Scriptures
2 Neefi 20


Essuula 20

Okuzikirizibwa kwa Bwasuli kifaananyi kya kuzikirizibwa kw’ababi mu Kujja okw’Okubiri; Abantu batono abalisigalawo oluvannyuma lwa Mukama okujja nate; Abafikkawo ku Yakobo bajja kudda ku lunaku olwo; Geraageranya Isaaya 10. Nga mu mwaka 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Zibasanze abo abalangirira amateeka agatali ga butuukirivu, n’abawandiisi abawandiika obukyamu;

2 Okugoba abanaku baleme okufuna obwenkanya, n’okuggyawo eddembe ery’abaavu ab’omu bantu bange, nti bannamwandu babeere munyago gwabwe, era nti abafiiriddwa bakitaabwe babafuule omuyiggo gwabwe!

3 Era mulikola mutya ku lunaku olw’okujjirwa, ne mu kuzikirizibwa okuliva ewala? muliddukira eri ani okubeerwa? era mulireka wa ekitiibwa kyammwe?

4 Balikutama bukutami wansi w’abasibe, era baligwa wansi w’abattiddwa. Olw’ebyo byonna obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, yadde omukono gwe gukyagoloddwa.

5 Ayi Omwasuli, oluga olw’obusungu bwange, omuggo oguli mu ngalo zaabwe kye kiruyi kyabwe!

6 Ndimutuma okulumba eggwanga erivvoola, era ndimulagira ku bantu abaliko obusungu bwange, okunyaga omunyago, n’okunyaga omuyiggo, n’okubalinnyirira wansi ng’ebitoomi eby’omu nguudo.

7 Naye tagenderera kukola bw’atyo, so n’omutima gwe tegulowooza bwe gutyo; naye kiri mu mutima gwe okuzikiriza, n’okusalako amawanga agatali matono.

8 Kubanga ayogera nti: Abakulu bange bonna si bakabaka?

9 Kalino tekifaanana Kalukemisi? Kamasi tekifaanana Alupadi? Samaliya tekifaanana Ddamasiko?

10 Ng’omukono gwange bwe gwanyweza ensi za bakabaka ezisinza ebifaananyi, ezaalina ebifaananyi ebyole ebyasinga ebyo ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya;

11 Nga bwe nnakola Samaliya ne ebifaananyi bye, sirikola bwe ntyo Yerusaalemi ne ebifaananyi bye?

12 N’olwekyo kirituuka nti Mukama bw’aba ng’amalidde ddala omulimu gwe gwonna ku lusozi Sayuuni ne ku Yerusaalemi, mbonereza ebibala by’omutima omukakanyavu ogwa kabaka w’e Bwasuli, n’amalala g’amaaso ge amagulumivu.

13 Kubanga yayogera nti: Olw’amaanyi g’omukono gwange nakikola, n’olw’amagezi gange; kubanga ndi mukabakaba; era najjulula ensalo ez’amawanga, ne nnyaga obugagga bwabwe, ne ntoowaza ng’omusajja omuzira abo abatuula ku ntebe;

14 Era omukono gwange guvumbudde obugagga obw’amawanga ng’ekisu; era ng’omuntu bw’akuŋŋaanya amagi amazire, bwe ntyo bwe nkuŋŋaanyizza ensi zonna; era tewali n’omu eyayanjuluza ekiwaawaatiro, oba okwasamya akamwa, wadde okunyega.

15 Embazzi eyinza okwewaana nti yeesiga oyo agitemesa? Omusumeeno guyinza okwegulumiza okusinga oyo agusazisa? Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba oyo alukozesa, oba omuggo ogw’oluga okusitula omuntu nga gy’obeera nti si muggo ogw’oluga.

16 N’olwekyo ateekwa Mukama, Mukama ow’eggye, okuweereza mu banene be, obukovvu, era wansi w’ekitiibwa kye, alikoleeza okwokyebwa okufaanana omuliro ogubumbugya.

17 N’ekitangaala kya Isiraeri kiriba ng’omuliro, n’Omutukuvu we aliba ennimi z’omuliro, kale gulyokya gulimalawo amaggwa ge n’emyeramannyo gye ku lunaku lumu;

18 Era alimalawo ekitiibwa ky’ekibira kye, n’eky’ennimiro ye engimu, byombi obulamu n’omubiri; kale kiriba ng’omukwasi w’e bendera bw’azirika.

19 Era emiti emirala egy’omu kibira kye giriba mitono, nti omwana omuto ayinza okugiwandiika.

20 Era lulituuka ku lunaku luli, nti abafikkawo ku Isiraeri, n’abo abaliba nga bawonye ku nnyumba ya Yakobo, nga tebakyesigama nate ku oyo eyabakuba; naye balyesigama ku Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri, mu mazima.

21 Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ddala abafikkawo ku Yakobo, eri Katonda ow’amaanyi.

22 Kubanga abantu bo Isiraeri newakubadde nga baliba ng’omusenyu ogw’ennyanja, naye abalifikkawo ku bo balikomawo; okutuukiriza kwateesebwa, okusukkirira n’omusango ogw’ensonga.

23 Kubanga Mukama Katonda ow’eggye alikola okuzikirizibwa, ddala nga amaliridde mu nsi yonna.

24 N’olwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti: Wattu mmwe abantu bange abatuula mu Sayuuni, temutya Omusuuli; alibakuba n’oluga, era n’asitula omuggo gwe ogw’enkoni eri mmwe, mu ngeri y’e Misiri.

25 Kubanga akaseera kakyali katono nnyo, era obukambwe bulikoma, n’obusungu bwange mu kuzikirira kwabwe.

26 Era Mukama ow’eggye alimusiikuulira ekibonyoobonyo okusinziira ku kuttibwa kwa Midiyaani ku lwazi olw’e Olebu; era ng’oluga lwe bwe lwali ku nnyanja bw’atyo bw’alirusitula nga bwe kibeera e Misiri.

27 Era lulituuka ku lunaku luli, omugugu gwe guliva ku kibegabega kyo, n’ekikoligo kye mu bulago bwo, n’ekikoligo kirizikirizibwa olw’okufukibwako amafuta.

28 Atuuse e Yayasi, ayise mu Miguloni; e Mikumasi gy’aterekera emigugu gye.

29 Bavvuunuse awavvuunukirwa; basuze e Geba; Laama akankana; Gibeya wa Sawulo adduse.

30 Yogerera waggulu n’eddoboozi lyo, ggwe muwala wa Gallimu! Wulira, ggwe Layisa! Ggwe Anasoosi asaasirwa!

31 Madumena aggyiddwawo; abatuula mu Gebimu beekuŋŋaanya okudduka.

32 N’okutuusa kati alisigala Enobu ku lunaku luno olwo; omukono gwe agugalulira olusozi lwa muwala wa Sayuuni, olusozi lwa Yerusaalemi.

33 Laba, Mukama, Mukama ow’eggye, alitema amatabi n’entiisa n’abawanvu abawagguufu balitemebwa wansi, n’abagulumivu balikkakkanyizibwa.

34 Era alimalawo n’ekyuma ebisaka eby’omu kibira, ne Lebanooni aligwa olw’ow’amaanyi.