Scriptures
2 Neefi 1


Ekitabo kya Neefi Eky’okubiri

Obulambulukufu bw’ebikwata ku kufa kwa Leki. Baganda ba Neefi bamujeemera. Mukama alabula Neefi agende mu lukoola. Eŋŋendo ze mu lukoola, n’ebirala.

Essuula 1

Leki awa obunnabbi ku nsi ey’eddembe; Ezzadde lye lijja kusaasaanyizibwa era likubwe singa bagaana Omutukuvu wa Isiraeri; Akubiriza batabani be okwambala engabo ey’obutuukirivu. Nga mu mwaka gwa 588–570 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano olwatuuka nti oluvannyuma nga nze, Neefi, mmalirizza okuyigiriza baganda bange, kitaffe, Leki, nate yayogera gye bali ebintu bingi, era n’abajjukiza, ebintu ebikulu Mukama bye yali abakoledde mu kubaggya mu nsi ye Yerusaalemi.

2 N’ayogera ku bujeemu bwabwe ku mazzi, n’okusaasira kwa Katonda mu kuwonya obulamu bwabwe, baleme okubbira mu nnyanja.

3 Era nate n’ayogera n’abo ku nsi ensuubize, gye bali bafunye; nga Mukama bwe yali ow’ekisa mu kutulabula nti tudduke okuva mu nsi ye Yerusaalemi.

4 Kubanga, laba, ye n’ayogera nti, nfunye okwolesebwa, mwe mmanyidde nti Yerusaalemi kisanyiziddwawo; era singa twasigala mu Yerusaalemi naffe twandifudde.

5 Naye, ye n’ayogera nti, wadde nga tubonyaabonyezebwa, tufunye ensi ensuubize, ensi ey’enkizo okusinga ensi endala zonna; ensi Mukama Katonda gye yakola nange endagaano eriba ensi ey’obusika bw’ezzadde lyange. Weewaawo, Mukama yandaganyizza ensi eno gye ndi, n’abaana bange emirembe gyonna, era n’abo bonna abagenda okukulemberwa omukono gwa Mukama okuva mu nsi endala.

6 N’olwekyo, nze, Leki, mpa obunnabbi okusinziira ku maanyi ag’Omwoyo ali mu nze, nti tewali bantu bonna bajja kujja mu nsi eno okuggyako nga balileetebwa n’omukono gwa Mukama.

7 N’olwekyo, ensi eno etukuziddwa eri oyo gw’anaaleeta. Era bwe kinaaba nti balimuweereza okusinziira ku biragiro by’awadde bwe biri, eriba ensi ey’eddembe gye bali; n’olwekyo, tebajja kuleetebwa wansi mu buwambe; singa kiba bwe kityo, kinaaba olw’ebibi; kuba singa ebibi binaabanga biyitiridde ensi eriba ekolimiddwa ku lwabwe, naye eri abatuukirivu eriweebwa omukisa emirembe gyonna.

8 Era laba, kya magezi nti ensi eno eziyizibwa mu kiseera kino okumanyibwa amawanga amalala; kubanga laba, amawanga mangi gandibuna ensi, nti tewandibaawo kifo kya busika.

9 N’olwekyo, nze, Leki, nfunye ekisuubizo, nti kasita abo Mukama Katonda b’alireeta okuva mu nsi ye Yerusaalemi banaakuumanga ebiragiro bye, bajja kukulaakulana ku lukalu lw’ensi eno; era baliziyizibwa okumanyibwa amawanga amalala gonna, balyoke bafune ensi eno bagiganyulwe. Era bwe kinaaba nti banaakuumanga ebiragiro bye baliweebwa omukisa ku lukalu lw’ensi eno, so tewalibaawo wadde n’omu abatawanya, newakubadde okutwala ensi ey’obusika bwabwe; era balibeerako awatali kabi emirembe gyonna.

