Scriptures
2 Neefi 2


Essuula 2

Okununulibwa kujja kuyita mu Masiya Omutukuvu; Eddembe ly’okulondawo (okwesalirawo) lyetaagisa nnyo mu kubeerawo n’okukulaakulana; Adamu yagwa abantu basobole okuba abalamu; Abantu ba ddembe okulonda eddembe n’obulamu obutaggwaawo. Nga 588–570 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano, Yakobo, njogera gy’oli: Ggwe mwana wange omuggulanda mu nnaku ez’okubonaabona kwange mu lukoola. Era laba, mu buto bwo wayita mu kubonaabona era n’ennyiike nnyingi, olw’ebboggo lya baganda bo.

2 Kyokka, Yakobo, omwana wange omuggulanda mu lukoola, omanyi obussukkulumu bwa Katonda; era anaatukuza okubonaabona kwo olw’okuganyulwa kwo.

3 N’olwekyo, emmeeme yo ejja kuweebwa omukisa, era ojja kubeerawo mu mirembe ne muganda wo, Neefi; era ennaku zo onozimalira mu kuweereza Katonda wo. N’olwekyo, nkimanyi nti onunuliddwa, olw’obutuukirivu bw’Omununuzi wo; kubanga olabye nti mu kutukirira kw’ebiro ajja kuleeta obulokozi eri abantu.

4 Era olabye mu buvubuka bwo ekitiibwa kye; n’olwekyo, oli wa mukisa ng’abo b’anaaweereza mu mubiri; kubanga Omwoyo y’omu, eggulo, leero, era n’emirembe gyonna. Era ekkubo litegekeddwa okuva mu kugwa kw’omuntu mu kibi, era n’obulokozi bwa bwereere.

5 Era abantu baluŋŋamizibwa ekimala nti bamanye ekirungi n’ekibi. Era etteeka liweereddwa abantu. Era olw’etteeka tewali muntu yenna atuukiridde; oba, olw’etteeka abantu basalibwako. Weewaawo, olw’etteeka ery’ekiseera baasalibwako; era nate, olw’etteeka ery’omwoyo bazikirira okuva ku ekyo ekirungi, era ne bafuuka abennyamivu emirembe gyonna.

6 N’olwekyo, okununulibwa kujjira mw’oyo era n’okuyita mu Masiya Omutukuvu; kubanga ajjudde ekisa n’amazima.

7 Laba, yeewaayo nga ssaddaaka olw’ekibi, okutuukiriza ekigendererwa ky’etteeka, eri abo bonna abalina omutima ogumenyese n’omwoyo oguboneredde; era tewali mulala yenna ayinza kutuukiriza bigendererwa bya tteeka.

8 N’olwekyo, nga mussukkulumu omugaso okumanyisa ebintu bino eri abatuuze b’ensi, balyoke bamanye nti tewali mubiri guyinza kubeera mu maaso ga Katonda, okuggyako nga gusaanira, n’okusaasira, n’ekisa kya Masiya Omutukuvu, oyo awaayo obulamu bwe okusinziira ku mubiri, n’abweddiza nate olw’amaanyi ag’Omwoyo, alyoke atuukirize okuzuukira kw’abafu, nga ye yalina okusooka okuzuukira.

9 N’olwekyo, ye bye bibala ebibereberye eri Katonda, kubanga yegayirira ku lw’abaana b’abantu bonna; era n’abo abamukkiririzaamu balirokolebwa.

