Scriptures
2 Neefi 9


Essuula 9

Yakobo annyonnyola nti Abayudaaya bajja kuŋŋaanyizibwa mu nsi zaabwe zonna ensuubize; Omutango gusasulira omuntu okuva mu kugwa mu kibi; Emibiri gy’abafu gijja kusituka okuva mu ntana, era n’emyoyo gyagyo okuva mu ggeyeena era ne mu kifo eky’okwesiima; Bajja kulamulwa; Omutango gutaasa okuva mu kufa, ggeyeena, setaani, era n’okubonyaabonyezebwa okutakoma; Abatuukirivu bakulokolebwa mu bwakabaka bwa Katonda; Ebibonerezo by’okwonoona bitekebwaawo; Omutukuvu wa Isiraeri ye mukuumi w’omulyango. Nga 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, nsomye ebintu bino nti musobole okumanya ku bikwata ku ndagaano za Mukama ezo zalagaanye n’ennyumba ya Isiraeri yonna.

2 Ezo zayogedde eri Abayudaaya, n’akamwa ka ba nnabbi be abatuukirivu, n’okuviira ddala mu ntandikwa okudda wansi, okuva ku mulembe okudda ku mulembe, okutuusa ekiseera lwe kinajja nti balikomezebwaawo eri ekkanisa ey’amazima era n’ekisibo kya Katonda; bwe bali kuŋŋaanyizibwa awaka ku ttaka ly’obusika bwabwe, era nga balinywezebwa mu nsi zaabwe zonna ensuubize.

3 Mulabe, baganda bange abaagalwa, njogera gye muli ebintu bino nti mulyooke mujaganye, era muyimuse waggulu emitwe gyammwe emirembe gyonna, olw’emikisa egyo Mukama Katonda gy’aliwa abaana bammwe.

4 Kubanga mmanyi nti mmwe munoonyezza bingi, bangi ku mmwe, okumanya ebintu ebirijja; n’olwekyo mmanyi nti mmwe mumanyi nti omubiri gwaffe gulina okwonooneka era n’okufa; wabula, mu mibiri gyaffe tuliraba Katonda.

5 Weewaawo, mmanyi nti mmwe mumanyi nti mu mubiri alyeraga eri abo abali e Yerusaalemi, eyo gye twava; kubanga kisaanidde nti kibeere mu bo; kubanga kigwanidde Omutonzi omukulu okukkiriza okufugibwa omuntu mu mubiri, era afe ku lw’abantu bonna, nti abantu bonna basobole okubeera wansi w’obufuzi bwe.

6 Kubanga nga okufa bwe kwajja eri bantu bonna, okutuukiriza enteekateeka ey’ekisa ey’Omutonzi Omukulu, wateekwa okubaawo amaanyi ag’okuzuukira, era n’okuzuukira nga kulina okujja eri omuntu olw’ensonga ey’okugwa mu kibi; era okugwa mu kibi kwajja olw’ensonga y’ekyonoono; era olw’okuba abantu baagwa, basalibwaako okuva mu maaso ga Mukama.

7 N’olwekyo, wateekwa okubaawo omutango ogutaliiko kkomo; okuggyako nga guli omutango ogutaliiko kkomo okuvunda kuno tekusobola kwambazibwa butavunda. N’olwekyo, okulamulwa okwasooka okwajja eri omuntu mu buli ngeri yonna kwalina okubeerawo ekiseera ekitaggwaawo. Era bwe kiba bwe kityo, omubiri guno gwandiganzikiddwa wansi mu ttaka ne guvunda era n’okuseebengerera, obutaddamu kusituka nate.

8 Ayi amagezi ga Katonda, okusaasira kwe n’ekisa kye! Kubanga laba, bwe kiba ng’omubiri tegujja kuddamu kuzuukira nate emyoyo gyaffe girina okuffugibwa oyo malayika eyagwa okuva mu maaso ga Katonda ow’olubeerera, era ey’afuuka setaani, obutaddamu kusituka nate.

