Essuula 26
Kristo ajja kuweereza Abaneefi; Neefi alabikirwa okuzikirizibwa kw’abantu be; Bajja kwogera okuva mu nfuufu; Abamawanga bajja kuzimba ekkanisa ez’obulimba n’emikago egy’ekyama; Mukama agaana abantu okwenyigira mu mbuulira ey’obulimba. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Era oluvanyuma Kristo bw’alizuukira okuva mu bafu aly’eyoleka gye muli, baana bange, era ne baganda bange abaagalwa; era n’ebigambo by’alyogera gye muli lye liribeera etteeka mmwe lye mulikola.
2 Kubanga laba, mbagamba nti ndabye nga emirembe mingi giriyita, era walibaawo entalo ez’amaanyi era n’obukuubagano mu bantu bange.
3 Era oluvannyuma Masiya bw’aliba ajja walibaawo obubonero obuweebwa abantu bange obw’okuzaalibwa kwe, era nate n’obw’okufa kwe n’okuzuukira; era olunaku olwo luliba lukulu era lwantiisa eri ababi, kubanga balizikirira; era bazikirira olw’okugoba bannabbi, era n’abatukuvu, era ne babakuba amayinja, n’okubatta; n’olwekyo okukaaba kw’omusaayi gw’abatukuvu kulirinnya waggulu eri Katonda okuva mu ttaka nga gubalumiriza.
4 N’olwekyo, abo bonna ab’amalala, era n’abakola obubi, olunaku olwo olujja lulibookya, bw’ayogera Mukama ow’eggye, kubanga baliba ng’essubi.
5 Era nabo abatta bannabbi, era n’abatukuvu, obuziba bw’ensi bulibamira, bw’ayogera Mukama ow’eggye; era n’ensozi ziribabikka, era n’embuyaga ziribatwala, era n’ebizimbe biribagwira ne bibabeteenta mu butundutundu ne bibasekula okubafuula obuwunga.
6 Era balikyalirwa n’okubwatuka, era n’okumyansa, era ne musisi, era n’okuzikirizibwa okw’engeri zonna, kubanga omuliro ogw’obusungu bwa Mukama gunaabubuubuuka eri bo, era baliba ng’essubi, era n’olunaku olwo olujja lulibasaannyaawo, bw’ayogera Mukama ow’eggye.
7 Ayi obulumi, era n’ennyiike y’omwoyo gwange olw’okufiirwa n’okuviibwako abantu bange abattibwa! Kubanga nze, Neefi, nkirabye, era mbula okusaanawo mu maaso ga Mukama; naye nnina okuwanjagira Katonda wange: Amakubo go gabwenkanya.
8 Naye laba, abatuukirivu abawuliriza ebigambo bya bannabbi, era ne batabizikiriza, era nga balindirira Kristo n’obumalirivu olw’obubonero obuweereddwa, wadde nga waliwo okuyigganyizibwa kwonna; laba, be baabo abatalisaanawo.
9 Naye Omwana w’obutuukirivu alirabikako gye bali; era alibawonya, era baliba n’emirembe nga balinaye, okutuusa emirembe esatu bwe giriba giyiseewo, era nga bangi ku b’omulembe ogw’okuna baliba bafiiridde mu butuukirivu.
10 Era ebintu bino nga bimaze okuyita okuzikirizibwa okw’amangu kujja eri abantu bange; kubanga, wadde nga waliwo obulumi bw’omwoyo gwange, nkirabye; n’olwekyo, nkimanyi nti kijja kutuukirira; era beetunda ku lw’obutalimu; kubanga, empeera y’amalala gaabwe n’obusirusiru bwabwe balikungula okuzikirizibwa; kubanga bewaayo eri setaani era ne balondawo ebikolwa eby’ekizikiza okusinga ekitangaala, n’olwekyo balina okukka mu ggeyeena.
11 Kubanga Omwoyo wa Mukama tajja kulafuubana na muntu bulijjo. Era omwoyo bw’alekeraawo okulafuubana n’omuntu olwo ne wajja okuzikirizibwa okw’amangu, era kino kinakuwaza omwoyo gwange.
12 Era nga bwe nayogera ku bikwata ku kukkirizisa Abayudaaya, nti Yesu ye Kristo yennyini, kyetaagisa okuba nti Abamawanga bakkirizisibwa nabo nti Yesu ye Kristo, Katonda ow’olubeerera;
13 Era nti yeeyoleka eri abo bonna abamukkiririzaamu, olw’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu; weewaawo, eri buli ggwanga, ekika, olulimi, era n’abantu, ng’akola ebyamagero eby’amaanyi, obubonero, n’ebyewuunyo, mu baana b’abantu okusinziira ku kukkiriza kwabwe.
14 Naye laba, mpa obunnabbi gye muli ku bikwata ku nnaku ezisembayo; ku bikwata ku nnaku Mukama Katonda lw’alireeta ebintu bino eri abaana b’abantu.
15 Oluvannyuma lw’ezzadde lyange era n’ezzadde lya baganda bange nga bakendedde mu kukkiriza, era nga baliba bakubiddwa Abamawanga; weewaawo, oluvannyuma nga Mukama Katonda agumbye okubeetoloola, era bw’aliba nga abazingiza n’olusozi, era nga ayimusizza ebigo; era oluvannyuma bwe baliba nga bamaze okutekebwa wansi mu nfuufu, ddala nga tebakyaliwo, naye ate ebigambo by’abatuukirivu biriwandiikibwa, era n’essaala z’abakkiriza ziriwulirwa, era n’abo bonna abakendedde mu kukkiriza tebalyerabirwa.