10 Era olw’okwegayirira ku lw’abonna, abantu bonna bajja eri Katonda n’olwekyo, bayimirira mu maaso ge, ye okubasalira omusango okusinziira ku mazima n’obutukuvu obuli mu ye. N’olwekyo, enkomerero y’etteeka Omutukuvu gye yawa, okutuukiriza ekibonerezo ekyassibwawo, ekibonerezo ekyo ekyassibwawo okuwakanya ekyo eky’essanyu ekyassibwawo, okutuukiriza ekigendererwa ky’omutango;

11 Kubanga kiteekwa okubaawo, nti waliwo okuwakanyizibwa mu bintu byonna. Bwe kiba nga si bwe kiri, mwana wange omuggulanda mu lukoola, obutuukirivu tebwalisobose kutuukirira, wadde obubi, wadde obutukuvu oba ennaku, wadde ekirungi oba ekibi. N’olwekyo, ebintu byonna kyetaagisa okubeera awamu; n’olwekyo, singa kiba nga kirina okuba omubiri gumu kiteekwa okusigala ng’ekifu, nga tekirina bulamu wadde okufa, oba okuvunda oba obutavunda, essanyu oba ennaku, wadde okutegeera oba obutategeera.

12 N’olwekyo, kiteekwa okuba nga kyatondebwa olw’ekintu eky’obutaliimu; n’olwekyo tewandibaddewo kigendererwa mu nkomerero y’okutondebwa kwakyo. N’olwekyo, ekintu kino nga kiteekwa okusaanyaawo amagezi ga Katonda n’ebigendererwa bye eby’olubeerera, era n’amaanyi, era n’okusaasira, era n’obwenkanya bwa Katonda.

13 Era singa mmwe munaagamba nti tewali tteeka, mmwe munaagamba nate nti tewali kibi. Singa mmwe munaagamba nti tewali kibi, era munaagamba nate nti tewali butuukirivu. Era singa tewabaawo butuukirivu tewandibaddewo ssanyu. Era singa tewabaawo butuukirivu oba essanyu tewandibaddewo kibonerezo oba nnaku. Era singa ebintu bino tebyaliwo Katonda teyandibaddewo. Era singa tewabaawo Katonda ffe tetwandibadewo, newakubadde ensi; kubanga tewandibaddewo kutondebwa kwa bintu, wadde okukola oba okukolebwaako; n’olwekyo, ebintu byonna byandibadde nga biggwaawo.

14 Era kaakano, batabani bange, mbagamba ebintu bino olw’okuganyulwa n’okuyiga kwammwe; kubanga waliwo Katonda, era ye yatonda ebintu byonna, byombi bino eggulu n’ensi, era n’ebintu byonna ebiri mu byo, byombi ebintu ebikola era n’ebintu eby’okukolebwaako.

15 Era okuleetawo ebigendererwa bye eby’olubeerera eri enkomerero y’omuntu, oluvannyuma lw’okutonda bazadde baffe abasooka, era n’ensolo ez’omu nsiko era n’ebinyonyi eby’omu bbanga, era mu bufunze, ebintu byonna ebyatondebwa, kiteekwa okuba nti waaliwo okuwakanyizibwa; ddala n’ekibala ekyagaanibwa nga kiwakanyizibwa omuti ogw’obulamu; ekimu nga kiwooma ate ekirala nga kikaawa.

16 N’olwekyo, Mukama Katonda yawa omuntu okukola ku lulwe. N’olwekyo, omuntu yali tasobola kukola ku lulwe okuggyako nga yasendebwasendebwa omu oba omulala.

17 Era nze, Leki, okusinziira ku bintu bye nsomye, kisaanidde okulowooza nti malayika wa Katonda, okusinziira ku ekyo ekiwandiikiddwa, yali agudde okuva mu ggulu; n’olwekyo, yafuuka setaani, olw’okwefunira ekyo ekyali ekibi mu maaso ga Katonda.

18 Era olw’okuba yali agudde okuva mu ggulu, era n’afuuka omunakuwavu emirembe gyonna, yagezaako okunakuwaza nate abantu bonna. N’olwekyo, n’agamba Kaawa, weewaawo, ddala omusota ogwo oggw’edda, nga ye setaani, nga ye taata w’obulimba bwonna, kyeyava agamba nti: Lya ku kibala ekyagaanibwa, era tojja kufa, naye ggwe okubeera nga Katonda, ng’omanyi ekirungi n’ekibi.