9 Era emyoyo gyaffe gyalina okuba nga gyafuuka nga ye, era ne tufuuka emyoyo emibi, bamalayika eri setaani, okuggalirwa ebweeru w’okubeerawo kwa Katonda waffe, era n’okusigala ne taata ow’obulimba, mu nnaku, okufaanana nga ye; weewaawo, eri ekitonde ekyo ekyasendasenda bazadde baffe abasooka, eyeefuulafuula asobole okufaanana nga malayika ow’ekitangaala, era n’asikiriza abaana b’abantu eri emikkago egy’ekyama egy’ettemu era n’engeri zonna ez’emirimu egy’ekyama egy’ekizikiza.

10 Ayi obulungi bwa Katonda waffe nga bukulu, oyo ateekateeka ekkubo ery’okutoloka kwaffe okuva mu buyinza bw’ekikulekule kino eky’entiisa; weewaawo, ekikulekule ekyo, kwe kufa ne ggeyeena, bye mpita okufa okw’omubiri, era n’okufa okw’Omwoyo.

11 Era olw’ekkubo ery’okusumululwa erya Katonda waffe, Omutukuvu wa Isiraeri, okufa kuno, kwe njogeddeko, nga kwe kw’omubiri, kuliwaayo abafu bakwo; nga okufa okwo y’entaana.

12 Era okufa kuno kwe njogeddeko, okwo nga kwe kufa okw’omwoyo, kuliwaayo abafu baakwo; nga okufa okw’omwoyo okwo ye ggeyeena; n’olwekyo, okufa ne ggeyeena birina okuwaayo abafu babyo, era ggeyeena erina okuwaayo emyoyo gyayo egy’awambibwa, era n’entaana erina okuwaayo emibiri gyayo egy’awambibwa, era emibiri n’emyoyo gy’abantu bijja kuzzibwawo kimu eri kinaakyo; era bwe kiri okusinziira ku maanyi g’okuzuukira ag’Omutukuvu wa Isiraeri.

13 Ayi enteekateeka ya Katonda waffe nga ya muwendo nnyo! Kubanga ku luuyi olulala, olusuku lwa Katonda olw’okwesiima lulina okuwaayo emyoyo gy’abatuukirivu, era n’entaana okuwayo omubiri gw’abatuukirivu; era n’omwoyo era n’omubiri bizzibwa bujja nate okufuuka ekimu nate, era abantu bonna bafuuka abatavunda, era abatafa, era emyoyo emiramu, nga balina okumanya okutuukiridde nga ffe mu mubiri, okuggyako nti okumanya kwaffe kujja kuba kutuukiridde.

14 N’olwekyo, tuliba n’okumanya okutuukiridde okw’omusango gwaffe gwonna, era n’obutali bulongoofu bwaffe, era n’obukunya bwaffe; era n’abatuukirivu baliba n’okumanya okutuukiridde okw’essanyu lyabwe, era n’obutuukirivu bwabwe, nga bambaziddwa obulongoofu, weewaawo, ddala n’omunagiro ogw’obutuukirivu.

15 Era kinatuukirira nti abantu bonna bwe baliba nga bavudde mu kufa kuno okusooka okutuuka mu bulamu, mu ngeri nti baliba nga bafuuse abatafa, balina okulabikako mu maaso g’entebe y’obulamuzi y’Omutukuvu wa Isiraeri; era oluvannyuma okulamula ne kutuuka, era oluvannyuma balina okulamulwa okusinziira ku kulamula okutukuvu okwa Katonda nga bwe kuli.

16 Era mu bukakafu, nga Mukama bw’ali omulamu, kubanga Mukama Katonda akyogedde, era kye kigambo kye eky’olubeerera, ekitayinza kuggwaawo, nti abo abatuukirivu balisigala batuukirivu, era n’abo abacaafu balisigala bacaafu; n’olwekyo, abo abacaafu ye setaani ne bamalayika be; era baligenda mu muliro ogw’olubeerera, ogwabategekerwa; era okubonyaabonyezebwa kwabwe kuli ng’ennyanja ey’omuliro n’obuganga, ennimi ez’omuliro ezo ezibumbujja emirembe n’emirembe era tezirina kkomo.

