Scriptures
2 Neefi 25


Essuula 25

Neefi asannyukira mazima ameereere; obunnabbi bwa Isaaya bujja kutegeerekeka mu nnaku ezisembayo; Abayudaaya bajja kudda okuva e Babulooni, bakomerere Masiya, era basaasaane era n’okubonyaabonyezebwa; bajja kukomezebwawo bwe banakkiririza mu Masiya; Ajja kusooka kujja emyaka lukaaga oluvannyuma lwa Leki okuva e Yerusaalemi; Abaneefi bakuuma etteeka lya Musa era ne bakkiririza mu Kristo, oyo ye Mutukuvu wa Isiraeri. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Kaakano nze, Neefi, njogera mu ngeri y’emu ku bikwata ku bigambo ebyo bye mpandiise, ebyo ebyayogerwa akamwa ka Isaaya. Kubanga laba, Isaaya yayogera ebintu bingi ebyali ebizibu eri abangi ku bantu bange okutegeera; kubanga bo tebamanyi bikwata ku ngeri ya kuwa bunnabbi mu Bayudaaya.

2 Kubanga nze, Neefi, sibayigirizza bintu bingi ku bikwata ku ngeri y’Abayudaaya; kubanga ebikolwa byabwe byali bikolwa bya kizikiza, era n’enkola zaabwe zaali nkola za mizizo.

3 N’olwekyo, mpandiikira abantu bange, eri abo bonna abalifuna ebintu bino bye mpandiika oluvannyuma lw’ekiseera kino, nti basobole okumanya okulamula kwa Katonda, nti kujja ku mawanga gonna, okusinziira ku kigambo ekyo ky’ayogedde.

4 N’olwekyo, muwulirize, mmwe abantu bange, abo ab’ennyumba ya Isiraeri, era muwe okutu eri ebigambo byange; kubanga olw’okuba ebigambo bya Isaaya sibyangu bya kutegeera gye muli, wabula, byangu byakutegeera eri abo bonna abajjuziddwa omwoyo gw’obunnabbi. Naye mbawa obunnabbi, okusinziira ku mwoyo ali mu nze; n’olwekyo nja kuwa obunnabbi okusinziira ku mazima ameereere agabadde nange okuva mu kiseera kye nnava mu Yerusaalemi ne Kitange; kubanga laba, emmeeme yange esanyukira mu mazima ameereere eri abantu bange, nti basobole okuyiga.

5 Weewaawo, era emmeeme yange esanyukira ebigambo bya Isaaya, kubanga nnava mu Yerusaalemi, era amaaso gange galabye ebintu by’Abayudaaya, era mmanyi nti Abayudaaya bategeera ebintu bya bannabbi, era tewali bantu balala bategeera bintu ebyo ebyayogerwa eri Abayudaaya nga bo, okuggyako nga bayigirizibwa okusinziira ku bintu eby’Abayudaaya.

6 Naye laba, nze, Neefi, siyigiriza baana bange okusinziira ku ngeri y’Abayudaaya; naye laba, nze, ku lwange, mbadde e Yerusaalemi, n’olwekyo mmanyi ebikwata ku bitundu ebigyetoolodde; era njogedde eri abaana bange ku bikwata ku kulamula kwa Katonda, okutuukiridde mu Bayudaaya, eri abaana bange, okusinziira kw’ebyo byonna Isaaya by’ayogedde, era byo sibiwandiika.

7 Naye laba, ŋŋenda mu maaso n’obunnabbi obwange, okusinziira ku mazima gange ameereere; mu ekyo kye mmanyi nti tewali muntu asobola kukola nsobi; wabula, mu biro ebyo obunnabbi bwa Isaaya bwe bulituukirizibwa abantu balimanya obukakafu, mu biseera lwe bulituukirira.

8 N’olwekyo, bya mugaso eri abaana b’abantu, era oyo alowooza nti tebiri, nja kwogerera ddala eri abo, era n’ebigambo mbiragiriza eri abantu bange; kubanga nkimanyi nti biriba bya mugaso nnyo gye bali mu nnaku ezisembayo; kubanga ku lunaku olwo balibitegeera; n’olwekyo, olw’obulungi bwabwe kyenvudde mbiwandiika.

9 Era ng’omulembe ogumu bwe gusaanyiziddwawo mu Bayudaaya olw’obubi, ddala bwe batyo bwe bazikirizibwa okuva ku mulembe okudda ku mulembe okusinziira ku bibi byabwe; era tewabangawo n’omu ku bo azikirizibwa mpozzi nga kyali kyalagulwa bannabbi ba Mukama.

