Scriptures
2 Neefi 15


Essuula 15

Ennimiro ey’emizabbibu eya Mukama (Isiraeri) ejja kufuuka matongo, era n’abantu be bajja kusaasaana; Ebiwoobe bijja kubatuukako mu mbeera yaabwe ey’okwewaggula era n’okusaasaana; Mukama ajja kusitula bendera era akuŋŋaanya Isiraeri; Geraageranya Isaaya 5. Nga 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era awo ndiyimbira omwagalwa wange oluyimba lw’omwagalwa wange, nga lukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu. Omwagalwa wange alina ennimiro ey’emizabbibu ku lusozi olubala ennyo.

2 Era yasibako olukomera, n’akuŋŋaanya amayinja gaayo, n’agisimbako n’omuzabbibu ogusinga obulungi, n’azimba omunaala wakati mu yo, era nate n’akola essogolero ly’omubisi; era n’atunuulira nga yesunga lubale emizabbibu, era ne lubala emizabbibu ez’omu nsiko.

3 Era kaakano, Wattu abatuuze mu Yerusaalemi, era n’abasajja ba Yuda, mulamule, mbegayiridde, wakati wange n’ennimiro yange ey’emizabbibu.

4 Kiki ekyandibadde kisinga okukolebwa ku nnimiro yange ey’emizabbibu kye sikozeemu? N’olwekyo, bwe nnatunudde nti gunaazaala emizabbibu ne guzaala emizabbibu egy’omu nsiko.

5 Era kaakano genda yo; nja ku kubuulira kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu; ŋŋenda kuggyawo olukomera oluliwo, era luliriirwa; era naamenya bbugwe aliwo, era en’erinnyirirwa;

6 Era nja kugisaanyawo; teliwagulirwa wadde okukoolebwa; naye erisibukamu emyeramannyo era n’amaggwa; era nja kulagira ebire bireme okutonnyesa enkuba.

7 Kubanga ennimiro ey’emizabbibu eya Mukama ow’eggye ye nnyumba ya Isiraeri, era n’abasajja ba Yuda ekimera kye ekisanyusa; era asuubira ennamula, era alaba okunyigirizibwa; yanoonya obutuukirivu, naye yawulira, okukaaba.

8 Zibasanze abo abakola akajegere k’ennyumba ku nnyumba, okutuusa nga tewakyafunika kifo, balyoke bateekebwe bokka wakati mu nsi!

9 Mu matu gange, bw’ayogera Mukama ow’eggye, mu mazima ennyumba nnyingi ziriba matongo, era ebibuga eby’amaanyi era ebirungi ebitaliimu muntu.

10 Weewaawo, yiika kkumi ez’ennimiro ey’emizabbibu zinaavaamu ensuwa emu, era n’eppipa y’ensigo eribala ekita kimu.

11 Zibasanze abo abazuukuka ku makya ennyo, balyoke boolekere okunywa omwenge, abo abeyongera okutuusa ekiro, era omwenge ne gubalalusa!

12 Era ennanga era n’entongooli, ebitaasa, era n’endere, era n’omwenge biri mu mbaga zaabwe; naye tebafaayo ku mulimu gwa Mukama, so tebafaayo ku bikolebwa emikono gye.

13 N’olwekyo, abantu bange bagenze mu buwambe, kubanga tebalina kumanya; era n’abasajja baabwe ab’ebitiibwa bafa enjala, era n’enkuyanja yaabwe erakasidde ennyonta.

14 N’olwekyo, ggeyeena yeegaziyizza, era n’eyasamya akamwa kaayo awatali kipimo; era n’ekitiibwa kyabwe, era n’enkuyanja yaabwe, era n’amajjolobera gaabwe, era n’oyo acacanca, binakka mu kyo.

15 Era omukopi alikkakkanyizibwa, era n’omusajja ow’amaanyi alitoowazibwa, era n’amaaso g’abegulumiza galitoowazibwa.

16 Naye Mukama ow’eggye aligulumizibwa mu bulamuzi, era ne Katonda oyo omutukuvu alitukuzibwa mu butuukirivu.

17 Olwo obwana bw’endiga bulirya okusinziira ku ngeri yaabwo, era n’ebifo ebyazika eby’abagevvu abatambuze babirya.

18 Zibasanze abo abawalula obubi n’emiguwa egy’obutaliimu, era n’ebyonoono nga bwe byalibadde n’omuguwa gw’eggaali y’embalaasi;

19 Abo bagamba nti: Muleke akola obwangu, ayanguye omulimu gwe, nti tulyoke tugulabe; era leka okuteesa kw’Omutukuvu wa Isiraeri kusembere era kujje, nti tulyoke tukitegeere.

20 Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi, era n’ekirungi ekibi, abateeka ekizikiza mu kifo ky’omusana, era n’omusana mu kifo ky’ekizikiza, abo abateeka okukaawa mu kifo ky’okuwomerera, era n’okuwomerera mu kifo ky’okukaawa.

21 Zibasanze abo abalina amagezi mu maaso gaabwe bo, era abakabakaba mu kulaba kwabwe bo!

22 Zibasanze abo abavumu okunywa omwenge, era n’abasajja ab’amaanyi okutabula ekitamiiza;

23 Abo abateeka obutuukirivu ku mubi olw’enguzi, era ne baggya ku mutuukirivu obutuukirivu bwe!

24 N’olwekyo, ng’omuliro bwe gulya ebisasiro, n’ennimi ez’omuliro bwe zokya ebisusunku, emirandira gyabwe giriba kivundu, era n’ebimuli byabwe birifuumuka ng’enfuufu; kubanga batadde amateeka ga Mukama ow’eggye ku bbali, ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isiraeri.

25 N’olwekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bubuubuuka ku bantu be, era agolodde omukono ggwe okubalumba, era abasse, era n’ensozi zaakankana, n’emirambo gyabwe ne giba ng’ebisasiro wakati mu nguudo. Olw’ebyo byonna obusungu bwe tebunnakyusibwa, naye omukono gwe gugoloddwa n’era.

26 Era aliyimusa bendera eri amawanga ng’asinziira ewala, era alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi; era, laba, balyanguwa mangu okujja; tewali n’omu alikoowa wadde okwesittala mu bo.

27 Tewali n’omu aliboongoota wadde okwebaka; so n’omusipi gw’ekiwato kyabwe tegulisumululwa, newakubadde omuguwa gw’engatto zaabwe tegulikutuka;

28 Obusaale bwabwe buliba busongovu, n’emitego gyabwe gyonna nga gyewese, era n’ebinuulo by’embalaasi zaabwe biribalibwa ng’ejjinja, ne nnamuziga zaabwe ng’omuyaga, n’okuwuluguma kwazo ng’empologoma.

29 Baliwuluguma ng’empologoma ento; weewaawo, baliwuluguma, ne bakwata omuyiggo, ne batwala nga tebalina kabi konna, era tewali aliyamba.

30 Era ku lunaku olwo balibawulugumira ng’okuwuluguma kw’ennyanja; era singa batunuulira ensi, laba, ekizikiza era n’ennaku, era n’ekitangaala kizikizibbwa mu ggulu olw’ekyo.