17 Ayi obukulu n’obwenkanya bwa Katonda waffe! Kubanga ye atuukiriza ebigambo bye byonna, era bivudde mu kamwa ke, era n’etteeka lye lirina okutuukirizibwa.

18 Naye, laba, abatuukirivu, abatukuvu b’Omutukuvu wa Isiraeri, abo abakkiririzza mu Mutukuvu wa Isiraeri, abo abaagumiikiriza emisaalaba gy’ensi, era ne baziimuula okuswazibwa kwagyo, balisikira obwakabaka bwa Katonda, obwabategekerwa okuviira ddala ku musingi ogw’ensi, era n’essanyu lyabwe liriba lijjuvu emirembe gyonna.

19 Ayi obukulu bw’okusaasira kwa Katonda waffe, Omutukuvu wa Isiraeri! Kubanga anunuula abatuukirivu okuva eri ekikulekule ekyo eky’entiisa setaani, era n’okufa, era ne ggeyeena, era n’ennyanja eyo ey’omuliro n’obuganga, nga okwo kwe kubonyaabonyezebwa okutakoma.

20 Ayi nga bukulu obutuukirivu bwa Katonda waffe! Kubanga ye amanyi ebintu byonna, era tewali kintu kyonna kya tamanyi.

21 Era ajja mu nsi nti asobole okununula abantu bonna singa banaawuliriza eddoboozi lye; kubanga laba, agumiikiriza obulumi bw’abantu bonna, weewaawo, obulumi bwa buli kintu kyonna ekiramu, wamu abasajja, abakazi, era n’abaana, abo abali mu maka ga Adamu.

22 Era kino akigumiikiriza nti okuzuukira kusobole okutuuka ku bantu bonna, olwo bonna basobole okuyimirira mu maaso ge ku lunaku olukulu era olw’okulamulwa.

23 Era alagira abantu bonna nti balina okwenenya, era babatizibwe mu linnya lye, nga balina okukkiriza okutuukiridde mu Mutukuvu wa Isiraeri, oba tebasobola kulokolebwa mu bwakabaka bwa Katonda.

24 Era bwe bateenenye era n’okukkiririza mu linnya lye, era babatizibwe mu linnya lye, era ne bagumiikiriza okutuuka ku nkomerero, bajja kkomezebwa; kubanga Mukama Katonda, Omutukuvu wa Isiraeri, y’akyogedde.

25 N’olwekyo, awadde etteeka; era awatali tteeka liweerebbwa tewali kibonerezo; era awatali kibonerezo tewali kuvunaanibwa; era awatali kuvunaanibwa okusaasira kw’Omutukuvu wa Isiraeri tekubavunaanyizibwako, olw’omutango; kubanga banunulibwa n’amaanyi ge.

26 Kubanga omutango gumatiza ebyetaago by’obwenkanya eri abo bonna abatawereddwa tteeka, nti awo banunulibwe okuva eri ekikulekule ekyo eky’entiisa, okufa era ne ggeyeena, era ne setaani, era n’ennyanja ey’omuliro n’obuganga, ebyo kwe kubonaabona okutakoma; era bakomezebwawo eri Katonda oyo eyabawa omukka gwe bassa, oyo ye Mutukuvu wa Isiraeri.

27 Naye zimusanze oyo etteeka gweliweereddwa, weewaawo, oyo alina ebiragiro bya Katonda byonna, nga okufaananako nga ffe, era oyo abisobya, era n’oyo ayonoona ennaku z’okugezesebwa kwe, kubanga embeera ye ya ntiisa!

28 Ayi enteekateeka eyo ey’obukuusa ey’omubi! Wattu obutaliimu, era n’obunafu mu mwoyo ne mu mubiri, era n’obusirusiru bw’abantu! Bwe babeera abayivu balowooza nti bagezi, era tebawuliriza kubuulirirwa kwa Katonda, kubanga bakuteeka ku bbali, nga balowooza nti bamanyi, n’olwekyo, amagezi gaabwe busirusiru era tegabagasa. Era balizikirira.