10 Naye laba, ekiseera bwe kinaatuuka nti baliggwekerera mu butakkiriza, oluvannyuma lw’okufuna emikisa egy’omugaso okuva eri omukono gwa Mukama; nga balina okumanya kw’okutondebwa kw’ensi, era n’abantu bonna, nga bamanyi emirimu gya Mukama egitaliko kkomo era egy’ekitalo okuva ku kutondebwa kw’ensi; nga baweereddwa obuyinza okukola byonna nga bayita mu kukkiriza; nga balina ebiragiro byonna okuva ku lubereberye, era nga baleeteddwa olw’obulungi bwe obutakoma mu nsi eno ey’omuwendo ensuubize; laba, ŋŋamba, singa olunaku lulituuka nti beegaana Omutukuvu wa Isiraeri, Masiya omutuufu, Omununuzi waabwe era Katonda waabwe, laba, okulamula kw’oyo omwenkanya kujja kubeera ku bo.

11 Weewaawo, alibaleetera amawanga amalala, era aligawa obuyinza, era alibaggyako ensi zaabwe, era alibaleetera okusaasaanyizibwa era n’okukubibwa.

12 Weewaawo, ng’omulembe ogumu bwe guyita okutuuka ku omulala wajja kubaawo okuyiwa omusaayi, n’okujjirwa ebibonerezo ebikambwe mu bo; n’olwekyo, batabani bange, nandyagadde mujjukire; weewaawo, nandyagadde mugonderenga ebigambo byange.

13 Wattu mwandizuukuse; muzuukuke okuva mu tulo otungi, weewaawo, ddala okuva mu tulo otw’omu ggeyeena, era mukunkumule enjegere ez’entiisa ze musibiddwa, enjegere ezisiba abaana b’abantu, ne batwalibwa ng’abawambiddwa okutuuka mu kiwonvu eky’olubereera eky’ennaku n’ebiwoobe.

14 Muzuukuke! era musituke okuva mu nfuufu, muwulire ebigambo by’omuzadde akankana, amagulu ne mikono gye bye munateera okugalamiza mu ntaana ennyogoga era ensirifu, ewatali mutambuze asobola kudda; mu nnaku endala ntono era ŋŋende mu kkubo eriyingira ettaka.

15 Naye laba, Mukama anunudde emmeeme yange okuva mu ggeyeena; ndabye ekitiibwa kye, era mpambaatiddwa mu mikono gy’okwagala kwe emirembe gyonna.

16 Era njagala mujjukire okukwata amateeka n’ennamula ya Mukama; laba, kino kye kibadde kitawankannya emmeeme yange okuva ku lubereberye.

17 Omutima gwange guzitoweraddwa n’ennaku entakera, kubanga ntidde, nti olw’okuba olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe Mukama Katonda wammwe anavaayo mu busungu bwe obujjuvu gye muli, mulyoke musalibweko era muzikirizibwe emirembe gyonna;

18 Oba, nti ekikolimo kijje gye muli okumala ebbanga ery’emirembe emingi; era mmwe mukyalirwe ekitala, era n’enjala, era mukyayibwa, era mukulemberebwe okusinziira ku kwagala era n’obuwambe bwa setaani.

19 Ayi mmwe batabani bange, ebyo bireme okubatuukako, naye mulyoke mubeere abantu ba Mukama ab’enkizo era abaagalwa. Naye laba, ekigendererwa kye kikolebwe; kubanga amakubo ge bwe butuukirivu emirembe gyonna.

20 Era ayogedde nti: Kasita munaakuumanga ebiragiro byange mujja kukulaakulana mu nsi; naye kasita mutaakuumenga biragiro byange munasalibwako okuva mu maaso gange.

