Scriptures
2 Neefi 28


Essuula 28

Ekkanisa nyingi ez’obulimba zijja kuzimbibwa mu nnaku ezisembayo; Zijja kuyigiriza enjigiriza ey’obulimba, obutaliimu, era n’obwewussa; Okwewaggula kujja kujjula wonna olw’abasomesa ab’obulimba; Setaani ajja kuleeta akayuuguumo mu emitima gy’abantu; Ajja kuyigiriza enjigiriza ez’obulimba ez’engeri zonna. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano, laba, baganda bange, njogedde gye muli, ng’omwoyo bw’anuŋŋamizza; n’olwekyo, nkimanyi nti mazima ddala birina okutuukirira.

2 Era ebintu ebiriwandiikibwa okuva mu kitabo biriba bya muwendo gw’amaanyi ennyo eri abaana b’abantu, era n’okusingira ddala ezzadde lyaffe, nga be baafikkawo ku nnyumba ya Isiraeri.

3 Kubanga kirituukirira ku lunaku olwo nti ekkanisa ezizimbibwa, so si eri Mukama, emu bw’erigamba endala: Laba, nze, nze ndi wa Mukama; era n’endala zirigamba nti: Nze, nze owa Mukama; era bwe kityo buli omu bw’aligamba oyo aliba azimbye ekkanisa, era si eri Mukama.

4 Era balibeera n’obukuubagano buli omu eri mune; era ne bakabona baabwe balibeera n’obukuubagano era buli omu ne mune, era baliyigiriza n’okuyiga kwabwe, era ne beegaana Omwoyo Omutukuvu, oyo awa okwogera.

5 Era bagaana amaanyi ga Katonda, Omutukuvu wa Isiraeri; era ne bagamba abantu nti: Mutuwulirize, era muwulire mmwe ebiragiro byaffe; kubanga laba tewali Katonda leero, kubanga Mukama era Omununuzi akoze omulimu gwe, era awadde abantu obuyinza bwe;

6 Laba, muwuliririze mmwe ekiragiro kyange; singa baligamba nti waliwo ekyamagero ekikoleddwa omukono gwa Mukama, temukikkiriza; kubanga ku lunaku luno si Katonda wa byamagero; akoze omulimu gwe.

7 Weewaawo, era walibeerawo bangi abaligamba nti: Mulye, munywe, era mubeere basanyufu, kubanga enkya tufa; era kiriba bulungi naffe.

8 Era walibeerawo bangi abaligamba: Mulye, munywe, era mubeere basanyufu; wabula, mutye Katonda; ajja kubawolereza mu kukola ebibi ebitonotono; weewaawo, mulimbe kitono, kozesa omukisa gwo eri omulala olw’ebigambo bye, simira muliraanwa wo obunnya; mu kino temuli bulabe bwonna; era mukole ebintu bino byonna, kubanga enkya tufa; era bwe kiba nga gutusiinze, Katonda ajja kutukuba emiggo mitono, era ku nkomerero tujja kulokolebwa mu bwakabaka bwa Katonda.

9 Weewaawo, era walibaawo bangi abaliyigiriza okusinziira ku ngeri eno, enjigiriza ezitali ntuufu, ez’obulimba era ez’obusirusiru, era abeegulumiza mu mitima gyabwe, era balifuba nnyo okukweka ebuziba okubuulirirwa kwabwe okuva eri Mukama; era n’emirimu gyabwe ginaabanga mu kizikiza.

10 Era n’omusaayi gw’abatukuvu gulikaaba okuva mu ttaka nga gubalumiriza.

11 Weewaawo, bonna bavudde mu kkubo; bafuuse bonoonefu.

12 Olw’amalala, era n’olw’abasomesa ab’obulimba, era n’enjigiriza ey’obulimba, ekkanisa zaabwe nvundu, era ekkanisa zaabwe zetwalira waggulu; olw’amalala beegulumiza.

13 Banyaga abaavu olw’amasinzizo gaabwe amalungi; banyaga abaavu olw’engoye zaabwe ennungi; era bayigganya abawombeefu n’abaavu mu mutima, kubanga mu malala gaabwe beegulumiza.

14 Bambala ensingo ezikakanyadde era n’amalala; weewaawo, era olw’amalala, era n’obutali butukirivu, era n’ebikolwa ebizira, era n’obwenzi, bonna babuze okuggyako abo abatono, abagoberezi ba Kristo abawombeefu; wabula, bakulemberwa, nti mu ngeri nnyingi bakola ensobi kubanga basomesebwa n’ebiragiro by’abantu.

