Essuula 23
Okuzikirizibwa kwa Babulooni kye kika ky’okuzikirizibwa kw’Okujja okw’Okubiri; Lujja kuba lunaku lwa busungu na kwesasuza; Babulooni (ensi) ejja kugwa emirembe gyonna; Geraageranya Isaaya 13. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Omugugu gwa Babulooni, ogwo Isaaya mutabani wa Amozi gwe yalaba.
2 Musitule mmwe waggulu bendera ku lusozi oluwanvu, mukoowoole mu ddoboozi ery’omwanguka gye bali, musikaŋŋane mu ngalo, nti basobole okuyingira mu miryango egy’abakungu.
3 Nze ndagidde abawonge bange, era mpise abantu bange ab’amaanyi, kubanga obusungu bwange tebuli ku bo abasanyukira obukulu bwange.
4 Oluyoogaano lw’ekibinja ky’abantu mu nsozi nga era bwe kiba nga abantu bangi nnyo, oluyoogaano olw’akajagalalo olw’obwakabaka bw’amawanga agakuŋŋaanidde awamu, Mukama ow’eggye akuŋŋaanya amaggye g’olutalo.
5 Bava mu nsi ey’ewala, okuva ku nkomerero y’eggulu, weewaawo, Mukama, n’ebyokulwanyisa eby’obukambwe bwe, okuzikiriza ensi yonna.
6 Muwowoggane mmwe, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi; lujja kujja ng’okuzikirizibwa okuva eri Ayinza byonna.
7 N’olwekyo emikono gyonna giriggwaamu amaanyi, omutima gwa buli muntu gulisaanuuka;
8 Era balitya; obulumi obw’amaanyi n’ennaku biribabuutikira; buli omu alyewuunya mune; n’obwenyi bwabwe buliba ng’ennimi z’omuliro.
9 Laba, olunaku lwa Mukama lujja, nga lukambwe n’ekiruyi era n’obusungu obw’entiisa, okufuula ensi amatongo; era alizikiriza aboonoonyi baayo okugivaamu.
10 Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ennyiriri ze mmunyeenye zaalyo tebiriwa kitangaala kyabyo; Enjuba ejja kuzikizibwa mu kugenda kwe, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kya gwo kwaka.
11 Era ndibonereza ensi olw’obubi, n’ababi olw’ebyonoono byabwe; nja kuleetera okweemanya kwa b’amalala okukoma, era nja kussa wansi okwegulumiza kw’abo ab’entiisa.
12 Ndifuula omuntu ow’omuwendo okusinga zaabu omulungi; ddala omuntu okusinga ejjinja erya zaabu owe Ofiri.
13 N’olwekyo, ndikankanya eggulu, era n’ensi eliva mu kifo kyayo, mu busungu bwa Mukama ow’eggye, era ne ku lunaku olw’obusungu bwe obw’entiisa.
14 Era kiriba nga engabi egobebwa, era ng’endiga etaliko muntu yenna asitula; era buli muntu alikyuka okudda eri abantu be, era buli omu addukire mu nsi ye.
15 Buli yenna ow’amalala alifumitibwa ekiso; weewaawo, era buli omu eyeegatta ku babi alittibwa na kitala.
16 Abaana baabwe nabo balitemebwatemebwa mu bitundutundu mu maaso gaabwe; ennyumba zaabwe zilyoonoonebwa era ne bakyala baabwe ne bakabasanyizibwa.
17 Laba, nja kusiikuula Abameedi gye bali, abatalifaayo ku ffeeza era ne zaabu, era tebalimusanyukiramu.
18 Obusaale bwabwe nabwo bulimenya abavubuka mu bitundutundu; era tebaliba nakusaasira ku kibala ky’olubuto; amaaso gaabwe tegalitaliza baana bato.
19 Era Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka, obulungi obw’amalala okw’Abakaludaaya, buliba nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola.
20 Tekiribeerwamu, era tekiisulibwengamu okuva ku mulembe okudda ku mulala: wadde Omuwalabu okusiimbayo weema ye; wadde abasumba tebaliteekayo bissibo byabwe.
21 Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamiraangayo; era n’amayumba gaabwe galijjula ebitonde ebinakuwavu; era n’ebiwuugulu biribeeranga eyo, era n’ebya zigeye biriziniranga eyo.
22 Era n’ensolo enkambwe ez’ebizinga zirikaabira mu nnyumba zaabwe ezifuuse amatongo, era n’ebisota mu mbiri zaabwe ezeyagaza; era ekiseera kye kiri kumpi okutuuka, era olunaku lwe teruliwanvuyizibwa. Kubanga nja kumuzikiriza mu bwangu; weewaawo, kubanga nja kuba wa kisa eri abantu bange, naye ababi balizikirira.