Scriptures
2 Neefi 33


Essuula 33

Ebigambo bya Neefi bituufu; Biwa obujulirwa ku Kristo; Abo abalina okukkiriza mu Kristo bajja kukkiriza ebigambo bya Neefi, ebijja okuyimirira ng’obujulirwa mu maaso g’entebe ey’obulamuzi. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.

1 Era kaakano nze, Neefi, sisobola kuwandiika bintu byonna eby’asomesebwa mu bantu bange; era wadde okuba omulungi ennyo mu kuwandiika, nga bwe kiri mukwogera; kubanga omuntu bw’ayogera n’amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu ge gatuusa ebyo obutereevu mu mitima gy’abaana b’abantu.

2 Naye laba, waliwo abantu bangi bakakanyaza emitima gyabwe eri Omwoyo Omutukuvu, nti talina kifo mu bo; n’olwekyo, basudde ebbali ebintu bingi ebyawandiikibwa era babitwala okuba ebintu eby’obutaliimu.

3 Naye nze, Neefi, mpandiise ebyo bye mpandiise, era mbitwala nga bya muwendo mungi nnyo, era naddala eri abantu bange. Kubanga mbasabira emisana buli kiseera, era ne mu budde obw’ekiro amaaso gange gatonnya amaziga agatobya ekyeziziko kyange, ku lwabwe; era ne nkabira Katonda wange mu kukkiriza, era mmanyi nti ajja kuwulira okukaaba kwange.

4 Era mmanyi nti Mukama Katonda ajja kutukuza essaala zange ku lw’okugannyulwa kwa abantu bange. Era n’ebigambo bye mpandiise mu bunafu birifuulibwa eby’amaanyi gye bali; kubanga bibasendasenda okukola ebirungi; bibaleetera okumanya ebyafaayo ebikwata ku bajjajjaabwe; era byogera ebikwata ku Yesu, era ne bibasendasenda okumukkiririzaamu, era n’okugumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero, ng’obwo bwe bulamu obutaggwaawo.

5 Era ne bivumirira ekibi, nga bisinziira ku kutegeera okw’amazima; n’olwekyo, tewali muntu yenna ajja kunyiiga olw’ebigambo bye mpandiise okuggyako ng’aliba n’omwoyo gwa setaani.

6 Neennyumiriza mu bwerufu; neennyumiriza mu mazima; neennyumiriza mu Yesu wange, kubanga anunudde omwoyo gwange okuva mu ggeyeena.

7 Nnina okwagala okwannamaddala eri abantu bange, era n’okukkiriza okw’amaanyi ennyo mu Kristo nti ndisisinkana emyoyo mingi emirongoofu ku ntebe ye ey’obulamuzi.

8 Nnina okwagala okwannamaddala eri Omuyudaaya; njogera Omuyudaaya, kubanga ntegeeza abo gye nnava.

9 Era nnina okwagala okwannamaddala eri Abamawanga. Naye laba, kubanga tewali nakimu ku bino kye nsobola okusuubira okuggyako nga batabaganye ne Kristo, era ne bayingira mu mulyango omufunda, era n’okutambulira mu kkubo ery’akanyigo erituusa mu bulamu, era ne beyongera okutambulira mu kkubo lino okutuusa ku nkomerero y’olunaku olw’okugezesebwa.

10 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, era n’Abayudaaya, era nammwe mwenna enkomerero z’ensi, muwulirize ebigambo bino era mukkiririze mu Kristo; era mmwe bwe mutakkiririza mu bigambo bino kale mukkiririze mu Kristo. Era mmwe bwe munakkiririza mu Kristo awo mmwe mujja kukkiririza mu bigambo bino, kubanga bye bigambo bya Kristo, era abimpadde; era biyigiriza abantu bonna nti bakole obulungi.

11 Era bwe biba nga si bigambo bya Kristo, mwesalirewo mmwe; kubanga Kristo alibabikkulira n’amaanyi n’ekitiibwa ekingi, nti ddala bye bigambo bye, ku lunaku olw’enkomerero; era ggwe nange tuliyimirira maaso ku maaso mu maaso g’entebe ye. Era mmwe mulimanya nti ndagiddwa ye okuwandiika ebintu bino, newakubadde nga nnina obunafu.

12 Era nsaba Kitaffe mu linnya lya Kristo nti bangi ku ffe, oba si kyo ffenna, twandirokolebwa mu bwakabaka bwe ku lunaku olwo olukulu era olw’enkomerero.

13 Era kaakano, baganda bange abaagalwa, abo bonna ab’ennyumba ya Isiraeri, era nammwe mwenna enkomerero ze nsi, njogera gye muli ng’eddoboozi ly’oyo awanjaga okuva mu nfuufu: Mweraba okutuusa olunaku olwo olukulu lwe lulijja.

14 Era mmwe abataagabane ku bulungi bwa Katonda, era n’okuwa ekitiibwa ebigambo by’Abayudaaya, era n’ebigambo byange, era n’ebigambo ebiriva mu kamwa k’Omwana gw’endiga gwa Katonda, laba, mbasiibula n’okusiibula okw’ olubeerera, kubanga ebigambo bino biribalumiriza ku lunaku olw’enkomerero.

15 Kubanga ebyo bye nsiba ku nsi, birikozesebwa ng’obujulizi gye muli ku ntebe y’okulamulwa; kubanga bw’atyo Mukama bw’andagidde, era kiŋŋwanidde okumugondera. Amiina.