15 Wattu abagezi, era n’abayivu, era n’abagagga, abo abeegulumiza mu malala g’emitima gyabwe, era n’abo bonna ababuulira enjigiriza ez’obulimba, era n’abo bonna abakola obwenzi, era ne bakyamya ekkubo ettuufu erya Mukama, zibasanze, zibasanze, zibasanze abo, bw’ayogera Mukama Katonda Ayinza byonna, kubanga balikasukibwa wansi mu ggeyeena!

16 Zibasanze abo abakasuka ebbali abeenkanya olw’ekintu eky’obutaliimu era n’okuvumaganya ekyo ekirungi, era n’okugamba nti tekirina makulu! Kubanga olunaku lulituuka Mukama Katonda mu bwangu alikyala eri abatuuze b’ensi; era ku lunaku olwo nga bengeredde ddala mu bibi balizikirira.

17 Naye laba, abatuuze b’ensi bwe balyeenenya ebibi byabwe era n’ebikolwa eby’emizizo tebalizikirizibwa, bw’ayogera Mukama ow’eggye.

18 Naye laba, ekkanisa ey’amaanyi era ezira, omwenzi w’ensi yonna, alina okugwa ku nsi, era n’okugwa kwe kulibeera kw’amaanyi.

19 Kubanga obwakabaka bwa setaani bulina okukankana, era n’abo ababulimu balina okusiikuulwa okutuuka mu kwenenya, oba si ekyo setaani ajja kubakwata n’enjegere ze ez’olubeerera, era n’okubasiikuula okusunguwala, era n’okubazikiriza;

20 Kubanga laba, ku lunaku olwo ajja kuleeta akayuuguumo mu mitima gy’abaana b’abantu, era n’abasiikula mu busungu eri ekyo ekirungi.

21 Era abalala alibakkakkanya, n’abasendasenda mu mirembe egy’omubiri, nti bagambe: Byonna birungi mu Sayuuni; weewaawo, Sayuuni ekulaakulana, byonna birungi; era bw’atyo setaani alimba emyoyo gyabwe, n’abatwala n’obwegendereza wansi mu ggeyeena.

22 Era laba, abalala alimbalimba, n’abagamba nti tewaliyo ggeyeena; era n’ayogera eri bo: Siri setaani, kubanga taliyo; era bw’atyo n’ayogera mu matu gaabwe, okutuusa lw’abasiba n’enjegere ze ez’entiisa, awatali kutaasibwa.

23 Weewaawo, basibibwa n’okufa, era ne ggeyeena; era n’okufa, era ne ggeyeena, era ne setaani, era n’abo bonna abawambibwa nabo balina okuyimirira mu maaso ga nnamulondo ya Katonda, era balamulwe okusinziira ku bikolwa byabwe, awo we bava okugenda mu kifo ekyabategekerwa, era ennyanja ey’omuliro n’obuganga, ng’okwo kwe kutulugunyizibwa okutakoma.

24 N’olwekyo, zimusanze oyo ali mu mbeera ennungi mu Sayuuni!

25 Zimusanze oyo alangirira nti: Byonna biri bulungi!

26 Weewaawo, zibasanze abo abawuliriza ebiragiro by’abantu, ne bagaana amaanyi ga Katonda, era n’ekirabo ky’Omwoyo Omutukuvu!

27 Weewaawo, Zimusanze oyo agamba nti: Tuweereddwa, era tetukyeetaaga!

28 Era ku nkomerero, zibasanze abo bonna abakankana, era nga basunguwavu olw’amazima ga Katonda! Kubanga laba, oyo azimbibwa ku lwazi akifuna n’okusanyuka; era n’oyo azimbibwa ku musingi gw’omusenyu akankana olw’okutya okugwa.

29 Zimusanze oyo aligamba nti: Tufunye ekigambo kya Katonda, era tetukyeetaaga kigambo kya Katonda, kubanga tulina ekimala!

30 Kubanga laba, bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda: Njja kuwa abaana b’abantu lunnyiriri ku lunnyiriri, kiragiro ku kiragiro, wano katono era nawali katono; era baweereddwa omukisa abo abawuliriza ebiragiro byange, era ne bawa okutu eri okubuulirira kwange, kubanga baliyiga amagezi; kubanga eri oyo aweebwa nja kumuwa ebisingawo; era okuva eri abo abaligamba, Tulina ekimala, abo baliggibwako n’ekyo kyebalina.

31 Akolimiddwa oyo ateeka obwesige bwe mu muntu, oba afuula omubiri okuba omukono gwe, oba aliwuliriza ebiragiro by’abantu, okuggyako nga ebiragiro byabwe biribaweebwa n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu.

32 Zibasanze abo Abamawanga, bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye! Kubanga wadde nga nja kugolola omukono gwange gye bali okuva ku lunaku olumu okudda ku lulala, bajja kunneegaana; wabula, nja kubeera wakisa gye bali, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe beenenya ne bajja gye ndi; kubanga omukono gwange gugoloddwa olunaku lwonna, bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye.