Essuula 27
Ekizikiza n’okwewaggula bijja kubikka ensi mu nnaku ezisembayo; Ekitabo kya Momoni kijja kuvaayo; Abajulizi basatu bajja kuwa obujulizi ku kitabo; Omusajja omuyivu aligamba nti tasobola kusoma kitabo kissiddwako nvumbo; Mukama alikola omulimu ogw’ekitalo era ogw’ekyewuunyo; Geraageranya Isaaya 29. Nga mu mwaka gwa 559–545 nga Kristo tannazaalibwa.
1 Naye, laba, mu nnaku ezisembayo, oba mu nnaku z’Abamawanga; weewaawo, laba amawanga gonna ag’Abamawanga era n’Abayudaaya, wamu n’abo abalijja ku nsi eno era n’abo abalibeera mu nsi endala, weewaawo, era ne ku nsi zonna ez’ensi, laba, balitamiira ebibi era n’engeri zonna ez’ebizira.
2 Era olunaku olwo bwe lulijja balikyalirwa Mukama ow’eggye, n’okubwatuka era ne musisi, era n’okuwogana okw’amaanyi, era ne kibuyaga, era ne kikuŋŋunta, era n’ennimi ez’omuliro oguzikiriza.
3 Era amawanga gonna agalwanyisa Sayuuni, era n’ago agamunyiiza, galiba ng’ekirooto eky’okwolesebwa ekiro; weewaawo, kiriba gye bali, ddala nga bwe kiri eri omuntu omuyala bw’aloota, n’alaba ng’alya naye n’azuukuka era ng’emmeeme ye teliimu kantu konna; oba ng’omuntu ow’ennyonta bw’aloota, n’alaba ng’anywa naye n’azuukuka n’alaba ng’anafuye olw’enkalamata, era ng’emmeeme ye tekkuse; weewaawo, ddala bwe kityo bwe kiriba ku kibiina eky’amawanga gonna agalwanyisa Olusozi Sayuuni.
4 Kubanga laba, mmwe mwenna abakola ebibi, muyimirire mwewuunye, kubanga mmwe muliwowoola, era mukaaba; weewaawo, mmwe mulitamiira naye si na mwenge, mmwe mulitagala naye si olw’eky’okunywa ekitamiiza.
5 Kubanga laba, Mukama ayiye ku ggwe omwoyo ogw’otulo otungi. Kubanga laba, ggwe obisse amaaso go, era n’ogaana bannabbi; era n’abafuzi bo, era n’abalabi ababisse ku olw’ebibi byo.
6 Era lulituuka Mukama Katonda alikuleetera ebigambo by’ekitabo, era biribeera ebigambo byabwe by’abo abeebase.
7 Era laba ekitabo kiriba kissiddwako envumbo; era mu kitabo mulibamu okubikkulirwa okuva eri Katonda, okuviira ddala ku ntandikwa y’ensi okutuuka ku nkomerero yaayo.
8 N’olwekyo, olw’ebintu ebissiddwako envumbo, ebintu ebissiddwako envumbo tebiriweebwayo ku lunaku olw’obubi era n’ebizira by’abantu. N’olwekyo ekitabo kiribakwekebwa.
9 Naye ekitabo kiriweebwa omusajja, era alituusa ebigambo eby’ekitabo, nga by’ebigambo by’abo abeebase mu nfuufu, era alituusa ebigambo bino eri omulala;
10 Naye ebigambo ebissiddwako envumbo talibiwaayo, era n’ekitabo talikiwaayo. Kubanga ekitabo kirisibibwa n’amaanyi ga Katonda, era n’okubikkulirwa okwasibwako envumbo kulikuumibwa mu Kitabo okutuusa ekiseera ekituufu ekya Mukama, nti bisobole okuvaayo; kuba laba, byoleka ebintu byonna okuviira ddala ku musingi ogw’ensi okutuuka ku nkomerero yaayo.
11 Era olunaku lujja nti ebigambo by’ekitabo ebyassibwako envumbo birisomebwa waggulu ku busolya bw’amayumba; era birisomebwa n’amaanyi ga Kristo; era ebintu byonna biribikkulwa eri abaana b’abantu ebyo byonna ebyali bibaddewo mu baana b’abantu, era na buli ebyo byonna ebiribeera n’okutuukira ddala ku nkomerero y’ensi.
12 N’olwekyo, ku lunaku olwo ekitabo lwe kinaaweebwa eri omusajja oyo gwe njogeddeko, ekitabo kinaakwekebwa okuva eri olukalu lw’ensi, nti tewaliba maaso ga muntu agalikiraba okuggyako abajulizi abasatu bebalikiraba, n’amaanyi ga Katonda, ng’oggyeko oyo ekitabo gwe kinaaweebwa; era baliwa obujulizi ku mazima g’ekitabo n’ebintu ebikirimu.
13 Era tewali mulala yenna alikiraba, okuggyako abatono okusinziira ku kigendererwa kya Katonda, okuwa obujulizi bw’ekigambo kye eri abaana b’abantu; kubanga Mukama Katonda agambye nti ebigambo by’abakkiriza biteekeddwa okwogera nga ebiva mu bafu.
14 N’olwekyo, Mukama Katonda ajja kugenda mu maaso okuleeta ebigambo by’ekitabo; era mu kamwa k’abajulizi abangi nga bwanaba ayagadde ajja kuteekawo ekigambo kye; era zimusanze oyo agaana ekigambo kya Katonda!
