Scriptures
2 Neefi 21


Essuula 21

Ekikolo kya Yese (Kristo) kijja kulamula mu butuukirivu; Okumanya Katonda kulibuna ensi mu Myaka lukumi; Mukama aliyimusa bendera era n’akuŋŋaanya Isiraeri; Geraageranya Isaaya 11. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era mu kikolo kya Yese muliva ensibuka, era ettabi lirikula okuva mu mirandira gye.

2 Era n’Omwoyo wa Mukama alibeera ku ye, omwoyo w’amagezi n’okutegeera, omwoyo w’okuteesa n’amaanyi, omwoyo w’okumanya n’okutya Mukama;

3 Era anaamufuula okuba n’okutegeera okw’amangu mu kutya Mukama, so taasalenga misango ng’okulaba kw’amaaso ge bwe kunaabanga, so taanenyenga ng’okuwulira kw’amatu ge bwe kunaabanga.

4 Naye n’obutuukirivu aliramula omwavu, era n’okukangavvula n’obwenkanya olw’abawombeefu ab’oku nsi; era alikuba ensi n’oluga lw’akamwa ke, n’okussa okw’emimwa gye alitta ababi.

5 Era obutuukirivu buliba lukoba lwa mu kiwato kye, n’obwesigwa buliba lukoba lwa mu mugongo gwe.

6 Omusege gunaasulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo eneegalamiranga wamu n’omwana gw’embuzi; n’ennyana n’omwana gw’empologoma n’endaawo wamu; era omwana omuto alizikulembera.

7 N’ente n’eddubu ziririira wamu; abaana baazo baligalamira wamu; n’empologoma erirya omuddo ng’ente.

8 Era omwana ayonka alizannyira ku kinnya eky’enswera, n’omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukono gwe ku mpampagama y’essalambwa.

9 Tebiriruma newakubadde okuzikiriza mu lusozi lwange olutukuvu lwonna, kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.

10 Awo olulituuka ku lunaku luli ekikolo kya Yese, ekiyimirira okuba bendera y’abantu, eri ekyo Abamawanga kye banaanoonya; n’ekifo kye eky’okuwummuliramu kiriba kya kitalo.

11 Era lulituuka ku lunaku luli Mukama alissaawo nate omukono gwe omulundi ogw’okubiri okukomyawo abalifikkawo ku bantu be abalisigalawo, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.

12 Era aliwanikira amawanga bendera, era alikuŋŋaanya abaagobebwa mu Isiraeri, n’aleeta wamu abaasaasaanyizibwa ku Yuda okubaggya mu nsonda ennya ez’ensi.

13 Era obuggya bwa Efulayimu buliggwaawo, n’abo abalabe ba Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya, ne Yuda tajja kunakuwaza Efulayimu.

14 Era balibuuka ne bagwa ku kibegabega ky’Omufirisuuti ebugwanjuba; balyetaba mu kunyaga abaana ab’ebuvanjuba; baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu; n’abaana ba Amoni balibagondera.

15 Era Mukama alizikiririza ddala olulimi olw’ennyanja y’e Misiri; era n’empewo ye ey’amaanyi aliwuuba omukono gwe waggulu ku mugga, era n’agukuba mu migga omusanvu, n’asomosa abantu n’engatto enkalu.

16 Era waliba oluguudo eri abo abalifikkawo ku bantu be, abalisigalawo, okuva mu Bwasuli; nga bwe lwaliwo eri Isiraeri ku lunaku lwe yalinnyirako okuva mu nsi y’e Misiri.