10 N’olwekyo, kyababuulirwa ekikwata ku kuzikirizibwa okulina okubatuukako, amangu ddala nga kitange amaze okuva mu Yerusaalemi; wabula, baakakanyaza emitima gyabwe; era okusinziira ku bunnabbi bwange basaanyiziddwawo, okuggyako abo abatwalibwa mu buwambe mu Babulooni.

11 Era kaakano kino nkyogera olw’omwoyo ali mu nze. Era wadde nga batwaliddwa balidda nate, era ne batwala ensi ya Yerusaalemi; n’olwekyo, balizzibwa mu nsi ey’obusika bwabwe.

12 Naye, laba, baliba n’entalo, n’eŋŋambo z’entalo; era olunaku bwe lunaatuuka nti omwana omu yekka owa Kitaffe, weewaawo, ne Kitaffe ow’eggulu n’ensi, aly’eraga gye bali mu mubiri, laba, bajja kumugaana, olw’ebibi byabwe, n’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’obukalubo bw’ensingo zaabwe.

13 Laba, bajja kumukomerera; era oluvannyuma lw’okuteekebwa mu ntaana okumala ebbanga ery’ennaku ssatu arizuukira okuva mu bafu, n’okuwonya mu biwaawaatiro bye; era abo bonna abalikkiririza mu linnya lye balirokolebwa mu bwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, emmeeme yange esanyuka okuwa obunnabbi ku ye, kubanga ndabye olunaku lwe, era omutima gwange gutendereza erinnya lye ettukuvu.

14 Era laba lulituuka oluvannyuma nga Masiya azukidde okuva mu bafu, era yeyolese eri abantu be, eri abangi nga bwe banakkiririza mu linnya lye, laba, Yerusaalemi erizikirizibwa nate; kubanga zibasanze abo abalwanyisa Katonda n’abantu ab’ekkanisa ye.

15 N’olwekyo, Abayudaaya balisaasaanyizibwa mu mawanga gonna; weewaawo, era ne Babulooni alizikirizibwa; n’olwekyo, Abayudaaya balisaasaanyizibwa amawanga amalala.

16 Era oluvannyuma nga bamaze okusaasaanyizibwa, era nga Mukama Katonda ababonerezza okuyita mu mawanga amalala okumala ebbanga ery’emirembe emingi, weewaawo, awamu n’okukka wansi okuva ku mulembe okutuuka ku mulembe okutuusa lwe balisikirizibwa okukkiririza mu Kristo, Omwana wa Katonda, era n’omutango, ogwo ogutaliiko kkomo eri abantu bonna; era olunaku olwo bwe lulituuka nti balikkiririza mu Kristo, ne basinza Kitaffe mu linnya lye, n’emitima emirongoofu n’engalo ezitukula, so ne batalindirira Masiya mulala, olwo, mu kiseera ekyo, olunaku lulituuka lwe kiribetaagisa okuba nti balina okukkiriza ebintu bino.

17 Era Mukama aligolola omukono gwe nate omulundi ogw’okubiri okukomyawo abantu be okuva mu mbeera yaabwe ey’okubula era n’okugwa. N’olwekyo, aligenda mu maaso n’okukola omulimu ogw’ekitalo era ogw’ekyewuunyo mu baana b’abantu.

18 N’olwekyo, alireeta ebigambo bye gye bali, ebigambo ebyo ebiribasalira omusango ku lunaku lw’enkomerero, kubanga biribaweebwa olw’ensonga ey’okubakkirizisa Masiya ow’amazima, oyo gwe baagaana, era n’okubakkirizisa nti tebeetaaga kuddamu kulindirira Masiya okujja, kubanga tewali mulala alijja, okuggyako nti aliba Masiya ow’obulimba anaalimba abantu; kubanga waliwo Masiya omu yekka bannabbi gwe baayogerako, era oyo Masiya ye wuuyo alina okugaanibwa Abayudaaya.

19 Kubanga okusinziira ku bigambo bya bannabbi, Masiya ajja mu myaka lukaaga okuva mu kiseera kitange lwe yava e Yerusaalemi; era okusinziira ku bigambo bya bannabbi bwe biri, era n’ekigambo kya malayika wa Katonda, erinnya lye liriba Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.

