Scriptures
2 Neefi 19


Essuula 19

Isaaya ayogera mu ngeri ya masiya; Abantu abali mu kizikiza baliraba ekitangaala ekinene; Omwana atuzaaliddwa ffe; Aliba Omulangira ow’emirembe era alifuga ku nnamulondo ya Dawudi; Geraageranya Isaaya 9. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Wadde nga kiri kityo, tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Edda yanyoomya ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera eky’oluvannyuma n’abonyaabonya nnyo, mu kkubo ery’Ennyanja Emmyufu, emitala wa Yoludaani, Ggaliraaya ey’amawanga.

2 Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye ekitangaala eky’amaanyi; abo abaatuulanga mu nsi y’ekisiikirize ky’okufa, ekitangaala kyaakidde bo.

3 Oyazizza eggwanga, oyongedde ku ssanyu lyabwe; basanyukira mu maaso go okusinziira ku ssanyu ery’omu makungula, era nga abasajja bwe basanyuka nga bagereka omunyago.

4 Kubanga omenye ekikoligo ky’omugugu gwe, era n’omuggo ogw’enkoni ogw’ekibegabega kye, oluga lw’omunyigiriza we.

5 Kubanga ebyokulwanyisa byonna eby’oyo alina ebyokulwanyisa mu luyoogaano, n’ebyambalo ebikulukuunyiziddwa mu musaayi, naye biriba bya kwokebwa bwokebwa, n’enku ez’omuliro.

6 Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow’obulenzi aweereddwa ffe, n’okufuga kunaabanga ku kibegabega kye; n’erinnya lye liriyitibwa nti wa Kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow’amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omulangira ow’emirembe.

7 Okufuga kwe n’emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku nnamulondo ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe okubuteekateeka, n’okubuwanirira n’obwekanya era n’obutuukirivu okuva leero ne gye bujja, ddala olubeerera. Obunyiikivu bwa Mukama ow’eggye bulituukiriza ekyo.

8 Mukama yaweereza Yakobo ekigambo kye, ne kibeera ku Isiraeri.

9 Era abantu bonna balimanya, ddala Efulayimu n’abatuula mu Samaliya, aboogera n’amalala n’obukakanyavu bw’omutima:

10 Amatoffaali gagudde, naye tulizimbya amayinja amateme; enkoma zitemeddwawo, naye tulizifuula ensambya.

11 Mukama kyaliva agulumiza abalabe ba Lezini okumulumba, era aligatta awamu abalabe be;

12 Abasuuli mu maaso, n’Abafirisuuti emabega; era balirya Isiraeri n’akamwa akayasamye. Olw’ebyo byonna obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, yadde omukono gwe gukyagoloddwa.

13 Naye abantu tebaakyukiranga oyo eyabakuba, so tebaanoonyanga Mukama ow’eggye.

14 N’olwekyo Mukama alisala ku Isiraeri omutwe n’omukira, ettabi era n’ekitoogo, mu lunaku lumu.

15 Omusajja omukadde era ow’ekitiibwa gwe mutwe; ne nnabbi ayigiriza eby’obulimba, gwe mukira.

16 Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya; n’abo be bakulembera bazikirizibwa.

17 Kubanga Mukama talisanyukira bavubuka baabwe, so talisaasira baana baabwe abafiiriddwa bakitaabwe ne bannamwandu baabwe; kubanga buli muntu avvoola era akola ebibi, na buli kamwa koogera eby’obusiru. Olw’ebyo byonna obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, yadde omukono gwe gukyagoloddwa.

18 Kubanga obubi bwokya ng’omuliro; gumalawo emyeramannyo n’amaggwa, weewaawo, gukoleera mu bisaka eby’omu kibira, ebire eby’omukka ebikutte ne binyooka ne birinnya waggulu.

19 Olw’obusungu bwa Mukama ow’eggye ensi eyiiridde ddala, era n’abantu bali ng’enku ez’omuliro; tewali asonyiwa muganda we.

20 Era omu alisika ku mukono ogwa ddyo, n’alumwa enjala; era alirya ku mukono ogwa kkono, so tebalikkuta; balirya buli muntu omukono gw’omubiri gwe;

21 Manase, Efulayimu; era ne Efulayimu, Manase; era bombi wamu balikyawa Yuda. Olw’ebyo byonna obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, yadde omukono gwe gukyagoloddwa.