19 Era oluvannyuma nga Adamu ne Kaawa bamaze okulya ku kibala ekyagaanibwa ne bagobebwa mu lusuku Edeni, okulima ensi.

20 Era bazadde abaana; weewaawo, ddala amaka g’ensi yonna.

21 Era ennaku z’abaana b’abantu zawanvuyizibwa, okusinziira ku kigendererwa kya Katonda, nti balyoke beenenye nga bakyali mu mubiri; n’olwekyo, embeera yaabwe yafuuka embeera ey’okugezesebwa, era n’ebiseera byabwe ne biwanvuyizibwa, okusinziira ku biragiro Mukama Katonda bye yawa abaana b’abantu. Kubanga yawa ekiragiro abantu bonna okwenenya; kubanga yalaga eri abantu bonna nti bali babuze, olw’okusobya kwa bazadde baabwe.

22 Era kaakano, laba, singa Adamu teyasobya teyandigudde, naye yandisigadde mu lusuku Edeni. Era ebintu byonna ebyatondebwa byandisigadde mu mbeera y’emu gye byalimu oluvannyuma lw’okutondebwa; era biteekwa okuba nga byandisigadde bityo emirembe gyonna, era nga tebirina nkomerero.

23 Era tebandizadde baana; n’olwekyo bandisigadde mu mbeera ey’obutanenyezebwa, nga tebalina ssanyu, kubanga baali tebamanyi nnaku; nga tebakola kalungi, kubanga baali tebamanyi kibi.

24 Naye laba, ebintu byonna bikoleddwa mu magezi g’oyo amanyi ebintu byonna.

25 Adamu yayonoona olwo abantu basobole okubeerawo; era abantu webali, nti balyoke bafune essanyu.

26 Era Masiya ajja mu kutukirira kw’ebiro, alyoke anunule abaana b’abantu okuva mu kugwa mu kibi. Era olw’okuba banunuliddwa okuva mu kugwa mu kibi bafuuse ba ddembe emirembe gyonna, nga bamanyi ekirungi n’ekibi; okukola ku lwabwe so si kukolebwaako, okuggyako okubonerezebwa ku lw’etteeka ku lunaku olukulu era olw’enkomerero, okusinziira ku biragiro Katonda by’awadde.

27 N’olwekyo, abantu ba ddembe okusinziira ku mubiri; era n’ebintu byonna bibaweereddwa ebisaanira eri omuntu. Era ba ddembe okulonda eddembe n’obulamu obutaggwaawo, okuyita mu Mutabaganya omukulu ow’abantu bonna, oba okulonda obuwambe n’okufa, okusinziira ku buwambe n’amaanyi ga setaani; kubanga agezaako okufuna abantu bonna okuba mu nnaku nga ye.

28 Era kaakano, batabani bange, njagala mutunuulire Omutabaganya omukulu, era muwulirize ebiragiro bye ebikulu; era mubeere beesigwa eri ebigambo bye, era mulonde obulamu obutaggwaawo, okusinziira ku kigendererwa ky’Omwoyo we Omutukuvu;

29 Era temulonda kufa okw’olubeerera, okusinziira ku kigendererwa eky’omubiri era n’ekibi ekigulimu, ekiwa omwoyo wa setaani amaanyi okuwamba, okubaserengesa mu ggeyeena, alyoke abafuge mu bwakabaka bwe.

30 Njogedde ebigambo bino ebitono eri mwenna, batabani bange, mu nnaku ezisembayo ez’okugezesebwa kwange; era nnonze ekitundu ekirungi, okusinziira ku bigambo bya nnabbi. Era sirina kigendererwa kirala kyonna okuggyako embeera ennungi ey’emyoyo gyammwe ey’olubeerera. Amiina.