Scriptures
2 Neefi 6


Essuula 6

Yakobo ayogera ku byafaayo by’Abayudaaya: Obusibe bwa Babulooni n’okudda; obuweereza n’okukomererwa kw’Omutukuvu wa Isiraeri; Obuyambi obwafunibwa okuva mu Bamawanga; n’okuzzaawo kw’Abayudaaya okw’ennaku ez’oluvannyuma nga bakkiririza mu Masiya. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Ebigambo bya Yakobo, muganda wa Neefi, bye yayogera eri abantu be Neefi:

2 Laba, baganda bange abaagalwa, nze, Yakobo, nga mpitiddwa Katonda, era ntongozeddwa okusinziira ku ngeri y’enteekateeka ye entukuvu, era nga ntukuziddwa muganda wange Neefi, oyo ggwe mutunuulira nga kabaka oba omulwanirizi, era mmwe gwe mwesigamyeko olw’obukuumi, laba mmwe mumanyi nti njogedde gye muli ebintu bingi nnyo ekisusse.

3 Wadde nga kiri kityo, nziramu okwogera gye muli nate; kubanga nfaayo nnyo ku lw’obulungi bw’emeeme zammwe. Weewaawo, okweraliikirira kwange kungi nnyo gye muli; era nammwe mwennyini mukimanyi nti bwe kityo bwe kibaddenga. Kubanga mbakubirizza n’obunyiikivu bwonna; era mbayigirizza ebigambo bya kitange; era ne njogera gye muli ku bikwata ku ebyo byonna ebyawandiikibwa, okuva mu kutondebwa kw’ensi.

4 Era kaakano, laba, nnandyogedde gye muli ku bikwata ku bintu ebiriwo, era ebirijja; n’olwekyo, nja kubasomera ebigambo bya Isaaya. Era bye bigambo muganda wange by’ayagadde nti bye nsaanidde okwogera gye muli. Era njogera gye muli ku lw’obulungi bwammwe, mulyoke muyige era mugulumize erinnya lya Katonda wammwe.

5 Era kaakano, ebigambo bye nzijja okusoma bye byo Isaaya bye yayogera ebikwata ku nnyumba ya Isiraeri yonna; n’olwekyo, biyinza okubageraageranyizibwako, kubanga mmwe muli ba nnyumba ya Isiraeri. Era waliwo ebintu bingi ebibadde byogerwa Isaaya ebiyinza okubageraageranyizibwako, kubanga mmwe muli ba nnyumba ya Isiraeri.

6 Era kaakano, bino bye bigambo: Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda: Laba, ndisitula omukono gwange eri Abamawanga, era nteekewo omutindo gwange eri abantu; era balireeta batabani bo mu mikono gyabwe, era ne bawala bo balikongojjerwa ku bibegabega byabwe.

7 Era bakabaka baliba ba kitammwe abakuza, ne bannabagereka baabwe bannyammwe abayonsa; balibavunnamira n’ebyenyi byabwe ku ttaka, era n’okukomba enfuufu y’ebigere byammwe; era mmwe mulimanya nti nze Mukama; kubanga tebaliswazibwa abo abannindirira.

8 Era kaakano nze, Yakobo, nnandyoogedde ku bikwaata ku bigambo bino. Kubanga laba, Mukama andaze nti abo abali e Yerusaalemi, gye twava, battiddwa era n’abalala ne batwalibwa mu buwambe.

9 Wadde nga kiri kityo, Mukama andaze nti balikomawo nate. Era nate nnandaga nti Mukama Katonda, Omutukuvu wa Isiraeri, alina okweyoleka gye bali mu mubiri; era bw’alimala okweyoleka alikubibwa era ne bamukomerera, ng’ebigambo bya malayika eyakyogerako gye ndi.

10 Era oluvannyuma nga bamaze okukakanyaza emitima gyabwe era ne bakalambaza ensingo zaabwe eri Omutukuvu wa Isiraeri, laba, okulamula kw’Omutukuvu wa Isiraeri kulijja ku bo. N’olunaku lujja nti balikubwa era n’okubonyaabonyezebwa.

11 N’olwekyo, oluvannyuma nga bagobaganyiziddwa, bw’atyo bw’ayogera malayika, bangi balibonyaabonyezebwa mu mubiri, era tebalizikirizibwa, olw’essaala z’abeesigwa; balisaasaanyizibwa, era n’okukubwa, era n’okukyayibwa; wabula, Mukama anaabeera wa kisa gye bali, nti bwe balituuka okumanya Omununuzi waabwe, baliddamu ne bakuŋŋaanyizibwa nate mu nsi z’obusika bwabwe.

12 Era baweeredwa omukisa Abamawanga, abo nnabbi b’awandiiseko; kubanga laba, bwe kiba bwe kityo nti bwe banaanenya ne batalwanyisa Sayuuni, era ne bateegatta ku kkanisa eyo ey’amaanyi era ezira, balirokolebwa; kubanga Mukama Katonda ajja kutuukiriza endagaano ze z’akoze eri abaana be; era olw’ensonga eno nnabbi awandiise ebintu bino.

13 N’olwekyo, abo abalwanyisa Sayuuni era n’abantu ab’endagaano aba Mukama balikomba enfuufu y’ebigere byabwe; era abantu ba Mukama tebaliswaazibwa. Kubanga abantu ba Mukama beebo abamulinda; kubanga bakyalinda okujja kwa Masiya.

14 Era laba, okusinziira ku bigambo bya nnabbi, Masiya ajja kweteekateeka omulundi ogw’okubiri okubanunula; n’olwekyo, ajja kweyoleka gye bali mu buyinza n’ekitiibwa eky’oku ntikko, okuzikiriza abalabe baabwe, olunaku olwo bwe lulituuka nga balimukiririzaamu; era tewali n’omu kw’abo abamukkiririzaamu gwalizikiriza.

15 Era abo abatalimukkiririzaamu balizikirizibwa, byombi n’omuliro era ne kibuyaga, era ne mu musisi, era n’okuyiwa omusaayi, era ne kawumpuli, era n’enjala. Era balimanya nti Mukama ye Katonda, Omutukuvu wa Isiraeri.

16 Kubanga omuyiggo guliggyibwa ku w’amaanyi, oba omuwambe mu mateeka anunulibwe?

17 Naye bw’atyo bw’ayogera Mukama: Ddala n’abawambe baabo ab’amaanyi balibatwalibwako, era n’omunyaggo gw’abo abatiisa ggulinunulibwa; kubanga Katonda ow’amaanyi alinunula abantu be ab’endagaano. Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama: Nditeesa n’abo abawakana naawe;

18 Era ndibaliisa abo abakunyigiriza, n’emibiri gyabwe; era balitamiira n’omusaayi gwabwe gwennyini nga bwe kiri ku mwenge omuwoomu; era na buli kyonna eky’omubiri kirimanya nti nze Mukama, ndi Mulokozi wo era Omununuzi wo, Ow’amaanyi owa Yakobo.