Scriptures
2 Neefi 14


Essuula 14

Sayuuni era ne bawala baayo bajja kununulibwa era n’okulongoosebwa ku lunaku lw’emyaka olukumi; Geraageranya Isaaya 4. Nga 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

Era ku lunaku olwo, abakazi musanvu balyekwata omusajja omu, nga bagamba nti: Tujja kulya emmere yaffe, era twambale ebyambalo byaffe; okuggyako tutuumibwe erinnya lyo okuggyawo ekivume kyaffe.

Ku lunaku olwo ettabi lya Mukama lirirabika bulungi era ery’ekitalo; ebibala by’ensi birungi nnyo era nga binyuma eri abo abasimattuse aba Isiraeri.

Era lulituuka, abo abalekeddwa mu Sayuuni era ne basigala mu Yerusaalemi baliyitibwa abatukuvu, buli eyawandiikibwa mu balamu mu Yerusaalemi;

Awo Mukama bw’alimala okunaaza obucaafu bw’abawala ba Sayuuni, era ng’alongoosezza omusaayi gwa Yerusaalemi wakati mu kyo olw’omwoyo ogw’obulamuzi era n’omwoyo ogw’okwokya.

Era Mukama alitonda ku buli kifo eky’okubeeramu eky’olusozi Sayuuni, era ne ku nkuŋŋaana zaakyo, ekire n’omukka emisana era n’okutangaligya kw’omuliro ogwaka ekiro; kubanga eri ekitiibwa kyonna ekya Sayuuni walibaawo obukuumi.

Era walibaawo weema okuba ekisiikirize mu saawa ez’emisana eri olubugumu, era okuba ekiddukiro, era ekifo omwekwekebwa eri omuyaga n’enkuba.