Essuula 29
Abamawanga bangi bajja kugaana Ekitabo kya Momoni; Bajja kugamba nti, Tetukyetaaga Baibuli ndala; Mukama ayogera eri amawanga mangi; Ajja kulamula ensi okuva mu bitabo ebijja okuwandiikibwa. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Naye laba, wajja kubaawo bangi; ku lunaku olwo lwe ndigenda mu maaso n’okukola omulimu ogw’ekitalo mu bo, nti nzijjukire endagaano zange ze nkoze eri abaana b’abantu, nti nsobole okuddamu okuteeka omukono gwange omulundi ogw’okubiri okuzzaawo abantu bange, abali mu nnyumba ya Isiraeri;
2 Era nate, nzijjukire ebisuubizo bye nkoze gy’oli, Neefi, era n’eri kitaawo, nti nzijjukire ezzadde lyo; era nti ebigambo by’ezzadde lyo bifulume okuva mu kamwa kange okutuuka eri ezzadde lyo; era ebigambo byange birinyanyagira okutuuka ku nkomerero z’ensi, olw’akabonero eri abantu bange, ab’ennyumba ya Isiraeri;
3 Era kubanga ebigambo byange birinyanyagira; bangi ku Bamawanga baligamba nti: Baibuli! Baibuli! Tulina Baibuli, era tewayinza kubaawo Baibuli ndala.
4 Naye bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ayi abasirusiru, baliba ne Baibuli; era eriva mu Bayudaaya, abantu bange ab’endagaano ey’edda. Era beebaaza ki Abayudaaya olwa Baibuli gye bafuna okuva gye bali? Weewaawo, Abamawanga bategeeza ki? Bajjukira okubonaabona, n’emirimu, era n’obulumi bw’Abayudaaya, era n’obunyiikivu bwabwe gye ndi, mu kuleeta obulokozi eri Abamawanga?
5 Abange mmwe Abamawanga, mmwe mujjukira Abayudaaya, abantu bange ab’endagaano ey’edda? Nedda; naye mmwe mubakolimidde, era ne mubakyawa, era temufubye kubakomyawo. Naye laba, nja kukomyaawo ebintu bino byonna ku mitwe gyammwe; kubanga nze Mukama serabidde bantu bange.
6 Mmwe abasirusiru, abo abagamba nti: Baibuli, tulina Baibuli, era tetwetaaga Baibuli ndala. Mwalifunye Baibuli singa si Bayudaaya?
7 Temumanyi mmwe nti waliwo amawanga mangi agasukka mu limu? Temumanyi mmwe nti nze, Mukama Katonda wammwe, natonda abantu bonna, era nti nzijjukira abo abali ku bizinga eby’omu nnyanja; era nti nfuga mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi; era ndeeta ekigambo kyange eri abaana b’abantu, weewaawo, era ne eri amawanga gonna ag’ensi?
8 Lwaki mwemulugunya mmwe, ku lw’ekyo nti mmwe mulifuna ekigambo kyange nate era? Temumanyi mmwe nti obujulizi obw’amawanga abiri bwe bujulizi gye muli nti nze Katonda, nti nzijjukira eggwanga erimu ng’eddala? N’olwekyo, ebigambo bye bimu byenjogera eri eggwanga erimu era n’eddala bwe ntyo. Era amawanga abiri bwe ganaddukiranga awamu obujulizi obw’amawanga abiri nabwo bunnaddukiranga wamu.
9 Era kino nkikola nsobole okukakasa abangi nti nze omu eggulo, leero, era n’olubeerera; era nti njogera ebigambo byange okusinziira nga bwe mba njagadde. Era olw’okuba nti njogedde ekigambo kimu mmwe temusaanye kulowooza nti siyinza kwogera kirala; kubanga omulimu gwange tegunnaggwa; era tegunaba okutuusa enkomerero y’omuntu, wadde okuva olwo era n’olubeerera.
10 N’olwekyo, kubanga nti mmwe mulina Baibuli mmwe temusaanye kulowooza nti erimu ebigambo byange byonna; era mmwe temwetaaga kulowooza nti sisobozesa bisingawo kuwandiikibwa.
11 Kubanga nze ndagira abantu bonna, wamu mu buvanjuba era ne mu bugwanjuba, era ne mu bukiikakkono, era ne mu bukiikaddyo, era ne mu bizinga eby’omu nnyanja, nti baliwandiika ebigambo bye njogera gye bali; kubanga okuva mu bitabo ebiriwandiikibwa nja kulamula ensi, buli muntu okusinziira ku bikolwa bye, okusinziira kw’ebyo ebiwandiikiddwa.
12 Kubanga laba, ndyogera eri Abayudaaya era balibiwandiika; era ndyogera eri Abaneefi nabo era balibiwandiika; era ndyogera n’ebika ebirala eby’ennyumba ya Isiraeri, ebyo bye natwala, era balibiwandiika; era ndyogera eri amawanga gonna ag’ensi era nago galibiwandiika.
13 Era lulituuka Abayudaaya balibeera n’ebigambo by’Abaneefi, era n’Abaneefi baliba n’ebigambo by’Abayudaaya; era Abaneefi wamu n’Abayudaaya baliba n’ebigambo eby’ebika ebyabula ebya Isiraeri; era n’ebika ebyabula ebya Isiraeri biriba n’ebigambo eby’Abaneefi era n’Abayudaaya.
14 Era lulituuka nti abantu bange, abo ab’ennyumba ya Isiraeri, balikuŋŋaanyizibwa ewaka mu nsi zaabwe ez’obwannannyini; era ekigambo kyange nakyo kirikuŋŋaanyizibwa mu kimu. Era nja kulaga abo abalwanyisa ekigambo kyange era n’abantu bange, abo ab’ennyumba ya Isiraeri, nti nze Katonda, era nti nnalagaana ne Ibulayimu nti nja kujjukira ezzadde lye olubeerera.