Scriptures
2 Neefi 4


Essuula 4

Leki awabula era awa omukisa ezzadde lye; Afa era aziikibwa; Neefi yeenyumiriza mu bulungi bwa Katonda; Neefi assa obwesige bwe mu Mukama emirembe gyonna. Nga mu mwaka gwa 588–570 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano, nze Neefi, njogera ku bikwata ku bunnabbi kitange bwe yayogeddeko, bwe yawa ku Yusufu, eyatwalibwa mu Misiri.

2 Kubanga laba, ddala yawa obunnabbi eri ezzadde lye lyonna. Era n’obunnabbi bwe yawandiika, tewaliiwo bungi obubusinga. Era yawa obunnabbi obukwata ku ffe, era n’emirembe gyaffe egy’omu maaso; era buwandiikiddwa ku mbaati ez’ekikomo.

3 N’olwekyo, oluvannyuma kitange nga amaze okwogera ebikwata ku bunnabbi bwa Yusufu, yayita abaana ba Lamani, batabani be, era ne bawala be, era n’abagamba nti: Laba, batabani bange, era ne bawala bange, nga be batabani era ne bawala b’omuggulanda wange, njagala muwulirize ebigambo byange.

4 Kubanga Mukama Katonda ayogedde nti: Kasita munaakuumanga ebiragiro byange mujja kukulaakulana mu nsi; era bwe mutaakuumenga biragiro byange munasalibwako okuva mu maaso gange.

5 Naye laba, batabani bange ne bawala bange, siyinza kukka mu ntaana yange okuggyako nga mbalekedde omukisa; kubanga laba, nkimanyi nti bwe munaakuzibwa mu kkubo lye mulina okutambuliramu temulirivaako.

6 N’olwekyo, bwe muba abakolimire, laba, mbalekera omukisa gwange, nti ekikolimo kibaggibweeko era kizzibwe ku mitwe gy’abazadde bammwe.

7 N’olwekyo, olw’omukisa gwange Mukama Katonda tajja kukkiriza nti muzikirire; n’olwekyo, ajja kuba musaasizi gye muli era n’eri ezzadde lyammwe emirembe gyonna.

8 Era olwatuuka nti oluvannyuma nga kitange amalirizza okwogera eri batabani ne bawala ba Lamani, yasiima abaana ba Lemweri ab’obulenzi n’ab’obuwala okuleetebwa mu maaso ge.

9 Era nnayogera gye bali, ng’agamba nti: Laba, batabani bange ne bawala bange, nga be batabani ne bawala ba mutabani wange ow’okubiri; laba mbalekera omukisa gwe gumu gwe ndekedde abaana ba Lamani ab’obulenzi n’ab’obuwala; n’olwekyo, ggwe tojja kusaanyizibwawo; naye ku nkomerero ezzadde lyo liriweebwa omukisa.

10 Era olwatuuka nti kitange nga amalirizza okwogera gye bali, laba, nnayogera ne batabani ba Isimayiri, weewaawo, era ddala n’ab’omu nnyumba ye yonna.

11 Era oluvannyuma lw’okumaliriza okwogera gye bali, yayogera eri Samu, ng’agamba nti: Owereddwa omukisa ggwe, era n’ezzadde lyo; kubanga ojja kusikira ensi nga muganda wo Neefi. Era ezzadde lyo liribalibwa wamu n’ezzadde lye; era olifaananira ddala muganda wo, era n’ezzadde lyo lifaanane ng’ezzadde lye; era oliweebwa omukisa mu nnaku zo zonna.

12 Era olwatuuka nti kitange, Leki, nga amalirizza okwogera eri ab’enju ye bonna, okusinziira ku birowoozo by’omutima gwe era n’Omwoyo wa Mukama eyali mu ye, n’akaddiwa. Era olwatuuka n’afa, era n’aziikibwa.

13 Era olwatuuka nga tewannayita nnaku nnyingi oluvannyuma lw’okufa kwe, Lamani era ne Lemweri era ne batabani ba Isimayiri bansunguwalira olw’okunenyezebwa Mukama.

14 Kubanga nze, Neefi, nnawalirizibwa okwogera gye bali, okusinziira ku kigambo kye; kubanga nnali njogedde gye bali ebintu bingi, era nate ne kitange, nga tannafa; ebigambo bingi ku byo biwandiikiddwa ku mbaati zange endala; kubanga ekitundu ekisinga eky’ebyafaayo biwandiikiddwa ku mbaati zange endala.

15 Era ku zino kwe mpandiika ebintu eby’emmeeme yange, n’ebyawandiikibwa bingi ebyooleddwa ku mbaati ez’ekikomo. Kubanga emmeeme yange esanyukira ebyawandiikibwa, n’omutima gwange gubifumiintiriza, era mbiwandiika olw’okuyiga era n’okuganyulwa kw’abaana bange.

16 Laba, emmeeme yange esanyukira ebintu bya Mukama; era omutima gwange gufumiintiriza buli kiseera eri ebintu bye ndabye era ne bye mpulidde.