21 Era kaakano nti emmeeme yange esobole okufuna essanyu mu mmwe, era nti omutima gwange gusobole okuva mu nsi eno n’essanyu olw’okuba mmwe, nti nneme okuleetebwa wansi n’ennaku mu ntaana, musituke okuva mu nfuufu, batabani bange, era mube basajja, era mube bamalirivu mu ndowooza emu era n’omutima gumu, nga muli wamu mu byonna, nti ob’olyawo muleme okuserengeta mu buwambe;

22 Nti muleme okukolimirwa n’ekikolimo ekiruma ennyo; era nate, nti ob’olyawo muleme okwewakulira obusungu bwa Katonda omwenkanya gye muli, okutuuka ku kuzikirizibwa, weewaawo, okuzikirizibwa okw’emmeeme n’omubiri okw’olubeerera.

23 Muzuukuke, batabani bange; mwambale engabo y’obutuukirivu. Mukunkumule enjegere ze musibiddwa, era muve mu kizikiza, musituke mu nfuufu.

24 Temujeemera muganda wammwe nate, endowooza ze ezibadde ez’ekitalo, era akuumye ebiragiro okuva lwe twava mu Yerusaalemi; era abadde ekintu ekikozesebwa mu mikono gya Katonda, mu kutuleeta mu nsi ensuubize; kubanga singa teyali ye, twandifudde enjala mu lukoola; wabula, mwagezaako okumuggyako obulamu bwe; weewaawo, era ayise mu kubonaabona kungi olw’okuba mmwe.

25 Era ntya nnyo era nkankana ku lwammwe, olw’okutya nti addamu okubonaabona; kubanga laba, mumulumirizza nti yagezaako okufuna amaanyi n’obuyinza ku mmwe; naye nkimanyi nti tagezaako kufuna maanyi wadde obuyinza ku mmwe, naye agezaako kufuna kitiibwa kya Katonda, era n’ebyembeera ya mmwe ennungi emirembe n’emirembe.

26 Era mmwe mwemulugunyizza kubanga abadde mwerufu gye muli. Mugamba nti akozesezza obukambwe; mugamba nti abasunguwalidde; naye laba, obukambwe bwe bw’ali obukambwe bw’amaanyi g’ekigambo kya Katonda, agaali mu ye; era n’ekyo kye muyita obusungu ge mazima, okusinziira ku mazima agali mu Katonda, ge yali tasobola kuzibiikiriza, nga ayoleka n’obuvumu ebikwata ku bibi byammwe.

27 Era kiteekwa okuba nti amaanyi ga Katonda galina okuba naye, ddala n’okutuusa okubalagira nti mulina okugonda. Naye laba, teyali ye, wabula Omwoyo wa Mukama eyali mu ye, eyayasamya akamwa ke okwogera nti teyasobola kubunira.

28 Era kaakano mutabani wange, Lamani, era ne Lemweri era ne Samu, era nate ne batabani bange abo batabani ba Isimayiri, laba, bwe munaawuliriza eddoboozi lya Neefi temujja kuzikirizibwa. Era bwe munaamuwuliriza nkoowoola omukisa, weewaawo, n’omukisa gwange ogusooka.

29 Naye bwe mutamuwulirize ndigyawo omukisa gwange ogusooka, weewaawo, ddala omukisa gwange, era gulibeera ku ye.

30 Era kaakano, Zolamu, njogera gy’oli: Laba, oli muddu wa Labani; wabula, oggyiddwa mu nsi ya Yerusaalemi, era nkimanyi nti ggwe mukwano wa mutabani wange omutuufu, Neefi, emirembe gyonna.

31 N’olwekyo, kubanga obadde mwesigwa ezzadde lyo liriweebwa omukisa n’ezzadde lye, nti balibeerawo mu bugagga okumala ebbanga eddene ku lukalu lw’ensi eno; era tewali kintu kyonna, okuggyako nga kinaaba ebibi mu bo, ebijja okukosa oba okutaataaganya obugagga bwabwe ku lukalu lw’ensi eno emirembe gyonna.

32 N’olwekyo, bwe munaakuumanga ebiragiro bya Mukama, Mukama atukuzza ensi eno olw’obukuumi bw’ezzadde lyo n’ezzadde lya mutabani wange.