Essuula 32
Bamalayika boogera n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu; Abantu balina okusaba era bafune okumanya ku lwabwe okuva eri Omwoyo Omutukuvu. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Kale kaakano, Mulabe, baganda bange abaagalwa, ndowooza nti mmwe mufumiitiriza mu ngeri emu mu mitima gyammwe okusinziira kw’ekyo kye mulina okukola nga mumaze okuyingira nga muyita mu kkubo. Naye, laba, lwaki mmwe mufumiitiriza ebintu bino mu mitima gyammwe?
2 Mmwe temujjukira nti nabagamba nti oluvannyuma nga mumaze okufuna Omwoyo Omutukuvu mmwe mulyogera n’olulimi lwa bamalayika? Era kaakano, muyinza mutya okwogera n’olulimi lwa bamalayika okuggyako olw’Omwoyo Omutukuvu?
3 Bamalayika bogera n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu; n’olwekyo boogera ebigambo bya Kristo. N’olwekyo, n’ayogera gye muli, mulye ebigambo bya Kristo; kubanga laba, ebigambo bya Kristo birikubuulira ebintu byonna ebyo ggwe by’olina okukola.
4 N’olwekyo, kaakano oluvannyuma nga njogedde ebigambo bino, bw’oba nga ggwe tosobola kubitegeera kinaaba kityo kubanga mmwe temubuuza, wadde okukonkona; n’olwekyo, mmwe temuleetebwa mu kitangaala, naye mujja kuzikirira mu kizikiza.
5 Kubanga laba, mbagamba nti singa mmwe munayingira okuyita mu kkubo, era ne muweebwa Omwoyo Omutukuvu, ajja kubalaga ebintu byonna ebyo bye mulina okukola.
6 Laba, eno ye njigiriza ya Kristo, era tewalibaawo njigiriza ndala eriweebwa okutuusa oluvannyuma lw’okweraga gye muli mu mubiri. Era bw’aly’eraga gye muli mu mubiri, ebintu by’alyogera gye muli mufubenga mmwe okubikola.
7 Era kaakano nze, Neefi, sikyasobola kwogera bisingawo; Omwoyo aziyiza okwogera kwange, era ndekeddwa mu kukungubaga olw’obutakkiriza, era n’obubi, era n’obutamanya, n’obukakanyavu bw’abantu; kubanga bo tebajja kunoonya kumanya, wadde okutegeera okumanya okukulu, bwe kubaweebwa mu ngeri etegeerekeka, era nga okutegeerekeka kw’ebigambo bwe kuyinza okubeera.
8 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, ntebereza nti mmwe mukyafumiitiriza mu mitima gyammwe; era kinakuwaza nnyo okuba nti nnina okwogera ku kintu kino. Kubanga singa mmwe muwuliriza Omwoyo oyo ayigiriza omuntu okusaba, mmwe mwanditegedde nti muteekwa okusaba; kubanga omwoyo omubi tayigiriza muntu kusaba, wabula amuyigiriza nti talina kusaba.
9 Naye laba, mbagamba nti mmwe mulina okusabanga bulijjo, era temukoowanga; nti mmwe muleme okukola ekintu kyonna eri Mukama okuggyako nga musoose okusaba eri Kitaffe mu linnya lya Kristo, nti alyoke atukuze omulimu gwo gy’oli, nti omulimu gwo gulyoke gubeere gwa bulungi eri emmeeme yo.