29 Naye okubeera omuyivu kirungi singa bawuliriza okubuulirirwa kwa Katonda.

30 Naye zibasanze abo abagagga, abo abagagga okusinziira ku bintu by’ensi. Kubanga olw’okuba bagagga banyooma abaavu, era ne bayigganya abawombeefu, era n’emitima gyabwe ne giba ku by’obugagga byabwe; n’olwekyo, eky’obugagga kyabwe ye Katonda waabwe. Era laba, eky’obugagga kyabwe kirizikirira wamu nabo.

31 Era zibasanze abo bakiggala abatajja kuwulira; kubanga balizikirira.

32 Zibasanze abo abazibe b’amaaso abatajja kulaba; kubanga nabo balizikirira nate.

33 Zibasanze abo abatali bakomole mu mitima, kubanga okumanya obubi bwabwe kulibakuba ku lunaku olusembayo.

34 Zimusanze oy’omulimba, kubanga alikassukibwa wansi mu ggeyeena.

35 Zimusanze oyo omutemu atta mu bugenderevu, kubanga naye alifa.

36 Zibasanze abo abakola ebikolwa eby’obwenzi, kubanga balikassukibwa wansi mu ggeyeena.

37 Weewaawo, zibasanze abo abasinza ebifaananyi, kubanga setaani w’emyoyo emibi abisanyukiramu.

38 Era, mu bufunze, zibasanze abo bonna abafiira mu bibi byabwe; kubanga baliddayo eri Katonda, era ne balaba obwenyi bwe, era ne basigala mu bibi byabwe.

39 Ayi, baganda bange abaagalwa, mujjukire obubi mu kwonoona eri oyo Katonda Omutukuvu, era n’obubi obw’okwewaayo eri okuseendebwaseendebwa kw’oyo omukuusa. Mujjukire, okubeera n’endowooza ey’omubiri kwe kufa, era okubeera n’endowooza ey’eby’omwoyo bwe bulamu obutaggwaawo.

40 Ayi, baganda bange abaagalwa, muwe okutu ebigambo byange. Mujjukire obukulu bw’Omutukuvu wa Isiraeri. Temugamba nti njogedde ebintu ebikalubo eby’okubavunaana; kubanga mmwe bwe mukikola, mujja kuvumirira amazima; kubanga nze njogedde ebigambo by’Omutonzi wammwe. Nkimanyi nti ebigambo eby’amazima bikalubo nga bikoontana n’obutali bulongoofu bwonna; naye abatuukirivu tebabitya, kubanga baagala amazima era tegabakankanya.

41 Ayi olwo, baganda bange abaagalwa, mujje eri Mukama, oyo Omutukuvu. Mujjukire nti amakubo ge ga butuukirivu. Laba, ekkubo eri omuntu ffunda, naye lirambikibbwa mu bwoleko obugolokofu mu maaso ge, era omukuumi wa waankaaki ye Mutukuvu wa Isiraeri; era eyo takozesa muweereza yenna; era tewali ngeri ndala okuggyako waankaaki; kubanga tayinza kulimbibwa, kubanga Mukama Katonda lye linnya lye.

42 Era oyo yena akonkona, alimugulira; era n’abagezi, wamu n’abayivu, era n’abo abagagga, abeegulumiza olw’okuyiga kwabwe, era n’okutegeera kwaabwe, era n’obugagga bwabwe; weewaawo, beebo banyooma; era okuggyako nga balisuula ebintu bino, era ne beetwala okuba abasiru mu maaso ga Katonda, era ne bakkakkana mu bwetoowaze, tajja kubaggulirawo.

43 Naye ebintu by’abagezi era n’abatetenkanya birikwekebwa okuva gye bali emirembe gyonna; weewaawo, essanyu eryo eritegekeddwa abatukuvu.

