Scriptures
2 Neefi 13


Essuula 13

Yuda ne Yerusaalemi bajja kubonerezebwa olw’obujeemu bwabwe; Mukama yeegayirira era alamula abantu be; Abawala ba Sayuuni bakolimirwa era batuntuzibwa olw’okubeera ab’ensi; Geraageranya Isaaya 3. Nga 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Kubanga laba, Mukama, Mukama ow’eggye, aggya okuva ku Yerusaalemi, era ne ku Yuda, ekibeesiguza era n’ekibayimirizaawo, ekibayimirizaawo kyonna eky’omugaati, era n’ekibeesiguza kyonna eky’amazzi;

2 Omusajja ow’amaanyi, era n’omusajja omulwanyi, omulamuzi, era ne nnabbi, era n’omugezi, era n’abakadde;

3 Omukulu w’amakumi ataano, era n’omusajja ow’ekitiibwa, era n’omuwabuzi, era n’omukozi ow’obukuusa, era n’omwogezi omulungi.

4 Era ndibawa abaana okuba abalangira baabwe, era n’abaana abato balibafuga.

5 Era abantu balinyigirizibwa, buli omu eri muntu munne, era na buli omu okuva eri muliraanwa we; omwana alyeyisiza ku mukadde mu ngeri ey’amalala, era n’ow’ebboggo eri ow’ekitiibwa.

6 Omuntu bw’alikwata muganda we ow’ennyumba ya kitaawe, era ajja kugamba nti: Ggwe olina engoye, beera mufuzi waffe ggwe, era toleka kw’onooneka kuno kujja wansi w’omukono gwo.

7 Ku lunaku olwo alirayira ng’agamba nti: Sijja kuba muwonya; kubanga mu nnyumba yange temuli mmere newakubadde engoye; tonfuula mufuzi w’abantu.

8 Kubanga Yerusaalemi kyonoonese, era ne Yuda egudde, kubanga ennimi zaabwe n’ebikolwa byabwe bibadde birwanyisa Mukama, okunyiiza amaaso g’ekitiibwa kye.

9 Endabika y’amaaso gaabwe ebawaako obujulizi, era erangirira ekibi kyabwe okuba nga Sodomu, era tebasobola kukikweka. Zisanze emyoyo gyabwe, kubanga beesasulidde ekibi!

10 Mugambe eri abatuukirivu nti banaabanga bulungi; kubanga banaalyanga ebibala by’ebikolwa byabwe.

11 Zibasanze ababi, kubanga balizikirira; kubanga empeera y’emikono gyabwe eriba ku bo!

12 Era abantu bange, banyigirizibwa abaana, era abakazi be babafuga. Abange abantu bange, abo ababakulembera babakyamya era ne basanyaawo ekkubo lyammwe eritambulirwamu.

13 Mukama ayimirira okwegayirira, era ayimirira okulamula abantu.

14 Mukama alisalira omusango wamu n’abakadde b’abantu be era n’abalangira baabwe; kubanga mulidde ennimiro ey’emizabbibu n’omunyago gw’abaavu mu mayumba gammwe.

15 Mmwe mutegeeza ki? Mukuba abantu bange mu bitundutundu, ne mubetenta obwenyi bw’abaavu, bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye.

16 Era nate, Mukama ayogera nti: Kubanga abawala ba Sayuuni beewulira, era batambula n’ensingo eziralambadde era n’amaaso ag’obukaba, nga batambula era nga bakumba bwe bagenda, era nga balenkaanya endege n’ebigere byabwe;

17 N’olwekyo, Mukama alikuba ebigenge ne bikola engule y’omutwe gw’abawala ba Sayuuni, era Mukama an’ayolesa ebitundu byabwe eby’ekyama.

18 Ku lunaku olwo Mukama aliggyawo obuzira bw’eby’okwewunda byabwe ebikubagana, era n’ebitambaala, era n’emipiira emyetooloovu ng’omwezi;

19 Obukuufu era n’obukomo, era n’obukaaya;

20 Enkufiira, era n’eby’okwewunda eby’amagulu, era n’emikuufu ku mutwe, era n’obukebe obw’obuwoowo, era n’empeta ez’oku matu;

21 Empeta, era n’ebyokwewunda eby’omu nnyindo;

22 Engoye ez’amabala, era n’eminagiro, era n’engoye ezisuulirwa, era n’ebisiba enviiri;

23 Endabirwamu, era ne bafuta ennungi, era n’ebibikka omutwe, era n’ebibikka amaaso.

24 Era lulituuka, mu kifo ky’akawoowo akasikiriza, walibaawo ekivundu; era mu kifo ky’omusipi, ekiwuzi; era mu kifo ky’enviiri ezikoleddwako obulungi, ekiwalaata; era mu kifo ky’ebyambalo ebirungi, ebiziina; enjokyo mu kifo ky’okulabika obulungi.

25 Abasajja bo baligwa n’ekitala era n’abazira bo mu lutalo.

26 Era n’enzigi ze zirikaaba era zirikungubaga; era aliba matongo, era alituula ku ttaka.