Essuula 3
Yusufu mu Misiri yalaba Abaneefi mu kwolesebwa; Yawa obunnabbi ku Joseph Smith, omulabi ow’ennaku ez’oluvannyuma; eza Musa, oyo ajja okununula Isiraeri; era ne ku by’okujja kw’Ekitabo kya Momoni. Nga mu mwaka gwa 588–570 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano njogera gy’oli, Yusufu, omwana wange omuggalanda. Ggwe wazaalibwa mu lukoola olw’okubonaabona kwange; weewaawo, mu biro eby’ennaku yange enyingi maama wo lwe yakuzaala.
2 Era Mukama asobole okutukuza ensi eno eri ggwe, ensi ey’omuwendo ennyo, olw’obusika bwo n’obusika bw’ezzadde lyo ne baganda bo, ku lw’obukuumi bwo emirembe gyonna, singa kiba nti on’okuumanga ebiragiro by’Omutukuvu wa Isiraeri.
3 Era kaakano, Yusufu, omwana wange omuggalanda, ggwe nziggye mu lukoola olw’okubonaabona kwange, Mukama akuwe omukisa emirembe gyonna, kubanga ezzadde lyo teririzikirizibwa ddala.
4 Kubanga laba, ggwe ekibala eky’enda yange; era ndi muzzukulu wa Yusufu eyatwalibwa mu buwambe e Misiri. Era endagaano za Mukama ze yakola ne Yusufu zaali nssukkulumu.
5 N’olwekyo, ddala Yusufu yalaba ebiro byaffe. Era n’afuna ekisuubizo kya Mukama, nti mu bibala by’enda ye Mukama Katonda aliyimusa ettabi eddungi eri ennyumba ya Isiraeri; si Masiya, wabula ettabi eryali ligenda okumenyebwaako, naye, lijjukirwe mu ndagaano za Mukama nti Masiya aliyolesebwa gye bali mu nnaku ez’oluvannyuma, mu mwoyo ogw’amaanyi, okutuuka okubaggya mu kizikiza okugenda mu musana; weewaawo, okuva mu kizikiza ekikwekeddwa era n’okuva mu buwambe okudda mu ddembe.
6 Kubanga Yusufu yawa obujulizi mu mazima ng’agamba nti: Mukama Katonda wange aliyimusa omulabi, aliba omulabi ow’enkizo eri ebibala by’enda yange.
7 Weewaawo, Yusufu mazima yayogera nti: Bw’ati bw’aŋŋamba Mukama nti Ndimuyimusa omulabi ow’enkizo okuva mu bibala eby’enda yo; era aligulumizibwa nnyo mu bibala eby’enda yo. Era ndimuwa ekiragiro nti ajja kukola omulimu eri ebibala by’enda yo, baganda be, oguliba ogw’omuwendo omungi gye bali, ddala okutuuka okubamanyisa endagaano ze nnakola ne bajjajjaabo.
8 Era ndimuwa ekiragiro nti takola mulimu mulala, okuggyako omulimu gwe ndimulagira. Era ndimufuula omukulu mu maaso gange; kubanga alikola omulimu gwange.
9 Era aliba mussukkulumu nga Musa, gwe nnagambye nti ndimubayimusiza, okununula abantu bange, Wattu ennyumba ya Isiraeri.
10 Era Musa gwe ndiyimusa, okununula abantu bo okuva mu nsi ye Misiri.
11 Naye ndiyimusa omulabi okuva mu bibala eby’enda yo; era ye ndimuwa obuyinza okuleeta ekigambo kyange eri ezzadde ly’enda yo; era si kuleeta kigambo kyange kyokka, bw’ayogera Mukama, wabula okubamatiza ekigambo kyange, ekinaaba kisaasaanye mu bo.
12 N’olwekyo, ebibala by’enda yo binaawandiika; era n’ebibala eby’enda ya Yuda binaawandiika; era n’ekyo ekinaawandiikibwa ebibala by’enda yo, era nate ekyo ekigenda okuwandiikibwa ebibala by’enda ya Yuda, binakulira wamu, okutuuka okujungulula enjigiriza ez’obulimba era n’okukkakkanya enkaayana, era n’okuteekawo emirembe wakati w’ebibala by’enda yo, era n’okubatuusa ku kumanya kwa bajjajjaabwe mu nnaku ez’oluvannyuma, era nate okutegeera endagaano zange, bw’ayogera Mukama.