17 Kyokka, naye nga olw’obulungi bwa Mukama obussukkulumye, mu kundaga emirimu egitaliko kkomo era egy’ekitalo, omutima gwange gwatula nti: Ayi omuntu omunaku nga bwe ndi! Weewaawo, omutima gwange gunakuwala olw’omubiri gwange; emmeeme yange enakuwala olw’ebibi byange.

18 Nze nnetooloddwa, olw’ebikemo n’ebibi ebintawanya amangu.

19 Era bwe njagala okusanyuka, omutima gwange gusinda olw’ebibi byange; wabula, mmanyi gwe nneesize.

20 Katonda wange abadde muwagizi wange; ankulembeddemu mu kubonaabona kwange mu lukoola; era ankuumye ku mazzi ag’obuziba obunene.

21 Anzijjuzza okwagala kwe, ddala n’okutuusa okusaanawo kw’omubiri gwange.

22 Atabudde abalabe bange, ne bakankanira mu maaso gange.

23 Laba, awulidde okwaziirana kwange emisana, era ampadde okumanya okuyita mu kwolesebwa ekiro.

24 Era emisana nfunye obuvumu mu kusaba okw’amaanyi mu maaso ge; weewaawo, eddoboozi lyange ndiwerezza waggulu; era ne bamalayika ne bajja wansi era ne bampeereza.

25 Era ku biwaawaatiro by’Omwoyo gwe omubiri gwange gutwaliddwa ku nsozi empanvu ennyo. Era amaaso gange galabye ebintu ebissukkulumu, weewaawo, ddala ebissukkulumu ennyo eri omuntu; n’olwekyo nnalagirwa obutabiwandiika.

26 Wattu kale, bwe mba ndabye ebintu ebikulu bwe bityo, bw’aba Mukama mu kwekkakkanya kwe eri abaana b’abantu akyalidde abantu mu kusaasira okungi, lwaki omutima gwange guba gusinda era n’emmeeme yange okusigala mu kiwonvu eky’ennaku, era n’omubiri gwange okuggwaawo, era n’amaanyi gange okukendeera, olw’okubonaabona kwange?

27 Era lwaki nneewaayo eri ekibi, olw’omubiri gwange? Weewaawo, lwaki nnewaayo eri ebikemo, nti omubi abeere n’ekifo mu mutima gwange okukomya emirembe gyange era n’okubonyaabonya emmeeme yange? Lwaki ndi munyiivu olw’omulabe wange?

28 Zuukuka, emmeeme yange! Toddamu kugwa mu kibi. Sanyuka, Ayi mutima gwange, era toddamu kuwa mulabe wa mwoyo gwange kifo.

29 Tonyiiga nate olw’abalabe bange. Tokendeeza maanyi gange olw’okubonaabona kwange.

30 Sanyuka, Ayi mutima gwange, era laajanira Mukama, era ogambe nti: Ayi Mukama, ndikutenderezanga emirembe gyonna; weewaawo, emmeeme yange enasanyukiranga mu ggwe, Katonda wange, era olwazi olw’obulokozi bwange.

31 Ayi Mukama, on’onunula emmeeme yange? On’omponya okuva mu mikono gy’abalabe bange? On’onfuula nti nkankane olw’okulabika kw’ekibi?

32 Emiryango gya ggeyeena ka giggalwe obutaggwa mu maaso gange, kubanga omutima gwange gumenyese n’omwoyo gwange guboneredde! Ayi Mukama, toggalangawo miryango gya butuukirivu bwo mu maaso gange, nti nsobole okutambulira mu kkubo ery’ekiwonvu ekya wansi, nti ndyoke mbeere mwegendereza mu kkubo ery’empisa!

33 Ayi Mukama, onompambatira n’omunagiro ogw’obutuukirivu bwo! Ayi Mukama, on’okola ekkubo ery’okutoloka kwange mu maaso g’abalabe bange! On’otereza ekkubo lyange mu maaso gange! Toliteeka muziziko mu kkubo lyange; wabula olongoose ekkubo lyange mu maaso gange, era tosuula misanvu mu kkubo lyange, wabula amakubo g’omulabe wange.

34 Ayi Mukama, nkwesize, era ndi kwesiga emirembe gyonna. Siriteeka bwesige bwange mu mukono ogw’omubiri; kubanga mmanyi nti akolimiddwa oyo ateeka obwesige mu mukono gw’omubiri. Weewaawo, akolimiddwa oyo ateeka obwesige mu muntu oba afuula omubiri okuba omukono gwe.

35 Weewaawo, mmanyi nti Katonda agaba teyesigaliza eri asaba. Weewaawo, Katonda wange ajja kumpa, singa siisabe bitasaanidde; n’olwekyo nnayimusa eddoboozi lyange gy’oli; weewaawo, nnaakuwanjagira ggwe, Katonda wange, olwazi olw’obutuukirivu bwange. Laba, eddoboozi lyange emirembe gyonna liryambuka waggulu gy’oli, olwazi lwange era Katonda wange ow’olubeerera. Amiina.