadde nga kyali kityo baali banyiivu olw’okuttibwa kwa baganda baabwe, era baali bamalirivu nti yalina okufa; n’olwekyo, bwe baalaba nga tebasobola kumukuba mayinja gaabwe, basembera n’embukuuli okumutta.
37 Naye laba, buli musajja eyayimusa embukuuli ye okukuba Amoni, yabatemako emikono gyabwe n’ekitala kye; kubanga yaziyizanga ebyamukubwanga ng’atema emikono gyabwe n’obwogi obw’ekitala kye, mu ngeri nti batandika okwewuunya, era ne batandika n’okumudduka; weewaawo, era tebaali batono mu muwendo; era n’abaleetera okudduka olw’amaanyi ag’omukono gwe.
38 Kaakano mukaaga ku bo baali bagudde n’envuumuulo, naye tewali n’omu gwe yatta okuggyako omukulembeze waabwe n’ekitala kye; era y’atemako emikono gyabwe mingi bwe gyali giwanikiddwa okumulwannyisa, era tegyali mitono.
39 Era bwe yali nga amaze okubagobera ewala, y’addayo era ne banywesa ebisibo byabwe era ne babizzaayo mu ddundiro lya kabaka, era olwo ne bayingira eri kabaka, nga basitudde emikono egyali gitemeddwako ekitala kya Amoni, egy’abo abaali banoonya okumutta; era ne gitwalibwa munda eri kabaka olw’obujulizi bw’ebintu bye baali bakoze.