Essuula 17
Efulayimu ne Busuuli bawakula olutalo ku Yuda; Kristo ajja kuzaalibwa mbeerera; Geraageranya Isaaya 7. Nga 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Awo olwatuuka ku mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isiraeri, ne bayambuka e Yerusaalemi okukirwanyisa; naye ne bakiremwa.
2 Ne babuulira ennyumba ya Dawudi nga bagamba nti: Obusuuli butabaganye ne Efulayimu. Omutima gwe ne gunyeenyezebwa, n’omutima gw’abantu be, ng’emiti egy’omu kibira bwe ginyeenyezebwa n’empewo.
3 Mukama n’alyoka agamba Isaaya nti: Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne Seyalusayubu omwana wo, olusalosalo olw’ekidiba eky’engulu we lukoma, mu luguudo olw’ennimiro y’omwozi w’engoye;
4 Omugambe nti: Beera mwegendereza, era beera omukkakkamu; totya, so n’omutima gwo teguzirikanga olw’emimuli gino gyombi eginyooka egiggweeredde, olw’obusungu obukambwe obwa Lezini n’Obusuuli, era n’obw’omwana wa Lemaliya.
5 Kubanga Obusuuli buteesezza obubi ku ggwe, ne Efulayimu, n’omwana wa Lemaliya, nga bagamba nti:
6 Twambuke tulumbe Yuda, tukiteganye, twewagulire omwo ekituli, tusseewo kabaka wakati mu kyo, weewaawo, omwana wa Tabeeri.
7 Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: Tekirinywera so tekirituukirira.
8 Kubanga omutwe gw’Obusuuli ye Ddamasiko n’omutwe gw’e Ddamasiko ye Lezini: era emyaka enkaaga n’etaano nga teginnaggwaawo Efulayimu alimenyekamenyeka obutaba ggwanga.
9 Era omutwe gwa Efulayimu ye Samaliya, n’omutwe gw’e Samaliya ye mwana wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.
10 Awo Mukama n’ayogera nate eri Akazi ng’agamba nti:
11 Weesabire Mukama Katonda wo akabonero; kasabe oba mu buziba oba mu bbanga waggulu.
12 Naye Akazi n’ayogera nti: Siisabe so siikeme Mukama.
13 N’ayogera nti: Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu n’okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange era?
14 Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi, era alituumwa erinnya lye Imanueri.
15 Omuzigo n’omubisi gw’enjuki alibirya, kale bwe kityo amanye okugaana ekyo ekibi, n’okweroboza ekyo ekirungi.
16 Kubanga omwana nga tannamanya kugaana ekyo ekibi n’okweroboza ekyo ekirungi, ensi gy’okyawa erirekebwa bakabaka baayo bombi.
17 Mukama alikuleetako ggwe, ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitajjanga, okuva ku lunaku Efulayimu lwe yaviiramu mu Yuda; kabaka w’e Bwasuli.
18 Era lulituuka ku lunaku luli Mukama alikoowoola ensowera eri mu bifo eby’ewala eby’emigga egy’e Misiri, n’enjuki eri mu nsi y’e Bwasuli.
19 Era zirijja, era ziriwummulira zonna mu biwonvu ebyazika, ne mu bunnya obw’omu mayinja, ne ku maggwa gonna, ne ku malundiro gonna.
20 Ku lunaku luli Mukama alimwesa n’akamwano akapangisiddwa, abo abali mu bifo eby’emitala w’omugga, ne Kabaka w’e Bwasuli, omutwe n’obwoya obw’oku bigere; era kirimalawo n’ekirevu.
21 Era lulituuka ku lunaku luli omusajja aliriisa ente eyonsa ento n’endiga bbiri;
22 Era lulituuka, olw’amata amangi ge zirigabiza anaalyanga omuzigo; kubanga buli muntu anaalyanga omuzigo n’omubisi gw’enjuki aliba asigadde wakati mu nsi.
23 Era lulituuka ku lunaku luli, buli kifo kinaaba, nga awaali emizabbibu olukumi buli gumu gwa sekeri lukumi, kiriba kya myeramannyo n’amaggwa.
24 Abantu balijjayo n’obusaale era n’emitego, kubanga ensi yonna erifuuka emyeramannyo era n’amaggwa.
25 Era ku nsozi zonna ze baalimanga n’enkumbi, tekulituukako kutya myeramannyo n’amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n’okulinnyirirwa endiga.