Essuula 16
Isaaya alaba Mukama; Ebibi bya Isaaya bisonyiyibwa; Ayitiddwa okuwa obunnabbi; Awa obunnabbi ku kugaana kw’Abayudaaya enjigiriza ya Kristo; Abafikkawo bajja kudda; Geraageranya Isaaya 6. Nga 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Mu mwaka kabaka Uzziya mmwe yafiira, nnalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ey’obwakabaka, waggulu era nga asituliddwa, era ekirenge kye nga kijjudde yeekaalu.
2 Basseraafi baali bayimiridde waggulu we; buli omu yalina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri yabibikka ku maaso ge, era n’ebibiri yabibikka ku bigere bye, era n’ebibiri yabibuusa.
3 Omu n’ayogerera waggulu eri munne ng’agamba nti: Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, ye Mukama ow’eggye; ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.
4 Era n’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyayogerera waggulu, era ennyumba yajjula omukka.
5 Awo ne ndyoka njogera nti: Zinsanze! kubanga nfudde; kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow’eggye.
6 Omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi, ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne magalo;
7 Era n’alizazika mu kamwa kange, n’ayogera nti: Laba; lino likoonye ku mimwa gyo; era obubi bwo buggiddwawo, era ebibi byo birongoosebbwa.
8 Nate ne mpulira eddoboozi lya Mukama, nga ligamba nti: Naatuma ani, era anaatugenderera ani? Olwo ne ndyoka njogera nti Nze nzuuno: ntuma nze.
9 Era n’ayogera nti: Genda obuulire abantu bano nti; Muwulire ddala, naye tebantegeera; era mmwe mulabe ddala, naye temwetegereza.
10 Savuwaza omutima gw’abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe, n’okuwulira n’amatu gaabwe, n’okutegeera n’omutima gwabwe, n’okukyuka, era n’okuwonyezebwa.
11 Awo ne ndyoka njogera nti: Mukama, birituusa wa okubaawo? Era n’addamu nti: Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abituulamu, era ne mu mayumba nga temuli muntu, ensi ddala neeba matongo,
12 Era Mukama ajjemu abantu abatutte wala, kubanga wanaabaawo ebifulukwa nga bingi wakati mu nsi.
13 Naye walibaawo ekitundu eky’ekkumi, era balikomawo, era baliibwe ng’omuti omumyuliru, era ng’omuvule ekikolo kyagwo nga kisigadde oluvunnyuma lw’okusuula ebikoola byagwo; kale nno ezzadde ettukuvu liribeera eky’omugaso olw’ekyo.