Essuula 12
Isaaya alaba yeekaalu ey’ennaku ez’oluvannyuma, okukuŋŋaanyizibwa kwa Isiraeri, era n’okulamulwa okw’emyaka olukumi era n’emirembe; Ab’amalala n’ababi bajja kukkakkanyizibwa mu Kujja okw’Okubiri; Geraageranya Isaaya 2. Nga 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Ekigambo Isaaya mutabani wa Amozi kye yalaba ekikwata ku Yuda era ne Yerusaalemi:
2 Era lulituuka mu nnaku ezisembayo, ng’olusozi olw’ennyumba ya Mukama lutereddwawo ku ntikko y’ensozi, era lulisooloobezebwa waggulu w’ensozi, era n’amawanga gonna galyekuluumulula okulutuukako.
3 Era abantu bangi baligenda era ne boogera nti, Mujje mmwe, era tulinnyelinnye ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, era tunaatambuliranga mu mpenda ze; kubanga amateeka galiva mu Sayuuni, era n’ekigambo kya Mukama okuva mu Yerusaalemi.
4 Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe ne babifuula enkumbi, era n’amafumu gaabwe ne gafuuka mujolo; eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.
5 Wattu ennyumba ya Yakobo, mujje mmwe era tutambulire mu kitangaala kya Mukama; weewaawo, mujje, kubanga mwenna mubuze, buli omu mu makubo ge amabi.
6 N’olwekyo, Ayi Mukama, ggwe olese abantu bo, ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjuziddwa eby’ava ebuvanjuba, era bawulirira mu balaguzi ng’Abafirisuuti, era ne beesanyusiza mu baana b’abagwira.
7 Ensi yaabwe nate ejjudde ffeeza ne zaabu, so tewali nkomerero ku bya bugagga bwabwe; ensi yaabwe nate ejjudde embalaasi, so n’amagaali gaabwe tegaliiko nkomerero.
8 Ensi yaabwe nayo ejjudde ebifaananyi; basinza omulimu gw’emikono gyabwe, ogwo engalo zaabwe gwe zikoze.
9 Era omuntu omukopi tavuunama, n’omukulu teyeetoowaza, n’olwekyo, tomusonyiwa.
10 Abange mmwe ababi, muyingire mu lwazi, era mwekweke mu nfuufu, kubanga okutya Mukama era n’ekitiibwa ky’obukulu bwe bijja kubakuba.
11 Era lulituuka nti okwenyinyimbwa kw’abantu kulikkakkanyizibwa, era n’amalala g’abantu galivunnamizibwa, era Mukama yekka y’aligulumizibwa ku lunaku olwo.
12 Kubanga olunaku lwa Mukama ow’eggye lujja mangu eri amawanga gonna, weewaawo, ku buli omu; weewaawo, eri ab’amalala era n’abenyinyimbwa, era na ku buli agulumizibwa, era alikkakkanyizibwa.
13 Weewaawo, era n’olunaku lwa Mukama lulituuka eri enfugo zonna ez’e Lebanooni, kubanga mpanvu era ngulumivu; era ne ku mivule gyonna egy’e Basani;
14 Era ne ku nsozi zonna empanvu, era ne ku nsozi ennyimpi zonna, era ne ku mawanga gonna agagulumiziddwa, era na ku buli ggwanga;
15 Era na ku buli munaala omuwanvu, era na ku buli bbugwe anywezeddwa;
16 Era ne ku byombo byonna eby’oku nnyanja, era ne ku byombo byonna eby’e Talusiisi, era ne ku bifaananyi byonna ebisanyusa.
17 N’obugulumivu bw’omuntu bulivunnamizibwa, era n’amalala g’abantu galikkakkanyizibwa; era Mukama yekka y’aligulumizibwa ku lunaku olwo.
18 Era n’ebifaananyi alibigyirawo ddala.
19 Era baligenda mu bituli by’enjazi, era ne mu mpuku z’ensi, kubanga okutya Mukama kulibajjako era n’ekitiibwa ky’obuyinza bwe kiribakuba, bw’aligolokoka okunyenya ensi mu ngeri embi ennyo.
20 Ku lunaku olwo omuntu alisuula ebifaananyi bye ebya ffeeza, era n’ebifaananyi bye ebya zaabu, bye yeekoledde okusinza, eri ensowera era n’eri ebinyira;
21 Okugenda mu myagaanya gy’enjazi, era ne mu nkonko z’enjazi, kubanga eky’okutya Mukama kiribatuukako era obukulu obw’ekitiibwa kye bulibakuba, lw’aligolokoka okukankanya ensi mu ngeri ey’entiisa.
22 Vva ku muntu, omukka gwe guli mu nnyindo ze; kubanga wa muwendo ki gw’alina okuvunaanwa?