15 Naye laba, lulituuka Mukama Katonda alyogera eri oyo gw’aliwa ekitabo nti: Twala ebigambo bino ebitassiddwako nvumbo era obiweeyo eri omulala, nti asobole okubiraga eri omuyivu, ng’agamba nti: Soma bino, nkusaba. Era omuyivu aligamba nti: Leeta wano ekitabo, era nja kubisoma.
16 Era kaakano, olw’ekitiibwa ky’ensi era n’okufuna amagoba bwe banaayogera kino, so si lwa kitiibwa kya Katonda.
17 Era omusajja aligamba nti: Siyinza kuleeta kitabo, kubanga kissiddwako envumbo.
18 Olwo omuyivu aligamba nti: Siyinza kukisoma.
19 N’olwekyo lulituuka, Mukama Katonda aliwaayo ekitabo nate era n’ebigambo byakyo eri oyo atali muyivu; era omusajja oyo atali muyivu aligamba nti: Nze siri muyivu.
20 Awo Mukama Katonda alimugamba nti: Omuyivu talibisoma, kubanga bo babigaanye, era nsobola okukola omulimu gwange ku bwange; n’olwekyo ggwe olisoma ebigambo bye ndi kuwa.
21 Tokwatanga ku bintu ebissiddwako envumbo, kubanga nja kubireeta mu kiseera kyange ekituufu; kubanga nja kulaga eri abaana b’abantu nti nsobola okukola omulimu gwange.
22 N’olwekyo, ggwe bw’onooba osomye ebigambo bye nkulagidde, era n’okufuna abajulizi be nkusuubizza, olwo ggwe oliddamu okussa envumbo ku kitabo nate, era n’okikweka ku lwange, nti nsobole okukuuma ebigambo ebyo ggwe by’otosomye, okutuusa lwe ndiraba nga kisaanidde mu magezi gange okulaga ebintu byonna eri abaana b’abantu.
23 Kubanga laba, nze Katonda; era ndi Katonda ow’ebyamagero; era nja kulaga ensi nti nz’omu eggulo, leero, era n’olubeerera; era siriiko kye nkola mu baana b’abantu okuggyako nga kisinziira ku kukkiriza kwabwe.
24 Era lulituuka nate nti Mukama alimugamba oyo alisoma ebigambo ebirimuweebwa:
25 Nga era abantu bano bwe basembera gye ndi n’akamwa kaabwe, era n’emimwa gyabwe banzisaamu ekitiibwa, naye nga emitima gyabwe giri wala nange, era okutya kwabwe gye ndi kuyigirizibwa olw’enkola ey’abantu;
26 N’olwekyo, nja kugenda mu maaso okukola omulimu ogw’ekitalo mu bantu bano, weewaawo, omulimu ogw’ekitalo era ogw’ekyewuunyo, kubanga amagezi g’abagezi baabwe n’abayivu birizikirira, era n’okutegeera kw’omugezigezi waabwe kulikwekebwa.
27 Era zibasanze abo abafuba ennyo okukweka ebuziba okubuulirira okuva eri Mukama! Era n’ebikolwa byabwe biri mu kizikiza; era bagamba nti: Ani atulaba, era ani atumanyi? Era nate bagamba nti: Mazima ddala, okukyusa kwo okw’ebintu ekifuulaneenge kujja kulabibwa ng’ebbumba ly’omubumbi. Naye laba, nja kubalaga, bw’ayogera Mukama ow’eggye, nti mmanyi ebikolwa byabwe byonna. Kubanga omulimu gulimugamba oyo eyagutonda, si ggwe wantonda? Oba ekintu ekikolebwa kirigamba oyo eyakikola, nti teyalina kutegeera?
28 Naye laba, bw’ayogera Mukama ow’eggye: Nja kulaga eri abaana b’abantu nti kikyali kitono nnyo era Lebanooni kirifuulibwa ennimiro eŋŋimu; era ennimiro eŋŋimu eritwalibwa ng’ekibira.
29 Era ku lunaku olwo kiggala aliwulira ebigambo by’ekitabo, era n’amaaso g’omuzibe galiraba okuva mu butamanya era n’okuva mu kizikiza.
30 Era n’abawombeefu balyeyongerako, era essanyu lyabwe liribeera mu Mukama, era abaavu mu bo balisanyukira mu Mutukuvu wa Isiraeri.
31 Kubanga amazima ddala nga Mukama bw’ali omulamu baliraba nti oyo ow’entiisa akkakkanyizibwa okufuuka ekitaliiwo, era n’omunyoomi n’asanyizibwaawo, era n’abo bonna abanoonya okola ebibi basalibwako;
32 Era abo abafuula omuntu omumenyi w’amateeka olw’ekigambo, era ne bamutega omutego eri oyo akangavvula ku wankaaki, era ne basuulawo abeenkanya olw’ekintu eky’obutaliimu.
33 N’olwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, oyo eyanunula Ibulayimu, ku bikwata ku nnyumba ya Yakobo: Yakobo kati taliswazibwa, so n’obwenyi bwe tebuuyeeruukirirenga.
34 Naye bw’aliraba abaana be, omulimu gw’emikono gyange, wakati mu ye, balitukuza erinnya lyange, era ne batukuza Omutukuvu wa Yakobo, era balitya Katonda wa Isiraeri.
35 Era n’abo abaasobya mu Mwoyo balituuka ku kutegeera, n’abo abeemulugunya baliyiga enjigiriza.