44 Wattu, baganda bange abaagalwa, mujjukire ebigambo byange. Laba, nneyambula ebyambalo byange, era ne mbyekunkumula mu maaso gammwe; nsaba katonda w’obulokozi bwange antunuulire n’eriiso lye erinoonya byonna; n’olwekyo, mmwe mulimanya ku lunaku olusembayo, abantu bonna bwe baliba nga balamulwa olw’ebikolwa byabwe, nti Katonda wa Isiraeri yalaba nti nnakunkumula ebibi byammwe okuva ku mwoyo gwange, era nti nnyimirira n’okumasamasa mu maaso ge, era nzigyiddwako omusaayi gwammwe.

45 Ayi, baganda bange abaagalwa, muleke ebibi byammwe; mwekunkumuleko enjegere z’oyo ayinza okubasiba mu bwangu; mujje eri Katonda oyo ye lwazi lw’obulokozi bwammwe.

46 Muteeketeeke emyoyo gyammwe olw’olunaku olwo olw’ekitalo obwenkanya lwe bunaaweebwa eri abatuukirivu, ddala olunaku olw’okulamulwa, nti mmwe muleme okwenyamira n’okutya okubi ennyo; muleme okujjukira wegubasingira okwekubagizanga mu kutya; era awo musonyiwale okwasanguza nti: Kutukuvu, kutukuvu okulamula kwo kwonna, Ayi Mukama Katonda Omuyinza w’ebintu byonna; naye mmanyi wegunsiingira; nnasobya etteeka lyo, era okusobya kwange; era ne setaani anfunye, nti ndi muyiggo eri ennaku ye ey’entiisa.

47 Naye mulabe, baganda bange, ddala kineetaagisa nze okubazuukusa eri amazima agakaawa ag’ebintu bino? Nnanditeganyiza emyoyo gyammwe singa ebirowoozo byammwe bibadde birongoofu? Nnandibadde mwerufu gye muli okusinziira ku bwerufu bw’amazima nga bwe gali singa mubadde mwasumululwa okuva mu kibi?

48 Laba, singa mmwe mubadde batuukirivu nnandyogedde gye muli ku butuukirivu; naye nga mmwe bwe mutali batuukirivu, era mmwe nga mundaba okuba omusomesa, kyandiba nga kyetaagisa nze okubayigiriza ebiva mu kibi.

49 Laba, emmeeme yange ekyawa ekibi, era omutima gwange gusanyukira mu butuukirivu; era nja kutendereza erinnya ettukuvu erya Katonda wange.

50 Mujje, baganda bange, buli oyo yena alina ennyonta, mujje mmwe eri amazzi; era n’oyo atalina ssente, mujje mugule era n’okulya; weewaawo, mujje mugule omwenge n’amata awatali ssente era awatali muwendo gwa nsiimbi.

51 N’olwekyo, tosaasaanya ssente olw’ekyo ekitali kya mugaso, wadde emirimu gyammwe olw’ekyo ekitasobola kkumatiza. Mumpulirize n’obwegendereza, era mujjukire ebigambo bye njogedde; era mujje eri Omutukuvu wa Isiraeri, era mulye kw’ekyo ekitonooneka, wadde okusobola kwonoonebwa, era leka emmeeme yo esanyukire mu kugejja.

52 Mulabe, baganda bange abaagalwa, mujjukire ebigambo bya Katonda wammwe; musabeenga gyali entakera emisana, era mwebaze nga erinnya lye ettukuvu ekiro. Muleke emitima gyammwe gisanyuke.

53 Era laba obukulu bw’endagaano za Mukama, era nga bukulu obwetoowaze bwe eri abaana b’abantu; era olw’obukulu bwe, era n’ekisa kye wamu n’okusaasira kwe, atusuubizza nti ezzadde lyaffe teririzikirizibwa ddala, okusinziira ku mubiri, wabula nti ajja kubakuuma; era ne mu mirembe egijja balifuuka ettabi ery’obutuukirivu eri ennyumba ya Isiraeri.

54 Era kaakano, baganda bange, nnandyogedde bingi gye muli; naye enkya nja kulangirira gye muli ebigambo byange ebisigadde. Amiina.