Scriptures
2 Neefi 22


Essuula 22

Mu lunaku olw’emyaka olukumi abantu bonna bajja kutendereza Mukama; Ajja kubeera mu bo; Geraageranya Isaaya 12. Nga me mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

Era ku lunaku luli olyogera nti: Ayi Mukama nnaakutendereza; newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bukyuse, era ombudaabuda.

Laba, Katonda bwe bulokozi bwange; nneesiganga, era ne ssitya; kubanga Mukama YAKUWA ge maanyi gange n’oluyimba; era ye afuuse obulokozi bwange.

N’olwekyo, musenanga n’essanyu amazzi mu nzizi ez’obulokozi.

Era ku lunaku luli mulyogera nti: Mutendereze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu bantu, mwogere era erinnya lye ligulumizibwe.

Mumuyimbire Mukama; kubanga akoze ebintu eby’enjawulo; ekyo kimanyiddwa mu nsi yonna.

Yogerera waggulu oleekaane, ggwe atuula mu Sayuuni; kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu.