Essuula 11
Yakobo yalaba Omununuzi we; Etteeka lya Musa kabonero akalaga Kristo era ne kakakasa nti ajja kujja. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era kaakano, Yakobo yayogera ebintu ebirala bingi eri abantu bange mu kiseera ekyo; wabula ebintu bino byokka bye ndetedde okuwandiikibwa, kuba ebintu bye mpandiise bimala.
2 Era kaakano nze, Neefi, mpandiika ebisingawo ku bigambo bya Isaaya, kubanga emmeeme yange esanyukira ebigambo bye. Kubanga nja kugeraageranya ebigambo bye eri abantu bange, era nja kubisindika eri abaana bange bonna, kubanga ddala yalaba Omununuzi wange, ddala nga nange bwe mmulabye.
3 Era muganda wange, Yakobo, naye amulabye nga nange bwe mmulabye; n’olwekyo, nja kuweereza ebigambo byabwe eri abaana bange okubakakasa nti ebigambo byange bituufu. N’olwekyo, olw’ebigambo by’abasatu, Katonda agamba, nja kunyweza ekigambo kyange. Wabula, Katonda aweereza abajulizi abalala, era akakasa ebigambo bye byonna.
4 Laba, emmeeme yange esanyukira mu kuwa abantu bange amazima g’okujja kwa Kristo; kubanga, olw’ensonga eno etteeka lya Musa kyeryava liweebwa; era n’ebintu byonna ebiweereddwa Katonda okuva ku ntandikwa y’ensi, eri omuntu, bye bimu ku buboneero bwe.
5 Era n’omwoyo gwange gusanyukira mu ndagaano za Mukama z’akoze eri bajjajjaffe; weewaawo, emmeeme yange esanyukira mu kisa kye, era ne mu bwenkanya bwe, era n’amaanyi ge, era n’okusaasira mu nteekateeka enkulu era ey’olubeerera ey’okununulibwa okuva mu kufa.
6 Era emmeeme yange esanyukira mu kuwa abantu bange nti okuggyako nga Kristo azze abantu bonna balina okusaanawo.
7 Kubanga bwe waba nga tewali Kristo tewabaawo Katonda; era bwe waba nga tewali Katonda tetusobola kubawo, kubanga tekyandisobose kubaawo kutondebwa. Naye waliwo Katonda, era ye Kristo, era ajja mu bujjuvu obw’ekiseera kye.
8 Era kaakano mpandiika ebimu ku bigambo bya Isaaya, nti buli yenna ku bantu bange aliraba ebigambo bino ayimuse omutima gwe era asanyuke ku lw’abantu bonna. Kaakano bino bye bigambo, era muyinza okubigeraageranya gye muli n’eri abantu bonna.