13 Era okuva mu bunafu alifuulibwa ow’amaanyi, mu lunaku olwo omulimu gwange lwe gulitandika mu bantu bange bonna, eri okuzzaawo ggwe, Wattu ennyumba ya Isiraeri, bw’ayogera Mukama.
14 Era bw’atyo Yusufu bwe yawa obunnabbi, ng’ayogera nti: Laba, omulabi oyo Mukama gw’aliwa omukisa; era n’abo abagezaako okumukonjera banaasoberwa; kubanga ekisuubizo kino, kye nfunye okuva eri Mukama, eky’ekibala ky’enda yange, kyakutuukirira. Laba, ndi mukakafu ku kutuukirizibwa kw’ekisuubizo kino;
15 Era erinnya lye banamutuuma liriba linnya lyange; era linaaba nga erinnya lya kitaawe. Era aliba nga nze; olw’ekintu, Mukama ky’alireeta n’omukono gwe, olw’amaanyi ga Mukama kirireeta abantu bange eri obulokozi.
16 Weewaawo, bw’atyo Yusufu bwe yawa obunnabbi: Nkakasa ekintu kino, ddala nga bwe nkakasa ekisuubizo kya Musa; kubanga Mukama aŋŋambye nti, Nja kukuuma ezzadde lyo emirembe gyonna.
17 Era Mukama agamba nti: Nja kuyimusaayo Musa; era ndimuwa amaanyi mu muggo; era ndimulamula mu buwandiike. Naye sijja kusumulula lulimi lwe, nti ayogere nnyo, kubanga sijja kumufuula wa maanyi mu kwogera. Naye ndimuwandiikira etteeka lyange, n’olugalo lw’omukono gwange; era nja kumufunira omwogezi.
18 Era Mukama n’aŋŋamba nate nti: Ndiyimusa eri ebibala by’enda yo; era ndimufunira omwogezi. Era nze, laba, ndimuwa nti awandiika ebiwandiiko eby’ab’ebibala b’enda yo, eri ebibala by’enda yo; era omwogezi w’enda yo anaakirangirira.
19 Era ebigambo by’aliwandiika binaba bigambo ebisaanira mu magezi gange okuwulirwa eri abo ebibala by’enda yo. Era biriba ng’ab’ebibala eby’enda yo nga bwe balaajana n’obunyiikivu okuva mu nfuufu gye bali; kubanga mmanyi okukkiriza kwabwe.
20 Era baliraajana okuva mu nfuufu; weewaawo, ddala okwenenya eri baganda baabwe, ddala oluvannyuma lw’emirembe mingi nga giyiseewo. Era kinaatuukirira nti okulaajana kwabwe kuligenda, ddala okusinziira ku bwangu bw’okutegeerekeka kw’ebigambo byabwe.
21 Olw’okukkiriza kwabwe ebigambo byabwe biriva mu kamwa kange eri baganda baabwe abo ebibala by’enda yo; era obunafu bw’ebigambo byabwe ndibufuula bw’amaanyi mu kukkiriza kwabwe, eri okujjukira endagaano yange gye nnakola ne bajjajjaabo.
22 Era kaakano, laba, mutabani wange Yusufu, oluvannyuma lw’engeri eno kitange ow’edda bwe yawa obunnabbi.
23 N’olwekyo, olw’endagaano eno oweereddwa omukisa; kubanga ezzadde lyo teririzikirizibwa, kubanga baliwuliriza ebigambo eby’ekitabo.
24 Era mu bo walisibukayo omu ow’amaanyi, alikola ebirungi bingi, byombi mu bigambo ne mu bikolwa, era ajja kuba ekikozesebwa mu mikono gya Katonda, ng’alina okukkiriza okussuffu, okukola ebyewuunyisa eby’amaanyi, era n’okukola ekyo ekissukkulumu mu maaso ga Katonda, eri okudizaawo ddala ennyumba ya Isiraeri, era n’eri ezzadde lya baganda bo.
25 Era kaakano, oli wa mukisa, Yusufu. Laba, oli muto; n’olwekyo wuliriza ebigambo bya muganda wo, Neefi, era kijja kukukolebwa okusinziira ku bigambo bye njogedde. Jjukira ebigambo bya kitaawo anaatera okufa. Amiina.