20 Kale kaakano, baganda bange, njogedde mazima mereere nti temuyinza kusobya. Era nga Mukama Katonda bw’ali omulamu oyo eyaggya Isiraeri mu nsi ye Misiri, era n’awa Musa obuyinza okuwonya amawanga oluvannyuma nga balumiddwa emisota egy’obusagwa, singa banatunula n’amaaso gaabwe ku musota gwe yayimusa mu maaso gaabwe, era n’amuwa n’obuyinza okukuba olwazi amazzi ne gavaamu; weewaawo, laba nkugamba nti nga ebintu bino bwe biri eby’amazima, era nga Mukama Katonda bw’ali omulamu, tewali linnya ddala lyaweebwa wansi w’eggulu okuggyako nga lirina kuba lya Yesu Kristo ono, oyo gwe njogeddeko, mu ye omuntu mw’ayinza okulokolebwa.

21 N’olwekyo, olw’ensonga eno Mukama Katonda kyeyava asuubiza gye ndi nti ebintu bino bye mpandiika biriterekebwa era birikuumibwa, era ne biweebwa ezzadde lyange okuva ku mulembe okudda ku mulembe, nti ekisuubizo kisobole okutuukirizibwa eri Yusufu, nti ezzadde lye olwo terigenda kuzikirira kasita ensi ebeera nga eyimiridde.

22 N’olwekyo, ebintu bino bijja kutambula okuva ku mulembe okudda ku mulembe kasita ensi eribeeranga eyimiridde; era birigenda nga Katonda bw’ayagala era n’okusiima kwa Katonda; era n’amawanga ago agalibitwala galiramulwa bo omusango okusinziira ku bigambo ebyo ebiwandiikiddwa.

23 Kubanga tufuba nnyo okuwandiika, okusendasenda abaana baffe, era ne baganda baffe, okukkiririza mu Kristo, era n’okutabagana ne Katonda; kubanga ffe tumanyi nti tulokolebwa lwa kisa, oluvannyuma lwa byonna bye tusobola okukola.

24 Era, newakubadde nga tukkiririza mu Kristo, tukuuma etteeka lya Musa, era tulindirira Kristo n’obumalirivu, okutuusa nga etteeka lituukiridde.

25 Kubanga, olw’ensonga eno etteeka kyeryava liweebwa; n’olwekyo etteeka lifuuse ffu gye tuli, era ffe tufuulibwa abalamu mu Kristo olw’okukkiriza kwaffe; so nga ate tukuuma etteeka ku lw’ebiragiro.

26 Era twogera ku Kristo, tusanyukira mu Kristo, tubuulira ku Kristo, tuwa obunnabbi ku Kristo, era tuwandiika okusinziira nga obunnabbi bwaffe bwe buli, nti abaana baffe balyoke bamanye ensibuko gye bayinza okwesiga okusonyiyibwa ebibi byabwe.

27 N’olwekyo, twogera ku bikwata ku tteeka olwo abaana baffe balyoke bategeere obuffu bw’etteeka; era nabo, olw’okutegeera obuffu bw’etteeka, basobole okulindirira obulamu obwo obuli mu Kristo, era bategeere ekigendererwa lwaki etteeka lyaweebwa. Era oluvannyuma ng’etteeka lituukiriziddwa mu Kristo, awo nga tebeetaaga kukakanyaza mitima gyabwe gy’ali ng’etteeka eryali lisaanye okuggibwawo.

28 Era kaakano mulabe, bantu bange, mmwe muli abantu abakakanyavu b’ensingo; n’olwekyo njogedde mazima mereere gye muli, olwo mmwe muleme okuntegeera mu bukyamu. Era ebigambo bye njogedde binaabeeranga obujulirwa gye muli; kubanga bimala okuyigiriza omuntu yenna ekkubo ettuufu; kubanga ekkubo ettuufu kwe kukkiririza mu Kristo era n’obutamwegaana; kubanga bwe munamwegaana era mugaana ne bannabbi era n’etteeka.

29 Era kaakano, laba, mbagamba nti ekkubo ettuufu kwe kukkiririza mu Kristo, era nemutamwegaana; era Kristo ye Mutukuvu wa Isiraeri; n’olwekyo mmwe muteekeddwa okuvunnama mu maaso ge, era ne mumusinza n’obuvumu bwammwe bwonna, n’endowooza, era n’amaanyi, era n’emmeeme zammwe zonna; era mmwe bwe munaakolanga kino mmwe mu buli ngeri yonna temulisuulibwa bweru.

30 Era, nga bwe kiri nti kiriba kya mugaso, mmwe mulina okukuuma ebikolebwa era n’obulombolombo bwa Katonda okutuusa ng’etteeka lituukiriziddwa eryo eryaweebwa eri Musa.