Essuula 30
Abamawanga abakyusibwa bajja kubalibwa n’abantu b’endagaano; Abalamani bangi n’Abayudaaya bajja kukkiriza ekigambo era bajja kuba basanyufu nnyo; Isiraeri ejja kuzzibwawo era n’ababi bazikirizibwe. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano laba, baganda bange abaagalwa, nandyogedde gye muli; kubanga nze, Neefi, ssandyagadde mmwe kulowooza nti muli batuukirivu nnyo okusinga Abamawanga bwe balibeera. Kubanga laba, okuggyako nga munaakuumanga ebiragiro bya Katonda mwenna mulizikirira mu ngeri y’emu; era olw’ebigambo ebyogeddwa mmwe temwetaaga kulowooza nti Abamawanga bazikirizibwa ddala.
2 Kubanga laba, mbagamba nti nga abangi ku b’Amawanga abaneenenya be bantu ab’endagaano aba Mukama; era nga bangi ku Bayudaaya bwe batalyenenya balisuulwa ebbali; kubanga Mukama talagaana na muntu yenna okuggyako abo abenennya era ne bakkiririza mu mwana we, oyo nga ye Mutukuvu wa Isiraeri.
3 Era kaakano, nandiwadde obunnabbi mu ngeri esingawo ku bikwata ku Bayudaaya era n’Abamawanga. Kubanga oluvannyuma lw’ekitabo ekyo kye njogeddeko bwe kirijja, era ne kiwandiikibwa eri Abamawanga, era ne kiteebwako envumbo nate eri Mukama, awo walibaawo bangi abalikkiriza ebigambo ebyawandiikibwa; era balibitwala eri abaafikkawo ku zzadde lyaffe.
4 Era awo abaafikkawo ku zzadde lyaffe balimanya ebitukwatako, engeri gye twajjamu okufuluma Yerusaalemi, era nti bo be bazzukulu b’Abayudaaya.
5 Era n’enjiri ya Yesu Kristo erilangirirwa mu bo; n’olwekyo, baliddamu okumanyisibwa ku bakitaabwe, era n’okumanya ku Yesu Kristo, ekyaliwo mu bakitaabwe.
6 Era olwo balijjaganya; kubanga balimanya nti kya mukisa gye bali okuva mu kibatu kya Katonda; era n’ebikakampa byabwe eby’ekizikiza biritandika okugwa okuva ku maaso gaabwe; era n’emirembe mingi tegiriyitawo mu bo, okuggyako nga balibeera bantu balongoofu era abasanyufu.
7 Era lulituuka nti Abayudaaya abo abasaasaanye nabo balitandika okukkiririza mu Kristo; era balitandika okukuŋŋaana ku lukalu lw’ensi; era abangi abalikkiririza mu Kristo nabo balifuuka abantu abasanyufu.
8 Era lulituuka nti Mukama Katonda alitandika omulimu gwe mu mawanga gonna, ebika, ennimi, era n’abantu, okuleeta okuzzaawo kw’abantu be ku nsi.
9 Era n’obutuukirivu Mukama Katonda analamulanga abaavu, era n’akangavvula n’obwenkanya ku lw’obuwombeefu bw’ensi. Era alikuba ensi n’oluga lw’akamwa ke; era n’omukka gw’emimwa gye alitta ababi.
10 Kubanga ekiseera kijja mu bwangu nti Mukama Katonda alireeta enjawukana ey’amaanyi mu bantu, era ababi bajja kuzikirizibwa; era alisonyiwa abantu be, weewaawo, ne bwe kiba nga alina okusaanyaawo ababi n’omuliro.
11 Era obutuukirivu bunabeeranga omusipi ogw’ekiwato kye, era obweyamo omusipi ogw’omugongo gwe.
12 Era n’omusege gunaasulanga wamu n’omwana gw’endiga; era n’engo eneegalamiranga wamu n’omwana gw’embuzi, era n’ennyana, n’omwana gw’empologoma, n’endaawo, wamu; era omwana omuto alizikulembera.
13 Era n’ente era n’eddubu zirirya; abaana baazo baligalamira wamu; era n’empologoma erirya omuddo ng’ente.
14 Era n’omwana ayonka alizannyira ku kinnya eky’enswera, era n’omwana eyaakava ku mabeere aliteeka ekibatu kye ku mpampagama y’essalambwa.
15 Tebiriruma newakubadde okuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu lwonna; kubanga ensi erijjula okumanya Mukama ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.
16 N’olwekyo, ebintu eby’amawanga gonna birimanyisibwa; weewaawo, ebintu byonna birimanyisibwa eri abaana b’abantu.
17 Tewali kintu kyonna eky’ekyama kitajja kubikkulwa; tewali mulimu gwa kizikiza gutajja kwolesebwa mu kitangaala; era tewali kintu kyonna ekissiddwako envumbo ekitajja kusumululwa.
18 N’olwekyo, ebintu byonna ebyo bibikkuliddwa eri abaana b’abantu ku lunaku olwo biribikkulibwa; era Setaani taliddamu kubeera na buyinza ku mitima gy’abaana ba bantu, okumala ebbanga eddene. Era kaakano, baganda bange abaagalwa, nkola okufundikira okwogera kwange.