Essuula 31
Neefi ayogera lwaki Kristo yabatizibwa; Abantu balina okugoberera Kristo, babatizibwe, bafune Omwoyo Omutukuvu, n’okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero olwo balokolebwe; Okwenenya n’okubatizibwa gy’emiryango gy’ekkubo ery’akanyigo era effunda; Obulamu obw’olubeerera bujja eri abo abakuuma ebiragiro oluvannyuma lw’okubatizibwa. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano nze, Neefi, nkola okumaliriza kw’obunnabbi bwange gye muli, baganda bange abaagalwa. Era siyinza kuwandiika okuggyako ebintu ebitono, bye mmanyi nti mazima ddala birina okubaawo; era siyinza kuwandiika okuggyako ebigambo ebitonotono ebya muganda wange Yakobo.
2 N’olwekyo, ebintu bye mpandiise bimala, okuggyako ebigambo bitonotono bye nnina okwogera ebikwata ku njigiriza ya Kristo; n’olwekyo, nja kwogera gye muli ebyangu okutegeera, okusinziira ku bwangu bw’eby’obunnabbi bwange.
3 Kubanga emmeeme yange esanyukira obwerufu; kubanga mu ngeri eno bw’atyo Mukama Katonda bw’akola eri abaana b’abantu. Kubanga Mukama Katonda awa ekitangaala eri okutegeera; kubanga ayogera eri abantu okusinziira ku nnimi zaabwe, bwe batyo ne bategeera.
4 N’olwekyo, nandyaagadde mmwe mujjukire nti njogedde gye muli ku bikwata ku nnabbi oyo Mukama gwe yandaga, oyo alina okubatiza Omwana gw’endiga gwa Katonda, oyo alina okuggyawo ebibi by’ensi.
5 Era kaakano, obanga Omwana gw’endiga gwa Katonda, ye nga bw’ali omutukuvu, kyali kimwetaagisa okubatizibwa n’amazzi, okutuukiriza obutuukirivu bwonna, Ayi olwo, tulina bwetaavu bungi ki, nga tetuli batuukirivu, okubatizibwa, weewaawo, n’amazzi!
6 Era kaakano, nandibasabye, baganda bange abaagalwa, mu ngeri ki Omwana gw’endiga gwa Katonda mmwe gwa tuukiriza obutuukirivu bwonna mu kubatizibwa n’amazzi?
7 Temumanyi mmwe nti yali mutukuvu? Naye wadde nga yali mutukuvu, yalaga eri abaana b’abantu nti, okusinziira ku mubiri yeetoowaza mu maaso ga Kitaffe, era najulira eri Kitaffe nti ajja kumugondera mu kukuuma ebiragiro bye.
8 N’olwekyo, oluvannyuma lw’okubatizibwa n’amazzi Omwoyo Omutukuvu y’akka ku ye mu ngeri y’ejjiba.
9 Era nate, kiraga eri abaana b’abantu akanyigo ak’ekkubo, era n’obufunda bwa wankaaki, mmwe balina okuyingirira, ye ng’amaze okuteekawo ekyokulabirako mu maaso gaabwe.
10 Era n’ayogera eri abaana b’abantu nti: Mungoberere mmwe. N’olwekyo, baganda bange abaagalwa, tuyinza okugoberera Yesu okuggyako nga tuli beetegefu okukuuma ebiragiro bya Kitaffe?
11 Era Kitaffe n’agamba nti: Mwenenye mmwe, mwenenye mmwe, mubatizibwe mu linnya lya Omwana wange omwagalwa.
12 Era nate, eddoboozi ly’Omwana ne lijja gye ndi, nga ligamba nti: Oyo abatizibwa mu linnya lyange, eri oyo Kitaffe gw’anaawa Omwoyo Omutukuvu, okufaananako nga nze; n’olwekyo, mungoberere, era mukole ebintu bye mundabye nga nkola.
