Essuula 5
Abaneefi beeyawula ku Balamani, bakuuma etteeka lya Musa, era ne bazimba yeekaalu; Olw’obutakkiriza bwabwe, Abalamani basalibwako okuva mu maaso ga Mukama, bakolimirwa, era ne bafuuka ekibonyoobonyo eri Abaneefi. Nga mu mwaka gwa 588–559 nga Kristo tennazaalibwa.
1 Laba, olwatuuka nti nze, Neefi, ne mpanjagira nnyo Mukama Katonda wange, olw’obusungu bwa baganda bange.
2 Naye laba, obusungu bwabwe eri nze bweyongera, mu ngeri nti bagezaako okuggyawo obulamu bwange.
3 Weewaawo, banneemulugunyaako nga bagamba nti: Muto waffe alowooza okutufuga; era tufunye okugezesebwa kungi ku lulwe; n’olwekyo, kaakano ka tumutte, nti tuleme okubonyaabonyezebwa ennyo olw’ebigambo bye. Kubanga laba, tetujja kumuganya kubeera mufuzi waffe; kubanga kigwanira ffe, ab’oluganda abakulu, okufuga abantu bano.
4 Kaakano siwandiika ku mbaati zino ebigambo byonna bye banneemulugunyaako. Naye kimala nze okugamba nti, baagezaako okuggyawo obulamu bwange.
5 Era olwatuuka Mukama n’andabula, nti nze, Neefi, mbaviire ŋŋende mu lukoola, era n’abo bonna abaali ab’okugenda nange.
6 N’olwekyo, olwatuuka nti nze, Neefi, nnatwala amaka gange, era ne Zolamu era n’ab’omu maka ge, era ne Samu, mukulu wange era n’ab’omu maka ge, era ne Yakobo era ne Yusufu, baganda bange abato, era nate ne bannyinaze, era n’abo bonna abaali ab’okugenda nange. Era abo bonna abaali ab’okugenda nange baali abo abakkiriza okulabulwa era n’okubikkulirwa kwa Katonda; n’olwekyo, baawuliriza ebigambo byange.
7 Era twatwala weema zaffe era na byonna ebyali bisoboka, era ne tutambula mu lukoola okumala ebbanga lya nnaku nnyingi. Era oluvannyuma lw’okutambula okumala ennaku nnyingi ne tusimba weema zaffe.
8 Era abantu bange ne baagala tutuume ekifo ekyo erinnya Neefi; n’olwekyo, twakiyita Neefi.
9 Era abo bonna abaali nange ne bakyetekako okweyita abantu ba Neefi.
10 Era twafuba okukuuma ennamula, era n’amateeka, era n’ebiragiro bya Mukama mu bintu byonna, okusinziira ku tteeka lya Musa.
11 Era Mukama yali naffe; era twakulaakulana nnyo; kubanga twasiga ensigo, era ne tukungula nate mu bungi. Era ne tutandika okulunda ebisibo, era n’ente, era n’ensolo eza buli ngeri.
12 Era nze, Neefi, nnali ndeese ebiwandiiko ebyayolebwa ku mbaati ez’ekikomo; era n’omupiira, oba endaga bwolekero, eyategekebwa kitange n’omukono gwa Mukama, okusinziira ku ekyo ekyawandiikibwa.
13 Era olwatuuka nti twatandika okukulakulana ennyo, era n’okweyongera obungi mu nsi.
14 Era nze, Neefi, nakwata ekitala kya Labani, era mu ngeri yakyo ne nkola ebitala bingi, olw’okutya nti mu ngeri yonna abantu abaali bayitibwa kati Abalamani okutuzingiza ne batuzikiriza; kubanga nnali mmanyi obukyayi bwabwe gye ndi era n’abaana bange era n’abo abaali bayitibwa abantu bange.
15 Era nnayigiriza abantu bange okuzimba ebizimbe, era n’okukola ebiwunde eby’engeri zonna mu mbaawo, era n’eby’ekyuma, era n’eby’ekikomo ekya lwera, era n’eby’ekikomo, era n’ebya puwa, era n’ebya zaabu, era n’ebya feeza, era n’eby’amayinja ag’omuwendo, ebyali ebingi nnyo.
