Scriptures
2 Neefi 18


Essuula 18

Kristo ajja kuba ng’ejjinja ery’okwekoona era n’olwazi olw’okunyiiza; Munoonye Mukama, so si balogo abalingiriza; Mudde eri amateeka n’obujulizi okufuna okuluŋŋamizibwa; Geraageranya Isaaya 8. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Nate, ekigambo kya Mukama ky’agamba nti: Weetwalire ekipande ekinene, era okiwandiikeko n’ekkalaamu ey’omuntu ebikwata ku Makeru-salalu-kasu-bazi;

2 Era nange ndyetwalira abajulirwa abeesigwa okuwandiika, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.

3 Era ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi; era n’aba olubuto, n’azaala omwana wa bulenzi. Mukama n’alyoka aŋŋamba nti: Mutuume erinnya, Makeru-salalu-kasu-bazi.

4 Kubanga laba, omwana taamanye kukaaba nti, Kitange, era nti Mmange, nga obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gw’e Samaliya biggyibwa mu maaso ga kabaka w’e Bwasuli.

5 Mukama n’ayogera nange nate omulundi omulala ng’agamba nti:

6 Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi ga Sirowa agatambula empola, ne basanyukira Lezini n’omwana wa Lemaliya;

7 Kale n’olwekyo, laba, Mukama ayambusa ku bo amazzi ag’omugga, ag’amaanyi era amangi, ddala kabaka w’e Bwasuli era n’ekitiibwa kye kyonna; era alyambuka okusukkirira ensalosalo ze zonna, era alikulukuta ku ttale wonna.

8 Era alyeyongerayo mu Yuda; alikulukuta era aliyitamu; alituuka ne mu bulago; era n’okugololwa kw’ebiwaawaatiro bye kulibuna obugazi bw’ensi yo, Ayi Imanueri.

9 Mwegatte, mmwe amawanga, era mulimenyekamenyeka mu bitundutundu; era mutege amatu, mmwe mwenna ab’omu nsi ez’ewala; mwesibe, era mulimenyekamenyeka mu bitundutundu; mwesibe, era mulimenyekamenyeka mu bitundutundu.

10 Muteese ebigambo wamu, era birizikirizibwa; mwogere ekigambo, era tekiriyimirira; kubanga Katonda ali wamu naffe.

11 Kubanga Mukama yayogera nange bw’atyo n’omukono ogw’amaanyi, n’anjigiriza nneme okutambulira mu kkubo ly’abantu bano, ng’agamba nti:

12 Temwogera nti Ekkobaane, eri bonna eggwanga lino bye liriyogera, Ekkobaane; so temutya kutya kwabwe, wadde okuteremuka.

13 Mukama ow’eggye oyo gwe muba mutukuza; era oyo abeerenga entiisa yammwe, era oyo abeerenga ensisi yammwe.

14 Era aliba ng’awatukuvu; naye aliba ng’ejjinja ery’okwesittalwako era olwazi olugwisa eri ennyumba zombi eza Isiraeri, okuba omutego era ekyambika eri abo abatuula mu Yerusaalemi.

15 Era bangi mu bo baliryesittalako, ne bagwa, ne bamenyeka, ne bategebwa, ne bawambibwa.

16 Sibira ddala obujulirwa, osse akabonero ku mateeka mu bayigirizwa bange.

17 Era ndirindirira Mukama, akweka amaaso ge ennyumba ya Yakobo, era ndimunoonya.

18 Laba, nze n’abaana Mukama b’ampadde bya kuba bubonero era bya kuba byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow’eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.

19 Era bwe babagambanga nti: Mubuuze abo abaliko emizimu n’abafumu, era n’abalira ng’ennyonyi era abajoboja; eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waabwe, nti abalamu banawulira okuva mu bafu?

20 Tudde eri amateeka n’obujulirwa; era bwe batayogera okusinziira kukigambo kino, kiba kubanga tebalina kitangaala mu bo.

21 Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala, era lulituuka nti bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga, ne bakolima nga balayira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, ne batunuza amaaso gaabwe waggulu.

22 Era banaatunuuliranga ensi era ne balaba ennaku, n’obutakkiriza, era n’ekizikiza eky’okubonyaabonyezebwa; era baligobebwa eri ekizikiza.