13 N’olwekyo, baganda bange abaagalwa, nkimanyi nti mmwe bwe munagoberera Omwana, n’obumalirivu obujjuvu mu mutima, nga temukola bunnanfuusi era n’obulimba mu maaso ga Katonda, wabula n’ekigendererwa ekya nnamaddala, nga mwenenya ebibi byammwe, nga mujulira eri Kitaffe nti muli beteefuteefu okuyitibwa erinnya lya Kristo, nga mubatizibwa; weewaawo, nga mugoberera Mukama wammwe era Omulokozi wammwe wansi mu mazzi, okusinziira ku kigambo kye, laba, olwo mmwe mulifuna Omwoyo Omutukuvu; weewaawo, olwo ne wajja okubatizibwa okw’omuliro era n’okw’Omwoyo Omutukuvu; era awo mmwe musobole okwogera n’olulimi lwa bamalayika, era mulekaane amatendo eri Omutukuvu wa Isiraeri.
14 Naye laba, baganda bange abaagalwa, bwe lityo eddoboozi ly’Omwana bwe lyajja gye ndi, nga ligamba: Oluvannyuma nga mumaze okwenenya ebibi byammwe, era nga mujjulidde eri Kitaffe nti muli beteefuteefu okukuuma ebiragiro byange, n’okubatizibwa okw’amazzi, era nga mufunye okubatizibwa okw’omuliro era n’okw’Omwoyo Omutukuvu, era nga musobola okwogera n’olulimi oluggya, weewaawo, ddala n’olulimi lwa bamalayika, era oluvannyuma lwa kino ne munnegaana, kyandibadde kisingako gye muli singa mmwe temwamanya.
15 Era nawulira eddoboozi eriva ewa Kitange nga lyogera nti: Weewaawo, ebigambo by’Omwagalwa wange bya mazima era bya bwesigwa. Oyo yenna agumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero, alirokolebwa.
16 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, mmanyi kino nti okuggyako nga omuntu aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero, ng’agoberera ekyokulabirako ky’Omwana wa Katonda omulamu, tayinza kulokolebwa.
17 N’olwekyo, mukole ebintu ebyo bye mbagambye bye ndabye nti Mukama wammwe era Omununuzi wammwe byalina okukola; kubanga, olw’ensonga eno kyebivudde biragibwa gye ndi, nti mmwe mulyoke mumanye omulyango ogwo gwe mulina okuyitamu. Kubanga omulyango ogwo mmwe gwe mulina okuyitamu kwe kwenenya era n’okubatizibwa n’amazzi; era olwo ne wajja okusonyiyibwa kw’ebibi byammwe okuyita mu muliro era n’Omwoyo Omutukuvu.
18 Era awo muli mu kkubo lino ery’akanyigo era effunda erituusa mu bulamu obw’olubeerera; weewaawo, mmwe muyingidde munda okuyita mu mulyango; mmwe mukoze okusinziira ku biragiro bya Kitaffe era n’Omwana; era ne muweebwa Omwoyo Omutukuvu, ajulira Kitaffe era n’Omwana, okutuukiriza ekisuubizo ekyo kyakoze, nti mmwe bwe munaayingira okuyita mu kkubo mmwe munaafuna.
19 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, oluvannyuma nga mumaze okuyingira mu kkubo lino ery’akanyigo era effunda, mbabuuza oba byonna biwedde? Laba, njogera gye muli, nti Nedda; kubanga mmwe temutuuse eno yonna okuggyako olw’ekigambo kya Kristo n’okukkiriza okutanyenyezebwa mu ye, nga mwesigamidde ddala ku bulungi bw’oyo ow’amaanyi okulokola.
20 N’olwekyo, mmwe mulina okugenda mu maaso n’obumalirivu mu Kristo, nga mulina obutangaavu obutuukiridde obw’essuubi, era n’okwagala kwa Katonda n’okw’abantu bonna. N’olwekyo, bwe mugenda mu maaso, nga mulya ekigambo kya Kristo, era ne mugumiikiriza okutuusa ku nkomerero, laba, bw’atyo bw’ayogera Kitaffe: Mmwe mulifuna obulamu obutaggwaawo.
21 Era kaakano, laba, baganda bange abaagalwa, lino lye kkubo; era tewali ngeri ndala wadde erinnya eriweebwa wansi w’eggulu omuntu mw’ayinza okulokolebwa mu bwakabaka bwa Katonda. Era kaakano, laba, eno y’enjigiriza ya Kristo, era y’enjigiriza yokka era ey’amazima eya Kitaffe, era ey’Omwana, era n’Omwoyo Omutukuvu, oyo ye Katonda omu, ataliiko kkomo. Amiina.