16 Kubanga abo abanaazikirizibwa balyogera gye bali okuva mu ttaka, era okwogera kwabwe kuliba kukkakkamu okuva mu nfuufu, era n’eddoboozi lyabwe linaabanga nga oyo alinnyiddwako omuzimu; kubanga Mukama Katonda ajja kumuwa obuyinza, nti asobole okwogera mu kaama ku bibakwatako, ddala nga biringa ebiva mu ttaka; era okwogera kwabwe kuliba mu kaama okuva mu nfuufu.
17 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda: Baliwandiikanga ebintu ebirikolebwa mu bo, era biwandiikiddwa era biteekeddwako envumbo mu kitabo, era n’abo abaakendeera mu kukkiriza tebalibeera nabyo, kubanga bafuba okuzikiriza ebintu bya Katonda.
18 N’olwekyo, ng’abo abazikiriziddwa bwe bazikiriziddwa mu bwangu; era ekibinja ky’abantu baabwe ab’entiisa baliba ng’ekisusunku ekifuumuuse; wewaawo, bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda: Kijja kuba mu bwangu, obw’ekibwatukira,
19 Era kirituukirira, nti abo abakendedde mu kukkiriza balikubwa n’omukono gw’Abamawanga.
20 Era Abamawanga beetwalira waggulu mu malala mu kulaba kwabwe, era ne beekoona, olw’obunene bw’omusanvu, nti bazimbye ekkanisa nyingi; wadde kiri kityo, bafutyanka amaanyi n’ebyamagero bya Katonda, era ne beebuulira bo bennyini amagezi gaabwe era n’okuyiga kwabwe, nti basobole okufuna amagoba era n’okunyigirizanga abaavu.
21 Era waliwo ekkanisa nyingi ezizimbiddwa ezivaako obuggya, era n’okuyomba, era n’obuli bwenkwe.
22 Era waliwo n’emikago egy’ekyama, era nga mu biseera eby’edda, okusinziira ku mikago gya setaani, kubanga ye mutandisi w’ebintu bino byonna; weewaawo, omutandisi w’ettemu, era n’ebikolwa eby’ekizikiza; weewaawo, era abakulembera n’omuguwa ogw’ebyayi mu bulago, okutuusa lw’abasiba n’emiguwa gye egy’amaanyi emirembe gyonna.
23 Kubanga laba, baganda bange abaagalwa, mbagamba nti Mukama Katonda takolera mu kizikiza.
24 Takola kintu kyonna okuggyako nga kya kugasa ensi; kubanga ayagala ensi, ddala n’okutuuka okuwaayo obulamu bwe nti asobole okusembeza abantu bonna gy’ali. N’olwekyo, talina n’omu gwalagira butagabana ku bulokozi bwe.
25 Laba, yali alaajanyeeko eri omuntu yenna, ng’agamba nti: Vva wendi? Laba, mbagamba nti, nedda; Naye ayogera nti: Mujje gye ndi mmwe mwenna enkomerero z’ensi, mugule amata n’omubisi gw’enjuki, awatali ssente era awatali muwendo.
26 Laba, alina yenna gwe yalagira nti bave mu makuŋŋaaniro, oba okuva mu mayumba g’okusinza? Laba, mbagamba nti, Nedda.
27 Alina yenna gwe yalagira obutagabana ku bulokozi bwe? Laba mbagamba nti, Nedda; naye abuwaddeyo kubwereere eri abantu bonna; era alagidde abantu be nti balina okusendasenda abantu bonna okwenenya.
28 Laba, Mukama alina yenna gwe yalagira obutagabana ku bulungi bwe? Laba mbagamba nti, Nedda; naye abantu bonna bamukisa omu nga n’omulala, era tewali baganiddwa.
29 Alagira nti tewalibawo mbuulira ey’obulimba; kubanga, laba, embuuliira ey’obulimba yeno nti abantu babuulira era ne bewanika okwetwala ng’ekitangaala eri ensi, nti basobole okufuna amagoba era n’okutenderezebwa ensi; naye tebanoonya mbeera nnungi eyaSayuuni.
30 Laba, Mukama aganye ekintu kino; n’olwekyo, Mukama Katonda awadde ekiragiro nti abantu bonna balina okuba n’okwagala okwanamaddala, okwagala okwanamaddala okwo kwe kwagala. Era okuggyako nga balina okwagala okwanamaddala tebaba kintu kyonna. N’olwekyo, bwe baba nga balina okwagala okwanamaddala tebandikkiriza mukozi mu Sayuuni okuzikirira.
31 Naye omukozi mu Sayuuni alikola ku lwa Sayuuni; kubanga bwe banakolera ensimbi balisaanawo.
32 Era nate, Mukama Katonda alagidde nti abantu tebalina kutta; nti tebalina kulimba; nti tebalina kubba; nti baleme kutwalira linnya lya Mukama Katonda waabwe mu bintu by’obutaliimu; nti tebalina kukwatibwa buggya; nti tebalina kuba na ttima; nti tebasaanira kulwanagana buli omu n’omulala; nti tebalina kukola bwenzi; era nti tebalina kukola wadde n’ekimu ku bintu bino; kubanga buli yenna alibikola alisaanawo.
33 Kubanga tewali n’ekimu ku bubi buno buva eri Mukama; kubanga ye akola ekyo ekirungi mu baana b’abantu; era takola kintu kyonna okuggyako nga kitegerekeka eri abaana b’abantu; era abayita bonna bajje gy’ali era bagabane ku bulungi bwe; era talina n’omu ajja gy’ali gw’agoba, omuddugavu era n’omweru, omusibe era n’alina eddembe, omusajja era n’omukazi; era ajjukira omukaafiiri; era bonna bafaanagana eri Katonda, bombi Omuyudaaya era ne Munnagwanga.