16 Era nze, Neefi, nnazimba yeekaalu; era nnagizimba mu ngeri y’emu ne yeekaalu ya Sulemaani okuggyako teyazimbibwa na bintu bingi nnyo eby’omuwendo; kubanga byali tebisobola kusangibwa mu kitundu, n’olwekyo, tekyayinzika kuzimbibwa nga yeekaalu ya Sulemaani. Naye enzimba yali y’emu ne yeekaalu ya Sulemaani; era n’omulimu gwali mussuffu obulungi.
17 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnaleetera abantu bange okubeera abakozi ennyo, era n’okukola n’emikono gyabwe.
18 Era olwatuuka nti bayagala nze mbeere kabaka waabwe. Naye nze, Neefi, nnali njagala baleme kuba na kabaka; wabula, nnabakolera ng’ebyo okusinziira ku buyinza bwange nga bwe bw’ali.
19 Era laba, ebigambo bya Mukama byali bituukiridde eri baganda bange, bye yayogera ebibakwatako, nti nze ndiba mufuzi waabwe era omusomesa waabwe. N’olwekyo, nnali mufuzi waabwe era omusomesa waabwe, okusinziira ku biragiro bya Mukama bwe byali, okutuusa ekiseera lwe bagezaako okuggyawo obulamu bwange.
20 N’olwekyo, ekigambo kya Mukama kyatuukirira kye yayogera gye ndi, ng’agamba nti: Kasita batawulira bigambo byo balisalibwako mu maaso ga Mukama. Era laba, baasalibwako okuva mu maaso ge.
21 Era yaleeta ekikolimo okubatuukako, weewaawo, ddala ekikolimo ekiruma ennyo, olw’obutali butuukirivu bwabwe. Kubanga laba, baali bakakanyaza emitima gyabwe gy’ali, ne bafuuka ng’olwazi; n’olwekyo, nga bwe baali abeeru, era nga balabika bulungi nnyo era nga begombesa, olw’okwewala abantu bange okusikirizibwa, Mukama Katonda n’aleeta obuddugavu ku nsusu zaabwe.
22 Era bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ndireetera nti balibeera n’obukyaayi eri abantu bo, okuggyako nga beenenyezza ebibi byabwe.
23 Era ezzadde ly’oyo eryetaba n’ezzadde lyabwe lirikolimirwa; kubanga balikolimirwa n’ekikolimo kye kimu. Era Mukama yakyogera, era ne kikolebwa.
24 Era olw’ekikolimo kyabwe ekya baliko bafuuka abantu bangalobunani, nga bajjudde obuvuyo n’obukuusa, era baanoonyanga mu lukoola ebisolo ebittidwa ensolo ezirya ennyama.
25 Era Mukama Katonda n’aŋŋamba nti: Balibeera ekibonyoobonyo eri ezzadde lyo, okubakkigyanya olw’okunzijukiranga; era kasita batanzijukirenga, era n’okuwuliriza ebigambo byange, balikkigyanyizibwa ddala okutuusa okuzikirizibwa.
26 Era olwatuuka nti nze, Neefi, nnatukuza Yakobo ne Yusufu, babeere bakabona n’abasomesa ku nsi y’abantu bange.
27 Era olwatuuka nti twabeerawo mu engeri ey’essanyu.
28 Era emyaka amakumi asatu gyali giyiseewo okuva lwe twava e Yerusaalemi.
29 Era nze Neefi, nnali nkuumye ebiwandiiko ku mbaati zange, ze nnali nkoze, eby’abantu bange okutuuka wano.
30 Era olwatuuka Mukama Katonda n’aŋŋamba nti: Kola embaati endala; era oliyola ebintu bingi ku zo ebirungi mu maaso gange, olw’okuganyulwa kw’abantu bo.
31 N’olwekyo, nze, Neefi, okugondera ebiragiro bya Mukama, nnagenda ne nkola embaati zino kwe njozze ebintu bino.
32 Era nze nayola ebyo ebisanyusa Katonda. Era singa abantu bange basanyukira ebintu bya Katonda bajja kusanyukira ebyoleddwa ku mbaati zino.
33 Era singa abantu bange baagala okumanya ebyafaayo by’abantu bange mu bujjuvu balina okunoonyereza ku mbaati zange endala.
34 Era kimala okugamba nti emyaka amakumi ana gyali giyiseewo, era ng’olwo twalwana edda entalo era n’enkaayana ne baganda baffe.