Scriptures
2 Neefi 7


Essuula 7

Yakobo yeyongera mu maaso n’okusoma okuva mu Isaaya: Isaaya ayogera nga Masiya; Masiya ajja kuba n’olulimi lw’abayivu; Ajja kuwayo omugongo gwe eri abakuba; Tajja kutabulwa; Geraageranya Isaaya 50. Nga 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Weewaawo, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama: Nkutadde ebbali, oba nkusudde emirembe gyonna? Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama: Eliwa ebbaluwa esazaamu obufumbo bwa mamawo? Ani gwenkusuulidde, oba ew’ani ku bamaanja gyenkutunze? Weewaawo, ew’ani oyo gye nkutunze? Laba, olw’ebibi byammwe mwetuunze mwekka, era olw’ebyonoono bya nnyamwe agobeddwa.

2 N’olwekyo, bwe nnajja, tewaaliwo muntu; bwe nnakowoola, weewaawo, tewaaliwo n’omu addamu. Ayi ennyumba ya Isiraeri, omukono gwange gukendeezeddwa nnyo nti n’okuyiinza tegukyayinza kununula, oba sirina maanyi ku wonya? Laba, ku kunenya kwange nkaza ennyanja, nfuula emigga gyabwe olukoola n’ebyennyanja byabwe okuwunya kubanga amazzi gakalidde, era ne bifa olw’ennyonta.

3 Nyambaza eggulu n’obuddugavu, era nfuula ekkutiya ekyokwebikka kyabwe.

4 Mukama Katonda ampadde olulimi lw’abayivu, nti nsaanidde okumanya okwogera ekigambo mu kiseera ekituufu gy’oli, Ayi ennyumba ya Isiraeri. Mmwe bwe mubeera nga mukooye azuukuka nkya ku nkya. Azuukusa okutu kwange okuwulira ng’abayivu.

5 Mukama Katonda abikkudde okutu kwange, era saali mujeemu, wadde okukyuka okudda ennyuma.

6 Nawaayo omugongo gwange eri omukubi, era n’amatama gange eri abo abakuunyuula enviiri. Saakweka bwenyi bwange eri okuswala era n’okuwandulirwa amalusu.

7 Kubanga Mukama Katonda ajja kunnyamba, n’olwekyo sijja kutabulwatabulwa. N’olwekyo obwenyi bwange mbufudde okuba ng’olwazi olugumu ennyo, era nkimanyi nti siriswala.

8 Era Mukama ali kumpi, era anegyerezza. Ani anaawakana nange? Tuyimirire wamu. Ani mununuzi wange? Leka asembere kumpi nange, era nja kumukuba n’amaanyi g’akamwa kange.

9 Kubanga Mukama Katonda ajja kunnyamba. Era n’abo bonna abalinsalira omusango, laba, bonna balikaddiwa ng’ekyambalo, era n’ennyenje ziri baliira ddala.

10 Ani ali mu mmwe atya Mukama, oyo agondera eddoboozi ly’omuddu we, oyo atambulira mu kizikiza era nga talina kitangaala?

11 Mulabe mmwe mwenna abakuma omuliro, aba basiba emimuli enjuyi zonna, mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe era ne mu mimuli egyo mmwe gyemukoleezezza. Kino kye muliweebwa n’omukono gwange; muligalamira nga munakuwadde.